Okubala 6
6
1Mukama n'ayogera ne Musa 2#Leev 27:2, Balam 13:5, Bik 21:23, Bar 1:1nti Yogera n'abaana ba Isiraeri, obagambe nti Omusajja oba omukazi bw'aneeyamanga obweyamo ku bubwe yekka, obweyamo obw'omuwonge, okwewonga eri Mukama: 3#Balam 13:4, Am 2:12, Luk 1:15aneeyawulanga n'omwenge n'ekitamiiza; tanywanga ku mwenge omukaatuufu, n'ewakubadde ekitamiiza ekikaatuufu, so tanywanga ku mazzi g'ezzabbibu, so talyanga zabbibu mbisi newakubadde enkalu. 4Ennaku zonna ez'okwewonga kwe talyanga kintu ekiva ku muzabbibu, newakubadde ensigo newakubadde ebikuta. 5#Balam 16:17, 1 Sam 1:11Ennaku zonna ez'obweyamo bwe obw'okwewonga akamwano tekayitanga ku mutwe gwe: okutuusa ennaku lwe zinaatuukiriranga, ze yeewongeramu eri Mukama, anaabanga mutukuvu, anaalekanga emivumbo gy'enviri ez'oku mutwe gwe okukula. 6#Kubal 19:11,16Ennaku zonna ze yeewongeramu eri Mukama, tasembereranga mulambo. 7#Leev 21:1,2,11Teyeefuulanga atali mulongoofu lwa kitaawe, newakubadde lwa nnyina, newakubadde lwa muganda we, newakubadde lwa mwannyina, bwe banaafanga: kubanga okwewonga kwe eri Katonda kuli ku mutwe gwe. 8Ennaku zonna ez'okwewonga kwe aba mutukuvu eri Mukama. 9#Bik 21:24,27Era omuntu yenna bw'anaafanga amangu ennyo ng'amuliraanye naye n'ayonoona omutwe ogw'okwewonga kwe; kale anaamwanga omutwe gwe ku lunaku olw'okulongoosebwa kwe, ku lunaku olw'omusanvu kw'anaagumweranga. 10#Leev 5:7Ne ku lunaku olw'omunaana anaaleetanga bukaamukuukulu bubiri, oba amayiba amato abiri, eri kabona, ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu: 11awo kabona anaawangayo akamu okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'ak'okubiri okuba ekiweebwayo ekyokebwa, n'amutangirira, kubanga yayonoona olw'abafu, n'atukuza omutwe gwe ku lunaku olwo. 12#Leev 5:6Era anaawonganga eri Mukama ennaku ez'okwewonga kwe, n'aleeta omwana gw'endiga omulume ogutannamala mwaka gumu okuba ekiweebwayo olw'omusango: naye ennaku ezisoose zinaabanga zifudde, kubanga okwewonga kwe kwayonooneka. 13#Bik 21:26Era lino lye tteeka ery'omuwonge, ennaku ez'okwewonga kwe bwe zinaatuukiriranga: anaaleetebwanga ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu: 14#Leev 3:6; 4:32n'awaayo ekitone kye eri Mukama, omwana gw'endiga omulume gumu ogutannamala mwaka gumu ogutaliiko bulema okuba ekiweebwayo ekyokebwa, n'omwana gw'endiga omuluusi gumu ogutannamala mwaka gumu ogutaliiko bulema okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'endiga ennume emu eteriiko bulema okuba ekiweebwayo olw'emirembe, 15#Kuv 29:2,40, Leev 2:4, Kubal 15:5,7n'ekibbo eky'emigaati egitazimbulukuwa, ebitole eby'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta, n'emigaati egy'empewere egitazimbulukuswa egisiigibbwako amafuta, n'obutta bwako obuweebwayo, n'ebyokunywa byako ebiweebwayo. 16Awo kabona anaabyanjulanga mu maaso ga Mukama, n'awaayo ky'awaayo olw'ekibi, n'ekyo ky'awaayo ekyokebwa: 17n'awaayo endiga ennume okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe eri Mukama, awamu n'ekibbo eky'emigaati egitazimbulukuswa: era kabona anaawangayo n'obutta obuweebwayo bwako, n'ebyokunywa byako ebiweebwayo. 18#Bik 21:24Era omuwonge anaamweranga omutwe ogw'okwewonga kwe ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'addira enviiri ez'oku mutwe ogw'okwewonga kwe, n'aziteeka mu muliro oguli wansi wa ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe. 19#Kuv 29:23,24, Leev 8:31Awo kabona anaatwalanga omukono omufumbe ogw'endiga ennume, n'ekitole kimu ekitazimbulukuswa ng'akiggya mu kibbo, n'omugaati ogw'empewere gumu ogutazimbulukuswa, n'abiteeka mu ngalo z'omuwonge, ng'amaze okumwa omutwe ogw'okwewonga kwe: 20#Kuv 29:27,28awo kabona anaabiwuubawuubanga okuba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa mu maaso ga Mukama; ebyo byayawulirwa kabona, awamu n'ekifuba ekiwuubibwawuubibwa n'ekisambi ekisitulibwa: oluvannyuma omuwonge n'alyoka ayinza okunywa omwenge. 21Eryo lye tteeka ery'omuwonge eyeeyama obweyamo, n'ekitone kye ky'awa Mukama olw'okwewonga kwe, obutassaako ebyo byayinza okufuna: ng'obweyamo bwe bw'aneeyamanga bwe bunaabanga, bwe kityo bwe kimugwanira okukola ng'etteeka ery'okwewonga kwe bwe liri.
22Mukama n'ayogera ne Musa 23#Leev 9:22, Ma 21:5, 1 Byom 23:13nti Yogera ne Alooni ne batabani be nti Bwe mutyo bwe munaasabiranga omukisa abaana ba Isiraeri: munaabagambanga nti
24 #
Zab 121:7; 134:3 Mukama akuwe omukisa, akukuume:
25 #
Lub 43:29, Zab 31:16; 67:1; 80:3, Dan 9:17 Mukama akwakize amaaso ge, akukwatirwe ekisa:
26 #
Zab 4:6, 2 Bas 3:16 Mukama akuyimusize amaaso ge, akuwe emirembe.
27 #
Ma 28:10, 2 Byom 7:14, Dan 9:19 Bwe batyo bwe banaateekanga erinnya lyange ku baana ba Isiraeri; nange n'abawanga omukisa.
Currently Selected:
Okubala 6: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.