1
Zabbuli 61:1-2
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
LUG68
Owulire okukaaba kwange, ai Katonda; Olowooze okusaba kwange. Nga nnyima ku nkomerero z'ensi naakukoowoolanga, omutima gwange bwe gunaazirikanga: Onnuŋŋamye eri ejjinja erinsinga obugulumivu.
Compare
Explore Zabbuli 61:1-2
2
Zabbuli 61:3
Kubanga wali kiddukiro gye ndi, Ekigo eky'amaanyi eri omulabe.
Explore Zabbuli 61:3
3
Zabbuli 61:4
Naatuulanga mu weema yo emirembe gyonna: Neeyunanga ekisiikirize eky'ebiwaawaatiro byo. (Seera)
Explore Zabbuli 61:4