YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 105

105
1 # Is 12:4 # 1 Byom 16:8-22 Mumwebazenga Mukama, Mukaabirenga erinnya lye;
Mumanyisenga ebikolwa bye mu mawanga.
2Mumuyimbirenga, muyimbenga okumutendereza;
Mwogerenga ku by'amagero bye byonna.
3Mwenyumirizenga olw'erinnya lye ettukuvu:
Omutima gw'abo abanoonya Mukama gusanyukenga.
4 # Zab 27:8 Munoonyenga Mukama n'amaanyi ge;
Munoonyenga amaaso ge ennaku zonna.
5 # Kuv 6:6, Zab 77:11 Mujjukirenga eby'amagero bye bye yakola;
Eby'ekitalo bye, n'emisango egy'akamwa ke;
6 # Zab 105:42 Mmwe ezzadde lya Ibulayimu omuddu we,
Mmwe abaana ba Yakobo, abalonde be.
7 # Is 26:9 Oyo ye Mukama Katonda waffe:
Emisango gye gibuna ensi zonna.
8 # Ma 7:9, Zab 111:5,9, Luk 1:72 Ajjukira endagaano ye ennaku zonna.
Ekigambo kye yalagira emirembe olukumi;
9 # Lub 17:2; 22:16-18; 26:3, Luk 1:73 Endagaano gye yalagaana ne Ibulayimu,
N'ekirayiro kye yalayirira Isaaka;
10 # Lub 28:13,14; 35:10-12 N'ekyo naakinyweza eri Yakobo okuba etteeka,
Eri Isiraeri, okuba endagaano eteriggwaawo:
11 # Lub 13:15; 15:18 Ng'ayogera nti Ggwe ndiwa ensi ya Kanani,
Omugabo ogw'obusika bwammwe:
12 # Lub 34:30, Beb 11:9 Bwe baali abantu abatono omuwendo gwabwe:
Weewaawo, abatono ennyo, era abo batambuze omwo;
13Ne batambulatambula mu mawanga agatali gamu,
Nga bava mu bwakabaka ne baggukira mu bantu abalala.
14 # Lub 12:17; 35:5 Teyaganya muntu kuboonoona;
Weewaawo, yanenya bakabaka ku lwabwe;
15 # Lub 20:6,7 Ng'ayogera nti Temukwatanga ku abo be nnafukako amafuta,
So temukolanga bubi bannabbi bange.
16 # Lub 41:54, Ez 4:16 N'ayita enjala okugwa ku nsi;
N'amenya omuggo gwabwe gwonna, ye mmere yaabwe.
17 # Lub 37:28,36; 45:5, Bik 7:9 Yabakulembeza omuntu;
Yusufu yatundibwa okuba omuddu:
18 # Lub 39:20 Ebigere bye baabirumya enjegere;
Yagalamira ng'asibiddwa n'ebyuma:
19 # Lub 40:20-22 Okutuusa ekigambo kye lwe kyatuukirira;
Ekigambo kya Mukama kyamukemanga.
20 # Lub 41:14 Kabaka yatuma n'amusumulula;
Ye yafuga amawanga, n'amuteera ddala.
21 # Lub 41:40 N'amufuula omukulu w'ennyumba ye,
N'amuteresa ebintu bye byonna:
22Okusiba abalangira be bw'ayagala,
N'okuyigiriza amagezi abakadde be.
23 # Lub 46:6; 47:11, Bik 7:15; 13:17 Era ne Isiraeri n'ajja mu Misiri;
Yakobo n'atuula mu nsi ya Kaamu.
24 # Kuv 1:7, Bik 7:17 N'ayongera nnyo abantu be,
N'abawa amaanyi okusinga abalabe baabwe.
25 # Kuv 1:8-14, Bik 7:19 N'akyusa omutima gwabwe okukyawa abantu be,
Okukuusakuusa abaddu be.
26 # Kuv 3:10; 4:12, Kub 17:5-8 N'atuma Musa omuddu we,
Ne Alooni gwe yalonda.
27 # Zab 78:43-51 Ne bassa mu bo obubonero bwe,
N'eby'amagero mu nsi ya Kaamu.
28 # Kuv 10:21-23, Zab 99:7 N'aleeta ekizikiza, ekizikiza ne kikwata;
Ne bajeemera ebigambo bye.
29 # Kuv 7:17-21 N'afuula amazzi gaabwe omusaayi,
N'atta ebyennyanja byabwe.
30 # Kuv 8:2-6 Ensi yaabwe n'ejjula ebikere,
Mu nju za bakabaka baabwe.
31 # Kuv 8:16,17,21-24 N'ayogera, ebitole eby'ensowera ne bijja,
N'ensekere mu nsalo zaabwe zonna.
32 # Kuv 9:22-25 N'abawa omuzira mu kifo ky'enkuba,
N'omuliro ogwaka mu nsi yaabwe.
33Era n'akuba n'emizabbibu n'emitiini gyabwe;
N'amenya emiti egy'omu nsalo zaabwe.
34 # Kuv 10:12-15 N'ayogera, enzige ne zijja,
N'obuwuka, era ebyo tebyabalikika omuwendo gwabyo,
35Ne birya buli muddo ogwali mu nsi yaabwe,
Ne birya ebibala eby'ettaka lyabwe.
36 # Kuv 12:29, Zab 78:51 Era n'akuba n'ababereberye bonna abaali mu nsi yaabwe,
Abaali basinga amaanyi mu bazira baabwe bonna.
37 # Kuv 12:35,36 N'abaggyamu nga balina effeeza n'ezaabu:
So tewaali muntu munafu omu mu bika bye.
38 # Kuv 12:33; 15:16 Misiri n'esanyuka bwe baagenda;
Kubanga entiisa yaabwe yali ebaguddeko.
39 # Kuv 13:21, Is 4:5, 1 Kol 10:1 N'ayanjuluza ekire okubabikkangako;
N'omuliro gubaakirenga ekiro.
40 # Kuv 16:12-15, Zab 78:24,27, Yok 6:31 Ne basaba, n'aleeta obugubi,
N'abakkusa emmere ey'omu ggulu.
41 # Kuv 17:6, Kubal 20:11, Is 48:21, 1 Kol 10:4 N'ayasa ejjinja, amazzi ne gatiiriika;
Ne gakulukuta mu bifo ebikalu ng'omugga.
42 # Lub 15:14, Kuv 2:24, Zab 105:6-9 Kubanga yajjukira ekigambo kye ekitukuvu,
Ne Ibulayimu omuddu we.
43 # Kuv 15:1 N'aggyamu abantu be n'essanyu,
N'abalonde be n'okuyimba.
44 # Yos 11:23; 24:13, Zab 78:55 N'abawa ensi ez'amawanga;
Ne batwala ne balya emirimu egy'amawanga:
45 # Ma 4:1,40, Zab 104:35 Balyoke bakwatenga ebiragiro bye,
Beekuumenga amateeka ge.
Mumutendereze Mukama.

Currently Selected:

Zabbuli 105: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in