N'okuzaalibwa kwa Yesu Kristo kwali bwe kuti. Malyamu nnyina bwe yali ng'akyayogerezebwa Yusufu, baali nga tebannaba kufumbiriganwa, n'alabika ng'ali lubuto olw'Omwoyo Omutukuvu. Awo Yusufu bba, kubanga yali muntu mutuukirivu, n'atayagala kumukwasa nsonyi, yali alowooza okumulekayo kyama.