Mikka 2
2
1 #
Zab 36:4
Ziribasanga abo abateesa obutali butuukirivu, era abakolera obubi ku biriri byabwe! obudde bwe bukya, babukola, kubanga buli mu buyinza bw'emikono gyabwe. 2#Is 5:8N'abo abeegomba ebyalo ne babinyaga; era ennyumba, ne bazitwala; era bajooga omusajja n'ennyumba ye, era omuntu n'obusika bwe. 3#Yer 8:3, Am 3:1,2; 5:13Mukama kyava ayogera bw'ati nti Laba, nteesa akabi ku kika kino, ke mutaliggyamu bulago bwammwe, so temulitambuza malala; kubanga bino bye biro ebibi. 4#Kaab 2:6Ku lunaku luli balibagerera olugero, era balikuba ebiwoobe ebirimu obuyinike obungi, era balyogera nti Tunyagiddwa ddala; awaanyisa omugabo ogw'abantu bange; ng'akinziyako! agabira abajeemu ebyalo byaffe. 5Kyoliva olema okubeera n'omuntu alisuula omugwa, akalulu bwe kamugwako, mu kkuŋŋaaniro lya Mukama. 6#Am 2:12Temulagulanga, bwe batyo bwe balagula. Tebaliragulira abo; ebivume tebiriggibwawo; 7kiryogerwa, ggwe ennyumba ya Yakobo, nti Omwoyo gwa Mukama gufunze? bino bye bikolwa bye? Ebigambo byange tebiwoomera oyo atambula n'obugolokofu? 8#2 Byom 28:8Naye mu nnaku zino abantu bange bayimuse ng'abalabe; muggyako essuuka ku ngoye z'abo abayita nga tebaliiko kye batya, ng'abantu abatayagala kulwana. 9Abakazi ab'abantu bange mubagoba mu nnyumba zaabwe ezibasanyusa; ku baana baabwe abato mubaggyako ekitiibwa kyange emirembe gyonna. 10#Leev 18:25, Ma 12:9, Beb 13:14Muyimuke, mugende; kubanga wano si kiwummulo kyammwe; olw'empitambi ezikiriza, era n'okuzikiriza okutenkanika. 11#Yer 5:13, Am 2:12Omuntu atambula n'omwoyo ogw'okulimba, bw'alimba ng'ayogera nti Ndikulagulira eby'omwenge n'ebitamiiza, ye aliba omulaguzi ow'abantu bano.
12 #
2 Bassek 25:11, Yer 31:10 Sirirema kukuŋŋaanya ab'ewammwe bonna, ggwe Yakobo; sirirema kuleeta aba Isiraeri abalisigalawo; ndibateeka awamu ng'endiga eza Bozula; ng'ekisibo ekiri wakati w'eddundiro lyazo, baliyoogaana nnyo kubanga abantu bangi. 13#2 Bassek 25:10, Is 52:12Oyo awagula ayambuse mu maaso gaabwe; bawagudde bayise batuuse ku luggi olwa wankaaki, era bafulumidde omwo; era kabaka waabwe ayise mu maaso gaabwe, Mukama abakulembedde.
Currently Selected:
Mikka 2: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.