Ziribasanga mmwe, abawandiisi n'Abafalisaayo, bannanfuusi! kubanga muwa ekitundu eky'ekkumi ekya nnabbugira ne aneta ne kkumino, ne mulekayo ebigambo ebikulu eby'amateeka, obutalyanga nsonga, n'ekisa, n'okukkirizanga: naye bino kyabagwanira okubikola, era na biri obutabirekaayo.