Mikka 1
1
1 #
Is 1:1, Yer 26:18, Kos 1:1 Ekigambo kya Mukama ekyaja eri Mikka, Omumolasuuti, mu mirembe gya Yosamu, Akazi, ne Keezeekiya, bassekabaka ba Yuda, kye yalaba ku Samaliya ne ku Yerusaalemi.
2 #
Zab 11:4; 50:7, Is 1:2, Mal 3:5 Muwulire, mmwe ab'amawanga mwenna; tega amatu go, ggwe ensi, n'ebyo byonna ebirimu; Mukama Katonda abe mujulirwa eri mmwe, Mukama ng'ayima mu yeekaalu ye entukuvu. 3#Is 26:21, Am 4:13Kubanga, laba, Mukama ava mu kifo kye, alikka alitambulira ku bifo ebigulumivu eby'ensi. 4#Zab 97:5, Nak 1:5N'ensozi zirisaanuuka wansi we n'enkonko ziryatika ng'ebisenge by'enjuki mu maaso g'omuliro, ng'amazzi agayiikira awali ebbanga. 5#2 Byom 28:4Olw'okwonoona kwa Yakobo ebyo byonna biribaawo n'olw'ebibi eby'ennyumba ya Isiraeri. Okwonoona okwa Yakobo kiki? si Samaliya? ebifo ebigulumivu ebya Yuda kiki? si Yerusaalemi? 6#1 Bassek 16:24, Mi 3:12Kale ndifuula Samaliya ng'ekifunvu mu ttale; ng'ebizabbibu ebisimbe; nange ndisuula amayinja gaakyo mu lukonko, era ndyerula emisingi gyakyo. 7#Kos 2:12; 8:6Ebifaananyi byakyo byonna birisekulwasekulwa n'empeera zaakyo zonna ziryokebwa omuliro, nange ndizikiriza ebifaananyi byakyo byonna; kubanga yazikuŋŋaanya nga ziva mu mpeera ey'omukazi omwenzi, era ziridda eri empeera ey'omwenzi. 8#Yob 30:29, Is 20:2-4; 22:4Kyendiva mpowoggana, ndikuba ebiwoobe, nditambula nga nnyambudde engoye zange era nga ndi bwereere; ndikaaba ng'ebibe, ndijoonajoona nga bamaaya. 9#Kos 5:13Kubanga ebiwundu bye tebiwonyezeka; kubanga kituuse ne ku Yuda; kituuse ku luggi olwa wankaaki olw'abantu bange, era ku Yerusaalemi. 10#2 Sam 1:20, Yer 6:26Temukibuulira mu Gaasi, temukaaba amaziga n'akatono: ku Besuleyafula nneekulukuunyizza mu nfuufu. 11Muyite muveeyo, ggwe abeera mu Safiri, ng'oli bwereere, era ng'okwatibwa ensonyi; oyo abeera mu Zanani tavuddeemu; ebiwoobe bya Beswezeeri birikuggyako ekikondo kyakyo. 12#Am 3:6Kubanga oyo abeera mu Malosi yeeraliikirira ng'alindirira ebirungi; kubanga akabi kasse, kavudde eri Mukama ku luggi olwa wankaaki olwa Yerusaalemi. 13#2 Bassek 18:14,17, Kos 13:1Siba eggaali ku mbalaasi esinga embiro, ggwe abeera mu Lakisi: oyo ebibi kwe byasookera eri omuwala wa Sayuuni; kubanga ebyonoono bya Isiraeri byalabika mu ggwe. 14Kyoliva owa ekirabo Molesesu-gaasi, eky'okusiibula; ennyumba za Akuzibu ziriba eky'obulimba eri bassekabaka ba Isiraeri. 15Nkyagenda okuleeta gy'oli, ggwe abeera mu Malesa, oyo aliba nnannyini ggwe; ekitiibwa kya Isiraeri kirituuka era ku Adulamu. 16#Is 22:12Weemwe osalire enviiri abaana abakusanyusa; gaziya ekiwalaata kyo ng'empungu; kubanga bakuggiddwako bagenze mu kusibibwa.
Currently Selected:
Mikka 1: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.