Malaki 4
4
1 #
Is 47:14, Mal 3:2, Mat 3:12, 2 Bas 1:7,8 Kubanga, laba, olunaku lujja, lwokya ng'ekikoomi; n'ab'amalala bonna n'abo bonna abakola obubi baliba bisasiro: awo olunaku olujja lulibookera ddala, bw'ayogera Mukama w'eggye, obutabalekerawo kikolo newakubadde ettabi. 2#Zab 84:11, Is 53:5, Luk 1:78, Yok 8:12; 12:46Naye mmwe abatya erinnya lyange enjuba ey'obutuukirivu eribaviirayo ng'erina okuwonya mu biwaawaatiro byayo, kale mulifuluma ne muligita ng'ennyana ez'omu kisibo. 3Era mulirinnyirira ababi; kubanga baliba vvu wansi w'ebigere byammwe, ku lunaku lwe ndikolerako, bw'ayogera Mukama w'eggye.
4 #
Kuv 20:3-17, Ma 4:9,10 Mujjukire amateeka ga Musa omuddu wange, ge nnamulagiririra ku Kolebu olwa Isiraeri yenna, ebiragiro n'emisango. 5#Yo 2:31, Mal 3:1, Mat 11:14Laba, ndibatumira Eriya nnabbi olunaku olukulu olw'entiisa olwa Mukama nga terunnaba kutuuka. 6#Is 11:4, Luk 1:17Era alikyusa omutima gwa bakitaabwe eri abaana, n'omutima gw'abaana eri bakitaabwe; nneme okujja ne nkuba ensi n'ekikolimo.
Currently Selected:
Malaki 4: LUG68
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.