YouVersion Logo
Search Icon

Malaki 3

3
1 # Is 40:3, Mat 11:10, Mak 1:2, Luk 1:76; 7:27 Laba, ntuma omubaka wange, naye alirongoosa ekkubo mu maaso gange: era Mukama gwe munoonya alijja mu yeekaalu ye nga tebamanyiridde; n'omubaka w'endagaano gwe musanyukira, laba, ajja bw'ayogera Mukama w'eggye 2#Is 4:4, Yo 2:11Naye ani ayinza okugumiikiriza olunaku olw'okujja kwe? era ani aliyimirira ye bw'alirabika? kubanga aliŋŋanga omuliro gw'oyo alongoosa effeeza, era nga sabbuuni ow'aboozi: 3#Is 1:25, Zek 13:9era alituula ng'oyo alongoosa effeeza n'agimalamu amasengere, era alirongoosa batabani ba Leevi, era alibasengejja ng'ezaabu n'effeeza; awo baliwaayo eri Mukama ebiweebwayo mu butuukirivu. 4#Ez 20:40Awo ekiweebwayo ekya Yuda ne Yerusaalemi ne kiryoka kisanyusa Mukama nga mu nnaku ez'edda era nga mu myaka egyayitawo. 5#Leev 19:13, Ma 24:17, Yer 29:23Era ndibasemberera okusala omusango; era ndiba mujulirwa mwangu eri abalogo n'eri abenzi n'eri abalayira eby'obulimba; n'eri abo abalyazaamaanya omupakasi empeera ye, nnamwandu n'atalina kitaawe, era abagoba munnaggwanga obutamuwa bibye, so tebantya, bw'ayogera Mukama w'eggye. 6#Zab 102:27, Kung 3:22Kubanga nze Mukama sijjulukuka: mmwe, batabani ba Yakobo, kyemuva mulema okumalibwawo.
7 # Zek 1:3, Bik 7:51 Okuva ku nnaku za bajjajjammwe nga mukyuka okukyama mu biragiro byange, so temubikwatanga. Mudde gye ndi, nange nadda gye muli, bw'ayogera Mukama w'eggye. Naye mwogera nti Tunadda tutya? 8#Nek 13:10Omuntu alinyaga Katonda? naye mmwe munnyaga nze. Naye mwogera nti Twakunyaga tutya? Mwannyagako ebitundu eby'ekkumi n'ebiweebwayo. 9Mukolimiddwa ekikolimo ekyo; kubanga munnyaga nze, eggwanga lino lyonna. 10#Lub 7:11, Nge 3:9,10, 2 Kol 9:6-8Muleete ekitundu eky'ekkumi ekiramba mu ggwanika, ennyumba yange ebeeremu emmere, era munkeme nakyo, bw'ayogera Mukama w'eggye, oba nga siribaggulirawo ebituli eby'omu ggulu, ne mbafukira omukisa, ne wataba na bbanga we guligya. 11Era ndinenya omuli ku lwammwe, so talizikiriza bibala bya ttaka lyammwe; so n'omuzabbibu gwammwe tegulikunkumula bibala byagwo mu nnimiro entuuko nga tezinnatuuka, bw'ayogera Mukama w'eggye. 12#Is 62:4, Zef 3:19Era amawanga gonna galibayita ba mukisa: kubanga muliba nsi esanyusa, bw'ayogera Mukama w'eggye.
13 # Mal 2:17 Ebigambo byammwe byabanga biwaganyavu eri nze, bw'ayogera Mukama. Era naye mwogera nti Twakwogerako tutya? 14#Yob 21:15, Zef 1:12Mwayogera nti Okuweereza Katonda kwa bwereere: era kugasa ki nga tukutte ebyo bye yakuutira, era nga tutambulidde mu maaso ga Mukama w'eggye nga tutokooteredde? 15#Zab 95:9Era kaakano ab'amalala be tuyita ab'omu kisa: weewaawo, abo abakola obubi bazimbibwa; weewaawo, bakema Katonda ne bawonyezebwa. 16#Kuv 32:32, Ma 6:6,7Awo abo abaatya Mukama ne boogeragana bokka na bokka: Mukama n'awuliriza n'awulira, ekitabo eky'okujjukiza ne kibawandiikirwa mu maaso ge abo abaatya Mukama ne balowooza erinnya lye. 17#Kuv 19:5, Bik 17:31, 1 Peet 2:9Era baliba bange, bw'ayogera Mukama w'eggye, ku lunaku lwe ndikolerako, baliba kintu kya nvuma; era ndibasonyiwa ng'omusajja bw'asonyiwa mutabani we ye amuweereza. 18Awo lwe mulidda ne mwawula omutuukirivu n'omubi, oyo aweereza Katonda n'oyo atamuweereza.

Currently Selected:

Malaki 3: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy