YouVersion Logo
Search Icon

Okubala 11

11
1 # Leev 10:2, Ma 9:22, Zab 78:21 Abantu ne baba nga beemulugunya, nga boogera bubi mu matu ga Mukama: Mukama bwe yabawulira obusungu bwe ne bubuubuuka; omuliro gwa Mukama ne gwokya mu bo, ne gulya ku nkomerero y'olusiisira. 2Abantu ne bakaabira Musa; Musa n'asaba Mukama, omuliro ne gukkakkana. 3#Kubal 21:7, Yak 5:16Ekifo ekyo ne kituumibwa erinnya Tabera: kubanga omuliro gwa Mukama gwayokya mu bo.
4 # Kuv 12:38, Kubal 14:1, Zab 78:18, 1 Kol 10:6 Awo ekibiina eky'abasenze ekyali mu bo ne batanula okwegomba: n'abaana ba Isiraeri nabo ne bakaaba amaziga nate, ne bagamba nti Ani anaatuwa ennyama okulya? 5#Kuv 16:3Tujjukira ebyennyanja bye twaliiranga obwereere mu Misiri; wujju n'ensujju n'enva n'obutungulu n'eby'okuliira: 6naye kaakano obulamu bwaffe bukalidde ddala; tewali kintu n'akatono: tetulina kintu kye tuba twesiga wabula emmaanu eno. 7#Kuv 16:13-18,31Era emmaanu yaliŋŋanga ensigo za jaada, n'ekifaananyi kyayo ng'ekifaananyi kya bedola. 8Abantu ne batambulatambula, ne bagikuŋŋaanya ne bagiseera ku mmengo, oba ne bagisekulira mu binu, ne bagifumba mu ntamu, ne bagiggyamu emigaati: n'okuwooma kwayo kwaliŋŋanga okuwooma kw'amafuta amaggya. 9Era omusulo bwe gwagwanga ku lusiisira ekiro, emmaanu n'egwanga ku gwo. 10Musa n'awulira abantu nga bakaaba amaziga mu nda zaabwe zonna, buli muntu ku mulyango gw'eweema ye: obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka nnyo: Musa n'anyiiga. 11#Yer 15:10,18; 20:7-18Awo Musa n'agamba Mukama nti Kiki ekikukozezza obubi omuddu wo? era kiki ekindobedde okulaba ekisa mu maaso go, n'okussaako n'onzisaako omugugu gw'abantu bano bonna? 12#Lub 50:24, Kuv 13:5, Ma 1:31Nze nnali olubuto lw'abantu bano bonna? nze nabazaala, n'okugamba n'oŋŋamba nti Basitule mu kifuba kyo nga kitaawe w'omwana omulenzi bw'asitula omwana ayonka, okubatwala mu nsi gye walayirira bajjajja babwe? 13#2 Bassek 4:43, Mat 15:33, Yok 6:7,9Nandiggye wa nze ennyama okugabira abantu bano bonna? kubanga bankaabira nga boogera nti Tuwe ennyama tulye. 14#Kuv 18:18, Ma 1:9,12Nze siyinza kusitula bantu bano bonna nzekka, kubanga bayinze okunzitoowerera. 15#1 Bassek 19:4Era bw'ononkola bw'otyo, nzitira ddala mangu ago, nkwegayiridde, oba nga ndabye ekisa mu maaso go; nneme okulaba ennaku zange.
16 # Kuv 24:1,9 Mukama n'agamba Musa nti Nkuŋŋaanyiza abasajja nsanvu ab'oku bakadde ba Isiraeri, b'omanyi okuba abakadde b'abantu n'abakulu abanaabafuganga; obaleete ku weema ey'okusisinkanirangamu, bayimirire eyo wamu naawe. 17#Kuv 18:22; 19:20, Kubal 11:25; 12:5, 2 Bassek 2:9,15Nange nakka ne njogerera naawe eyo: era naatoola ku mwoyo oguli ku ggwe, ne nguteeka ku bo; nabo banaasitulanga omugugu gw'abantu wamu naawe, olemenga okugusitula ggwe wekka. 18#Kuv 16:3; 19:10, Kubal 11:5Era gamba abantu nti Mwetukulize olunaku olw'enkya, era mulirya ennyama: kubanga mukaabidde amaziga mu matu ga Mukama nga mwogera nti Ani alituwa ennyama okulya? kubanga twali bulungi mu Misiri: Mukama kyaliva abawa ennyama, ne mulya. 