Okubala 10
10
1Mukama n'agamba Musa 2#Zab 81:3nti Weekolere amakondeere abiri ga ffeeza; onoogakola n'omulimu omuweese: era ganaabanga gy'oli ga kuyita kibiina, era ga kutambuza nsiisira. 3#Yer 4:5, Yo 2:15Era bwe banaagafuuwanga, ekibiina kyonna kinaakuŋŋaaniranga gy'oli ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu. 4#Kuv 18:21, Kubal 1:16; 7:2Era bwe banaafuuwanga erimu lyokka, kale abakulu, emitwe gy'enkumi za Isiraeri, banaakuŋŋaaniranga gy'oli. 5#Kubal 2:3-9Era bwe munaagafuuwanga okugalaya, ensiisira eziri ku luuyi olw'ebugwanjuba zinaatambulanga. 6#Kubal 2:10-16Era bwe munaagafuuwanga okugalaya omulundi ogw'okubiri, ensiisira eziri ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo zinaatambulanga: banaagafuuwanga okugalaya olw'okutambula kwabwe. 7#1 Byom 15:24Naye ekibiina bwe kinaabanga kya kukuŋŋaanyizibwa, munaafuuwanga, naye temugalayanga. 8Ne batabani ba Alooni, bakabona, banaafuuwanga amakondeere; era ganaabanga gye muli tteeka eritaliggwaawo mu mirembe gyammwe gyonna. 9#Balam 2:18; 3:27; 4:3, Kubal 31:6, 1 Sam 10:18, 2 Byom 13:12Era bwe munaatabaalanga mu nsi yammwe omulabe abajooga, kale munaafuuwanga amakondeere okugalaya; era munajjukirwanga mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, era munaalokokanga mu balabe bammwe. 10#Leev 23:24, 1 Byom 15:24, 2 Byom 5:12,13; 7:6; 29:26-28, Zab 81:3Era ku lunaku olw'essanyu lyammwe ne ku mbaga zammwe ezaalagirwa, n'emyezi gyammwe we ginaasookeranga, munaafuuwanga amakondeere ago ku biweebwayo byammwe ebyokebwa ne ku ssaddaaka ez'ebyammwe ebiweebwayo olw'emirembe; era ganaabanga gye muli kijjukizo mu maaso ga Katonda wammwe: nze Mukama Katonda wammwe.
11 #
Kubal 9:17
Awo olwatuuka mu mwaka ogw'okubiri, mu mwezi ogw'okubiri, ku lunaku olw'abiri olw'omwezi, ekire ne kiggibwa kungulu ku weema ey'obujulirwa. 12#Kuv 19:1,2; 40:36, Kubal 9:5; 12:16Abaana ba Isiraeri ne basitula ng'ebiramago byabwe bwe byali ne bava mu ddungu lya Sinaayi; ekire ne kiyimirira mu ddungu lya Palani. 13#Kubal 2:34Ne basooka okusitula ng'ekiragiro kya Mukama bwe kyali mu mukono gwa Musa. 14#Kubal 2:3-9Ebendera ey'olusiisira olw'abaana ba Yuda n'ekulembera n'esitula ng'eggye lyabwe bwe lyali: n'omukulu w'eggye lye yali Nakusoni mutabani wa Amminadaabu. 15N'omukulu w'eggye ly'ekika ky'abaana ba Isakaali yali Nesaneri mutabani wa Zuwaali. 16N'omukulu w'eggye ly'ekika ky'abaana ba Zebbulooni yali Eriyaabu mutabani wa Keroni. 17#Kubal 1:51; 4:24,33Ennyumba n'esimbulibwa; batabani ba Gerusoni ne batabani ba Merali, abeetikkanga ennyumba, ne basitula. 18#Kubal 2:10-16Ebendera y'olusiisira lwa Lewubeeni n'etambula ng'eggye lyabwe bwe lyali: n'omukulu w'eggye lye yali Erizuuli mutabani wa Sedewuli. 19N'omukulu w'eggye ly'ekika ky'abaana ba Simyoni yali Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi. 20N'omukulu w'eggye ly'ekika ky'abaana ba Gaadi yali Eriyasaafu mutabani wa Deweri. 21#Kubal 1:51; 4:4,15Abakokasi ne beetikka nga basitudde awatukuvu: bali ne basimbanga ennyumba bo nga tebannatuuka. 22#Kubal 2:18-24Ebendera ey'olusiisira lw'abaana ba Efulayimu n'esitula ng'eggye lyabwe bwe lyali: n'omukulu w'eggye lye yali Erisaama mutabani wa Ammikudi. 23N'omukulu w'eggye ly'ekika ky'abaana ba Manase yali Gamalyeri mutabani wa Pedazuuli. 24N'omukulu w'eggye ly'ekika ky'abaana ba Benyamini yali Abidaani mutabani wa Gidiyooni. 25#10:25-27 Kubal 2:25-31Ebendera y'olusiisira lw'abaana ba Ddaani, eyasembanga ensiisira zonna, n'esitula ng'eggye lyabwe bwe lyali: n'omukulu w'eggye lye yali Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi. 26N'omukulu w'eggye ly'ekika ky'abaana ba Aseri yali Pagiyeeri mutabani wa Okulaani. 27N'omukulu w'eggye ly'ekika ky'abaana ba Nafutaali yali Akira mutabani wa Enani. 28Okwo kwe kwali okutambula kw'abaana ba Isiraeri ng'eggye lyabwe bwe lyali; ne basitula.
29 #
Lub 12:7; 32:12, Kuv 2:18; 3:8; 6:7,8 Awo Musa n'agamba Kobabu mutabani wa Leweri Omumidiyaani, mukoddomi wa Musa, nti Tutambula okugenda mu kifo Mukama kye yayogerako nti Ndikibawa: jjangu ggwe ogende naffe, naffe tunaakukolanga bulungi: kubanga Mukama yayogera ebirungi ku Isiraeri. 30N'amugamba nti Sijja kugenda: naye naddayo mu nsi y'ewaffe n'eri enda zange. 31N'agamba nti Totuleka, nkwegayiridde; kubanga ggwe omanyi bwe tuba tusiisiranga mu ddungu, era onoobanga gye tuli ng'amaaso. 32#Balam 1:16; 4:11Kale olunaatuukanga, bw'onoogenda naffe, weewaawo, olunaatukanga buli birungi byonna Mukama by'anaatukolanga ffe, ebyo tunaakukolanga naawe.
33 #
Kuv 13:21, Zab 105:39 Ne basitula ne bava ku lusozi lwa Mukama okutambula olugendo olw'ennaku essatu; n'essanduuko ey'endagaano ya Mukama n'ebakulembera olugendo olw'ennaku essatu okubanoonyeza ekifo eky'okuwummuliramu. 34N'ekire kya Mukama kyabanga ku bo emisana, bwe baasitulanga okuva mu lusiisira.
35 #
Zab 68:1
Awo olwatuukanga essanduuko bwe yasitulwanga Musa n'ayogera nti Golokoka, ai Mukama, abalabe bo basaasaanyizibwe; n'abo abakukyaye badduke mu maaso go. 36Era bwe yayimiriranga n'ayogera nti Komawo, ai Mukama, eri obukumi obw'enkumi za Isiraeri.
Currently Selected:
Okubala 10: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.