Zabbuli 61
61
Ya mukulu w'abayimbi; ey'ekintu eky'engoye. Zabbuli ya Dawudi.
1 #
Zab 55:1,2; 142:6 Owulire okukaaba kwange, ai Katonda;
Olowooze okusaba kwange.
2 #
Zab 18:2; 77:3 Nga nnyima ku nkomerero z'ensi naakukoowoolanga, omutima gwange bwe gunaazirikanga:
Onnuŋŋamye eri ejjinja erinsinga obugulumivu.
3 #
Zab 14:6, Nge 18:10 Kubanga wali kiddukiro gye ndi,
Ekigo eky'amaanyi eri omulabe.
4 #
Zab 17:8; 23:6 Naatuulanga mu weema yo emirembe gyonna:
Neeyunanga ekisiikirize eky'ebiwaawaatiro byo. (Seera)
5Kubanga ggwe, ai Katonda, owulidde obweyamo bwange:
Ompadde obusika bw'abo abaagala erinnya lyo.
6 #
Zab 21:4
Olyongera ku nnaku ez'obulamu bwa kabaka:
Emyaka gye giriba ng'emirembe emingi.
7 #
Zab 40:11
Alibeerera mu maaso ga Katonda ennaku zonna:
Kale teekateeka ekisa n'amazima, biryoke bimuwonye.
8 #
Zab 50:14
Ne ndyoka nnyimba okutendereza erinnya lyo ennaku zonna;
Ntuukirize buli lunaku obweyamo bwange.
Currently Selected:
Zabbuli 61: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.