Zabbuli 75
75
Ya mukulu w'abayimbi; ey'ekyalutasutesi. Zabbuli ya Asafu, oluyimba
1 #
Zab 145:18
Tukwebaza, ai Katonda;
Twebaza kubanga erinnya lyo liri kumpi:
Abantu boogera ku bikolwa byo eby'ekitalo.
2 #
Zab 102:13, Dan 8:19, Kaab 2:3 Bwe ndiraba ebiro ebyateekebwawo,
Ndisala emisango egy'ensonga.
3 #
1 Sam 2:8, Is 24:9 Ensi n'abantu bonna abagituulamu biweddewo:
Nze nsimbye empagi zaayo. (Seera)
4 #
Zab 94:4, Zek 1:21 Nagamba ab'ekyejo nti Temugiranga kyejo:
N'ababi nti Temuyimusanga jjembe:
5Temuyimusanga waggulu jjembe lyammwe
Temwogeranga n'ensingo enkakanyavu.
6 #
Zab 3:3
Kubanga okugulumizibwa tekuva buvanjuba,
Newakubadde ebugwanjuba, newakubadde obukiika obwa ddyo.
7 #
1 Sam 2:7, Zab 50:6, Dan 2:21, Luk 1:52 Naye Katonda ye mulamuzi:
Atoowaza ono, n'oli amugulumiza.
8 #
Yob 21:20, Zab 73:10, Yer 25:15, Kub 14:10 Kubanga mu mukono gwa Mukama ekikompe mwekiri, n'omwenge gwamu guliko ejjovu;
Kijjudde ogutabuddwamu, n'akifuka;
Mazima ebbonda lyagwo ababi bonna ab'ensi balirikutamira, balirinywa.
9Naye nze naabuuliranga emirembe gyonna,
Naayimbanga okutendereza Katonda wa Yakobo.
10 #
1 Sam 2:1, Zab 89:17, Yer 48:25 Era n'amayembe gonna ag'ababi naagazikirizanga;
Naye amayembe g'abatuukirivu ganaagulumizibwanga.
Currently Selected:
Zabbuli 75: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.