Matayo 23
23
1 #
Mak 12:38-40, Luk 20:45,47, Luk 11:39-52 Awo Yesu n'ayogera n'ebibiina n'abayigirizwa be, 2ng'agamba nti Abawandiisi n'Abafalisaayo batudde ku ntebe ya Musa: 3#Mal 2:7,8kale ebigambo byonna bye babagamba, mubikole mubikwate: naye temukola nga bo bwe bakola; kubanga boogera naye tebakola. 4Era basiba emigugu egizitowa egiteetikkika, bagitikka abantu ku kibegabega; naye bo bennyini tebaagala kuginyeenyaako n'engalo yaabwe. 5#Mat 6:1, Kuv 13:9, Kubal 15:38,39Naye ebikolwa byabwe byonna babikola era abantu babirabe, kubanga bagaziya fulakuteri zaabwe, era bongerako amatanvuuwa, 6#Luk 14:7, Mat 6:5era baagala ebifo eby'oku mwanjo ku mbaga, n'entebe ez'ekitiibwa mu makuŋŋaaniro, 7n'okulamusibwa mu butale, n'okuyitibwa abantu nti Labbi. 8Naye mmwe temuyitibwanga Labbi: kubanga, omuyigiriza wammwe ali omu, nammwe mwenna muli ba luganda. 9Era temuyitanga muntu ku nsi kitammwe: kubanga Kitammwe ali omu, ali mu ggulu. 10So temuyitibwanga balagirizi: kubanga omulagirizi wammwe ali omu, ye Kristo. 11#Mat 20:26,27Naye mu mmwe abasinga obukulu anaabanga muweereza wammwe. 12#Nge 29:23, Yob 22:29, Ez 21:26, Luk 18:14, 1 Peet 5:5Na buli aneegulumizanga anakkakkanyizibwanga; na buli aneekakkanyanga anaagulumizibwanga.
13Naye ziribasanga mmwe, abawandiisi n'Abafalisaayo, bannanfuusi! kubanga muggalira obwakabaka obw'omu ggulu mu maaso g'abantu: kubanga mmwe temuyingira, n'abo ababa bayingira temubaganya kuyingira.
[ 14Ziribasanga mmwe, abawandiisi n'Abafalisaayo, bannanfuusi! Kubanga mulya ennyumba za bannamwandu, era ne mwefuula abasaba ennyo: n'olwekyo mulibaako omusango ogusinga obunene.]
15Ziribasanga mmwe, abawandiisi n'Abafalisaayo, bannanfuusi! kubanga mwetooloola mu nnyanja ne ku lukalu okukyusa omuntu omu; naye bw'alabika, mumufuula mwana wa Ggeyeena emirundi ebiri okukira mmwe.
16 #
Mat 15:14
Ziribasanga mmwe, abasaale abazibe b'amaaso, abagamba nti Buli anaalayiranga yeekaalu, nga si kintu; naye buli anaalayiranga ezaabu ey'omu yeekaalu, ng'azzizza omusango. 17Mmwe abasiru era abazibe b'amaaso; kubanga ekikira obukulu kiruwa, ezaabu, oba yeekaalu etukuza ezaabu? 18Oba mugamba nti Omuntu bw'anaalayiranga ekyoto, nga si kintu; naye buli anaalayiranga ekitone ekiriko, ng'azzizza omusango. 19#Kuv 29:37Mmwe abazibe b'amaaso: kubanga ekikira obukulu kiruwa, ekitone, oba ekyoto ekitukuza ekitone? 20Naye alayira ekyoto, alayira kyo, ne byonna ebiriko. 21Naye alayira yeekaalu, alayira yo, n'oyo atuula omwo. 22#Mat 5:34Naye alayira eggulu, alayira ntebe ya Katonda, n'oyo agituulako.
23 #
Leev 27:30, Mi 6:8 Ziribasanga mmwe, abawandiisi n'Abafalisaayo, bannanfuusi! kubanga muwa ekitundu eky'ekkumi ekya nnabbugira ne aneta ne kkumino, ne mulekayo ebigambo ebikulu eby'amateeka, obutalyanga nsonga, n'ekisa, n'okukkirizanga: naye bino kyabagwanira okubikola, era na biri obutabirekaayo. 24Mmwe abasaale abazibe b'amaaso abasengejja ensiri, ne mumira eŋŋamira.
25 #
Mak 7:4
Ziribasanga mmwe abawandiisi n'Abafalisaayo, bannanfuusi! kubanga munaaza kungulu ku kikompe n'ekibya, naye munda mujjudde obunyazi n'obuteegendereza. 26#Tit 1:15, Yok 9:40Ggwe Omufalisaayo omuzibe w'amaaso, sooka onaaze munda mu kikompe n'ekibya, ne kungulu kwakyo kulyoke kube kulungi.
27 #
Bik 23:3
Ziribasanga mmwe, abawandiisi n'Abafalisaayo, bannanfuusi! kubanga mufaanana amalaalo agasiigibwa okutukula, agalabika kungulu nga gawoomye, naye munda mujjudde amagumba g'abafu, n'empitambi yonna. 28#Luk 16:15Bwe mutyo nammwe kungulu mulabika mu bantu nga muli batuukirivu, naye munda mujjudde obunnanfuusi n'obujeemu.
29Ziribasanga mmwe, abawandiisi n'Abafalisaayo, bannanfuusi! kubanga muzimba amalaalo ga bannabbi, muwoomya ebiggya by'abatuukirivu, 30ne mugamba nti Singa twaliwo mu biro bya bajjajjaffe, tetwandissizza kimu nabo mu musaayi gwa bannabbi. 31#Bik 7:52Bwe mutyo mwetegeeza mwekka nti muli baana baabwe abatta bannabbi. 32Kale mujjuze ekigera kya bajjajjammwe. 33#Mat 3:7Mmwe emisota, abaana b'embalasaasa, mulidduka mutya omusango ogwa Ggeyeena? 34#Mat 13:52; 10:23, 1 Bas 2:15Laba, kyenva mbatumira bannabbi, n'ab'amagezi, n'abawandiisi: n'abamu ku bo mulibatta mulibakomerera; n'abalala mulibakuba emiggo mu makuŋŋaaniro gammwe, mulibayigganya mu byalo byonna: 35#Lub 4:8, 2 Byom 24:20,21mulyoke mujjirwe omusaayi gwonna omutuukirivu ogwayiika ku nsi, okusookera ku musaayi gwa Abiri oyo omutuukirivu okutuusa ku musaayi gwa Zaakaliya omwana wa Balakiya, gwe mwattira wakati wa yeekaalu n'ekyoto. 36Mazima mbagamba nti Ebigambo bino byonna birituukirira ab'emirembe gino.
37 #
Luk 13:34,35, Bik 7:59, 1 Bas 2:15 Yerusaalemi, Yerusaalemi, atta bannabbi, akasuukirira amayinja abantu abatumibwa gy'ali! emirundi emeka gye nnayagalira ddala okukuŋŋaanya abaana bo, ng'enkoko bw'ekuŋŋaanya obwana bwayo munda w'ebiwaawaatiro byayo, ne mutayagala! 38#Yer 22:5; 12:7, 1 Bassek 9:7,8Laba, ennyumba yammwe ebalekeddwa kifulukwa. 39#Mat 21:9, Zab 118:26 Kubanga mbagamba nti Temulindabako n'akatono okusooka leero, okutuusa lwe mulyogera nti Aweebwa omukisa ajja mu linnya lya Mukama.
Currently Selected:
Matayo 23: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.