19Temuliriirako lunaku lumu, newakubadde ennaku ebbiri, newakubadde ennaku ettaano, newakubadde ennaku ekkumi, newakubadde ennaku abiri; 20naye mwezi mulamba, okutuusa lw'erifulumira mu nnyindo zammwe, ne muginyiwa: kubanga mugaanyi Mukama ali mu mmwe, ne mukaabira amaziga mu maaso ge nga mwogera nti Ekyatuggya ki mu Misiri? 21#Kuv 12:37Musa n'agamba nti Abantu be ndimu wakati, be basajja abatambula n'ebigere obusiriivu mukaaga: naye ogambye nti Ndibawa ennyama baliireko omwezi omulamba. 22Banaabattiranga endiga n'ente okubamalanga? oba balibakuŋŋaanyiza ebyennyanja byonna eby'omu nnyanja okubamalanga?
23 # Is 50:2; 59:1, Ez 12:25; 24:14 Mukama n'agamba Musa nti Omukono gwa Mukama guyimpawadde? kaakano onoolaba oba ng'ekigambo kyange kinaatuukirira gy'oli nantiki si weewaawo. 24Musa n'afuluma n'abuulira abantu ebigambo bya Mukama: n'akuŋŋaanya abasajja nsanvu ab'oku bakadde b'abantu, n'abassaawo okwetooloola Eweema. 25#Kuv 34:5, Kubal 11:17, 1 Sam 10:6Mukama n'akkira mu kire n'ayogera naye, n'atoola ku mwoyo ogwali ku ye, n'aguteeka ku bakadde ensanvu: awo olwatuuka omwoyo bwe gwatuula ku bo ne balagula, naye ne bakomya awo. 26Naye ne musigala mu lusiisira abasajja babiri, erinnya ly'omu Eridaadi, n'erinnya ly'omulala Medadi: omwoyo ne gutuula ku bo; era baali ku muwendo gw'abo abaawandiikibwa, naye baali tebafulumye okugenda ku Weema: ne balagulira mu lusiisira. 27Omulenzi n'adduka n'abuulira Musa n'agamba nti Eridaadi ne Medadi balagulira mu lusiisira. 28#Mak 9:38Yoswa mutabani wa Nuuni, omuweereza wa Musa, omu ku basajja be abalonde, n'addamu n'agamba nti Mukama wange Musa, bagaane. 29Musa n'agamba nti Obuggya bukukutte ku lwange? abantu bonna aba Mukama singa bannabbi, Mukama singa abateekako omwoyo gwe! 30Musa ne yeddirayo mu lusiisira, ye n'abakadde ba Isiraeri. 31#Zab 78:26-28Empewo n'efuluma eri Mukama, n'ereeta obugubi okuva ku nnyanja, n'ebugwisa mu lusiisira, ng'olugendo olw'olunaku olumu ku luuyi luno, n'olugendo olw'olunaku olumu ku luuyi luli, okwetooloola olusiisira, ng'emikono ebiri okutuuka ku ttaka we bwali. 32#Ez 45:11Abantu ne bagolokoka ne bazibya olunaku olwo, ne bakeesa obudde, ne bazibya obudde obw'enkya, ne bakuŋŋaanya obugubi: eyakuŋŋaanya obutono, yakuŋŋaanya komeri kkumi: ne babweyanikira wonna wonna okwetooloola olusiisira. 33#Zab 78:30,31Ennyama bwe yali ng'ekyali wakati mu mannyo gaabwe, nga tebannaba kugigaaya, obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka ku bantu, Mukama n'akuba abantu ekibonyoobonyo kinene nnyo. 34Ekifo ekyo ne kituumibwa erinnya Kiberosukataava: kubanga we baaziika abantu abeegomba. 35#Kubal 12:16; 33:17Abantu ne basitula e Kiberosukataava ne batambula ne bagenda e Kazerosi; ne batuula e Kazerosi.

Currently Selected:

Okubala 11: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in