YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 108

108
Oluyimba, Zabbuli ya Dawudi
1 # Zab 112:7 # Zab 57:7-11 Omutima gwange gunywedde, ai Katonda;
Naayimba, weewaawo, naayimba okutendereza, naayimba n'ekitiibwa kyange.
2 # 1 Byom 15:16 Muzuukuke, mmwe amadinda n'ennanga:
Nze naakeera nnyo okuzuukuka.
3Naakwebazanga ggwe, ai Mukama, mu mawanga:
Era naayimbanga okukutendereza mu bantu.
4 # Zab 36:5; 113:4 Kubanga okusaasira kwo kungi, kusinga eggulu:
N'amazima go gatuuka mu ggulu.
5 # Zab 57:5 Ogulumizibwe, ai Katonda, okusinga eggulu:
N'ekitiibwa kyo okusinga ensi zonna.
6 # Zab 60:5-12 Muganzi wo alyoke awone,
Olokole n'omukono gwo ogwa ddyo, otuddemu.
7 # Lub 33:17, Zab 89:35 Katonda yayogera mu butukuvu bwe nti Ndijaguza:
Ndisala mu Sekemu, era ndigabaagaba ekiwonvu ekya Sukkosi.
8 # Lub 49:10, Kubal 32:1, Ma 33:17 Gireyaadi wange; Manase wange;
Efulayimu naye yakuuma omutwe gwange;
Yuda gwe muggo gwange ogw'obwakabaka.
9 # 2 Sam 8:1,2,14 Mowaabu kye kinaabirwamu kyange;
Edomu ndimukasukira engatto yange:
Ndyogerera waggulu ku Firisutiya.
10Ani alinnyingiza mu kibuga eky'amaanyi?
Ani eyandeeta mu Edomu?
11 # Zab 44:9 Totusudde, ai Katonda?
So totabaala, ai Katonda, n'eggye lyaffe.
12 # Zab 146:3 Otuyambe eri omulabe:
Kubanga obuyambi bw'abantu tebuliimu.
13 # Zab 44:5; 118:15,16, Is 63:3 Katonda ye alitukoza eby'obuzira:
Kubanga oyo ye alinnyirira ku balabe baffe.

Currently Selected:

Zabbuli 108: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in