Okubala 7
7
1 #
Kuv 40:17,18, Leev 8:10,11 Awo olwatuuka ku lunaku Musa lwe yamalirako okusimba ennyumba, era ng'amaze okugifukako amafuta n'okugitukuza, n'ebintu byayo byonna, n'ekyoto n'ebintu byakyo byonna, era ng'amaze okugifukako amafuta n'okubitukuza; 2#Kubal 1:4-16awo abakulu ba Isiraeri, emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe, ne bawaayo; abo be baali abakulu b'ebika, abo be baafuganga abo abaabalibwa: 3ne baleeta ekitone kyabwe mu maaso ga Mukama, amagaali amabikkeko mukaaga, n'ente kkumi na bbiri; eggaali erimu lya bakulu kinnababirye era kinoomu ente: ne babyanjula mu maaso g'ennyumba. 4Mukama n'agamba Musa 5nti Kitoole gye bali, bibeerenga bya kukola omulimu ogw'okuweereza ogw'omu weema ey'okusisinkanirangamu; era onoobiwa Abaleevi, buli muntu ng'okuweereza kwe bwe kuli. 6Musa n'atoola amagaali n'ente, n'abiwa Abaleevi. 7#Kubal 4:24-26Amagaali abiri n'ente nnya bye yawa batabani ba Gerusoni, ng'okuweereza kwabwe bwe kwali: 8#Kubal 4:31-33n'amagaali ana n'ente munaana bye yawa batabani ba Merali, ng'okuweereza kwabwe bwe kwali, wansi w'omukono gwa Isamaali mutabani wa Alooni kabona. 9#Kubal 3:31; 4:15, 2 Sam 6:13, 1 Byom 15:15Naye batabani ba Kokasi teyabawaako: kubanga okuweereza okw'omu watukuvu kwali kwabwe; baakusituliranga ku bibegabega byabwe. 10#1 Bassek 8:63Awo abakulu ne bawaayo olw'okuwonga ekyoto ku lunaku lwe kyafukirwako amafuta, abakulu ne bawaayo ekirabo kyabwe mu maaso g'ekyoto. 11Mukama n'agamba Musa nti Banaawangayo ekitone kyabwe, buli mukulu ku lunaku lwe, olw'okutukuza ekyoto.
12N'oyo eyawaayo ekitone kye ku lunaku olw'olubereberye yali Nakusoni mutabani wa Amminadaabu ow'omu kika kya Yuda: 13#Kuv 29:40,41, Leev 2:4-7, Kubal 15:4n'ekitone kye kyali ssowaani emu ya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu, ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri nsanvu, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta; 14#Kuv 30:34,35ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi, ekijjudde obubaane; 15#Leev 1:2,3ente ennume envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu ogutannamala mwaka gumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; 16#Leev 4:23,24embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; 17#Leev 3:1,6,12era okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abatannamala mwaka gumu: ekyo kye kyali ekitone kya Nakusoni mutabani wa Amminadaabu.
18Ku lunaku olw'okubiri Nesaneri mutabani wa Zuwaali, omukulu wa Isakaali, n'awaayo: 19yawaayo okuba ekitone kye essowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu, ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri ensanvu, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta; 20ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi, ekijjudde obubaane; 21ente ennume envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu ogutannamala mwaka gumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; 22embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; 23era okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abataanamala mwaka gumu: ekyo kye kyali ekitone kya Nesaneri mutabani wa Zuwaali.
24Ku lunaku olw'okusatu Eriyaabu mutabani wa Keroni, omukulu w'abaana ba Zebbulooni n'awaayo: 25ekitone kye kyali ssowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu, ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri ensanvu, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta; 26ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi, ekijjudde obubaane; 27ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu ogutannamala mwaka gumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; 28embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; 29era okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abatannamala mwaka gumu: ekyo kye kyali ekitone kya Eriyaabu mutabani wa Keroni.
30Ku lunaku olw'okuna Erizuuli mutabani wa Sedewuli, omukulu w'abaana ba Lewubeeni, n'awaayo: 31ekitone kye kyali ssowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu, ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri ensanvu, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri: byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta; 32ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi, ekijjudde obubaane; 33ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu ogutannamala mwaka gumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; 34embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; 35era okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abatannamala mwaka gumu: ekyo kye kyali ekitone kya Erizuuli mutabani wa Sedewuli.
36Ku lunaku olw'okutaano Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi, omukulu w'abaana ba Simyoni, n'awaayo: 37ekitone kye kyali ssowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu, ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri nsanvu, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri: byombi nga bijjudde obutta; obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta; 38ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi, ekijjudde obubaane; 39ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu ogutannamala mwaka gumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; 40embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; 41n'okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abatannamala mwaka gumu: ekyo kye kyali ekitone kya Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi.
