YouVersion Logo
Search Icon

Matayo 1

1
1 # 1 Byom 17:11, Lub 5:1; 22:18 # Luk 3:23-38 Ekitabo eky'okuzaalibwa kwa Yesu Kristo, omwana wa Dawudi, omwana wa Ibulayimu.
2 # Lub 21:3,12; 25:26; 29:25; 49:10, 1 Byom 1:34 Ibulayimu yazaala Isaaka; Isaaka n'azaala Yakobo; Yakobo n'azaala Yuda ne baganda be; 3#1 Byom 2:5,9, Lub 38:29,30, Luus 4:18-22Yuda n'azaala Pereezi ne Zeera mu Tamali; Pereezi n'azaala Keezulooni; Keezulooni n'azaala Laamu; 4#1 Byom 2:10-12Laamu n'azaala Amminadaabu; Amminadaabu n'azaala Nasoni; Nasoni n'azaala Salumooni; 5#Luus 4:13-17Salumooni n'azaala Bowaazi mu Lakabu; Bowaazi n'azaala Obedi mu Luusi; Obedi n'azaala Yese; 6#2 Sam 12:24Yese n'azaala Dawudi kabaka.
Dawudi n'azaala Sulemaani mu muka Uliya; 7#1 Byom 3:10-14Sulemaani n'azaala Lekobowaamu; Lekobowaamu n'azaala Abiya; Abiya n'azaala Asa; 8Asa n'azaala Yekosafaati; Yekosafaati n'azaala Yolaamu; Yolaamu n'azaala Uzziya; 9Uzziya n'azaala Yosamu; Yosamu n'azaala Akazi; Akazi n'azaala Kezeekiya; 10Kezeekiya n'azaala Manaase; Manaase n'azaala Amoni; Amoni n'azaala Yosiya; 11#1 Byom 3:15,16Yosiya n'azaala Yekoniya ne baganda be, mu biro eby'okutwalibwa e Babulooni.
12 # 1 Byom 3:17, Ezer 3:2 Oluvannyuma olw'okutwalibwa e Babulooni, Yekoniya n'azaala Seyalutyeri; Seyalutyeri n'azaala Zerubbaberi; 13Zerubbaberi n'azaala Abiwuudi; Abiwuudi n'azaala Eriyakimu; Eriyakimu n'azaala Azoli; 14Azoli n'azaala Sadoki; Sadoki n'azaala Akimu; Akimu n'azaala Eriwuudi; 15Eriwuudi n'azaala Ereyazaali; Ereyazaali n'azaala Mataani; Mataani n'azaala Yakobo; 16#Mat 27:17,22Yakobo n'azaala Yusufu, eyali bba Malyamu, eyazaala Yesu ayitibwa Kristo.
17Bwe gityo emirembe gyonna, okuva ku Ibulayimu okutuuka ku Dawudi, emirembe kkumi n'ena; nate, okuva ku Dawudi okutuuka ku kutwalibwa e Babulooni, emirembe kkumi n'ena; nate, okuva ku kutwalibwa e Babulooni okutuuka ku Kristo, emirembe kkumi n'ena.
18 # Luk 1:35 N'okuzaalibwa kwa Yesu Kristo kwali bwe kuti. Malyamu nnyina bwe yali ng'akyayogerezebwa Yusufu, baali nga tebannaba kufumbiriganwa, n'alabika ng'ali lubuto olw'Omwoyo Omutukuvu. 19Awo Yusufu bba, kubanga yali muntu mutuukirivu, n'atayagala kumukwasa nsonyi, yali alowooza okumulekayo kyama. 20Laba bwe yali alowooza bw'atyo, malayika wa Mukama n'ajja gy'ali mu kirooto, n'amugamba nti Yusufu omwana wa Dawudi, totya kutwala Malyamu mukazi wo, kubanga olubuto lwe lwa Mwoyo Mutukuvu. 21#Luk 1:31; 2:21, Bik 4:12Naye alizaala omwana wa bulenzi; naawe olimutuuma erinnya lye YESU; kubanga ye ye alirokola abantu be mu bibi byabwe. 22#Is 7:14Ebyo byonna byakolebwa, bituukirire mukama bye yayogerera mu nnabbi, ng'agamba nti
23Laba, omuwala atamanyi musajja aliba olubuto, era alizaala omwana wa bulenzi,
Balimutuuma erinnya lye Emmanweri;
eritegeezebwa nti Katonda ali naffe. 24Yusufu bwe yazuukuka mu tulo, n'akola nga malayika wa Mukama bwe yamulagira, n'atwala mukazi we, 25so teyamumanya okutuusa lwe yamala okuzaala omwana: n'amutuuma erinnya lye YESU.

Currently Selected:

Matayo 1: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy