YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 76

76
Ya mukulu w'abayimbi; ey'ebintu eby'engoye. Zabbuli ya Asafu, oluyimba.
1Mu Yuda Katonda amanyibwa:
Erinnya lye kkulu mu Isiraeri.
2 # Lub 14:18, Zab 9:11; 27:5 Era mu Salemi eweema ye mweri,
N'ekifo kye ky'atuulamu mu Sayuuni.
3 # Zab 46:9, Ez 39:9 Eyo gye yamenyera obusaale obw'omutego,
Engabo, n'ekitala, n'olutalo. (Seera)
4Oli wa kitiibwa, osinga, okuva ku nsozi ez'omunyago.
5 # Zab 13:3, Yer 51:39, Nak 3:18 Ab'emitima emizira banyagiddwa, beebase mu tulo twabwe;
So mu bantu ab'amaanyi temuli abalabye emikono gyabwe.
6 # Kuv 15:1 Ggwe onenyezza, ggwe Katonda wa Yakobo,
Eggaali era n'embalaasi n'ebyebasibwa otulo otw'okufa.
7 # Yob 41:10, Zab 130:3, Nak 1:6 Ggwe, ggwe ogwanira okutiibwa:
Era ani ayinza okuyimirira mu maaso go ng'omaze okusunguwala?
8 # 2 Byom 20:29,30, Kaab 2:20 Wawuliza omusango nga guvudde mu ggulu;
Ensi n'etya, n'esirika,
9 # Zab 9:7,8 Katonda bwe yagolokoka okusala omusango,
Okulokola abawombeefu bonna abali mu nsi. (Seera)
10 # Kuv 9:16 Mazima obusungu bw'abantu bulikutendereza:
Obusungu obulisigalawo olibwesiba.
11 # Zab 50:14; 68:29; 89:7, Mub 5:4, Is 8:13 Mweyame obweyamo, musasule Mukama Katonda wammwe:
Bonna abamwetoolodde baleetere ebirabo oyo agwanira okutiibwa.
12 # Zab 47:2 Alizikiriza omwoyo gw'abalangira:
Ye w'entiisa eri bakabaka b'ensi.

Currently Selected:

Zabbuli 76: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

Video for Zabbuli 76