42Ku lunaku olw'omukaaga Eriyasaafu mutabani wa Deweri, omukulu w'abaana ba Gaadi, n'awaayo: 43ekitone kye kyali ssowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu, ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri nsanvu, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta; 44ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi, ekijjudde obubaane; 45ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu ogutannamala mwaka gumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; 46embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; 47n'okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abatannamala mwaka gumu: ekyo kye kyali ekitone kya Eriyasaafu mutabani wa Deweri.
48Ku lunaku olw'omusanvu Erisaama mutabani wa Ammikudi omukulu w'abaana ba Efulayimu, n'awaayo; 49ekitone kye kyali ssowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu, ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri nsanvu, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta; 50ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi ekijjudde obubaane; 51ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu ogutannamala mwaka gumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; 52embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; 53n'okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abatannamala mwaka gumu: ekyo kye kyali ekitone kya Erisaama mutabani wa Ammikudi.
54Ku lunaku olw'omunaana Gamalyeri mutabani wa Pedazuuli, omukulu w'abaana ba Manase, n'awaayo: 55ekitone kye kyali ssowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu, ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri nsanvu, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta; 56ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi, ekijjudde obubaane; 57ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu ogutannamala mwaka gumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; 58embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; 59n'okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abatannamala mwaka gumu: ekyo kye kyali ekitone kya Gamalyeri, mutabani wa Pedazuuli.
60Ku lunaku olw'omwenda Abidaani mutabani wa Gidiyooni, omukulu w'abaana ba Benyamini, n'awaayo: 61ekitone kye kyali ssowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu, ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri nsanvu, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta; 62ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi, ekijjudde obubaane; 63ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu ogutannamala mwaka gumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; 64embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; 65n'okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abatannamala mwaka gumu; ekyo kye kyali ekitone kya Abidaani mutabani wa Gidiyooni.
66Ku lunaku olw'ekkumi Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi, omukulu w'abaana ba Ddaani, n'awaayo: 67ekitone kye kyali ssowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu, ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri nsanvu, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta; 68ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi, ekijjudde obubaane; 69ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu ogutannamala mwaka gumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; 70embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; 71n'okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abatannamala mwaka gumu: ekyo kye kyali ekitone kya Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi.
72Ku lunaku olw'ekkumi n'olumu Pagiyeeri mutabani wa Okulaani, omukulu w'abaana ba Aseri, n'awaayo: 73ekitone kye kyali ssowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu, ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri nsanvu, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta; 74ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi, ekijjudde obubaane; 75ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu ogutannamala mwaka gumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; 76embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; 77n'okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abatannamala mwaka gumu: ekyo kye kyali ekitone kya Pagiyeeri mutabani wa Okulaani.
78Ku lunaku olw'ekkumi n'ebbiri Akira mutabani wa Enani, omukulu w'abaana ba Nafutaali, n'awaayo: 79ekitone kye kyali ssowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu, ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri nsanvu, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta, okuba ekiweebwayo eky'obutta; 80ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi ekijjudde obubaane; 81ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu ogutannamala mwaka gumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; 82embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; 83n'okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abatannamala mwaka gumu: ekyo kye kyali ekitone kya Akira mutabani wa Enani.
84Kuno kwe kwali okutukuza ekyoto, ku lunaku kwe kyafukirwako amafuta mu mikono gy'abakulu ba Isiraeri: essowaani kkumi na bbiri eza ffeeza, ebibya kkumi na bibiri ebya ffeeza, ebijiiko kkumi na bibiri ebya zaabu: 85buli ssowaani eya ffeeza sekeri kikumi mu asatu, na buli kibya sekeri nsanvu: effeeza yonna ey'ebintu sekeri enkumi bbiri mu bina, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; 86ebijiiko ebya zaabu kkumi na bibiri, ebijjudde obubaane, buli kijiiko sekeri kkumi, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri: zaabu yonna ey'omu bijiiko sekeri kikumi mu abiri: 87#Kubal 7:1,10ente zonna okuba ekiweebwayo ekyokebwa kkumi na bibiri, endiga ennume kkumi na bbiri, abaana b'endiga abalume abatannamala mwaka gumu kkumi na babiri, n'obutta bwabyo obuweebwayo: n'embuzi ennume okuba ekiweebwayo olw'ekibi kkumi na bbiri: 88n'ente zonna okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe ente abiri mu nnya, endiga ennume nkaaga, embuzi ennume nkaaga, abaana b'endiga abalume abatannamala mwaka gumu nkaaga. Okwo kwe kwali okutukuza ekyoto, bwe kyamala okufukibwako amafuta. 89#Kuv 25:22; 33:9-11, Kubal 12:8Awo Musa bwe yayingira mu weema ey'okusisinkanirangamu okwogera naye, n'alyoka awulira Eddoboozi eryo nga lyogera naye nga liyima waggulu ku ntebe ey'okusaasira eyali ku sanduuko ey'obujulirwa, wakati wa bakerubi bombi: n'ayogera naye.
Currently Selected:
Okubala 7: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.