YouVersion Logo
Search Icon

Eby'Abaleevi 2

2
1 # Leev 6:14, Kubal 15:4 Era omuntu yenna bw'awangayo ekitone eky'obutta obuweebwayo eri Mukama ekitone kye kinaabanga kya butta bulungi: era anaabufukangako amafuta n'abuteekako omugavu: 2#Leev 6:15; 1:9awo anaakireeteranga abaana ba Alooni bakabona: naye anaakiggyangamu olubatu lwe olw'obutta obulungi bwakyo n'olw'amafuta gaakyo, awamu n'omugavu gwakyo gwonna; awo kabona anaabwokyanga okuba ekijjukizo kyakyo ku kyoto, ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama: 3#Kuv 29:37, Leev 7:9; 10:12,13, Kubal 18:9n'ekyo ekifikkawo ku kiweebwayo eky'obutta kinaabanga kya Alooni n'abaana be: kye kintu ekitukuvu ennyo ku biweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro.
4 # Kuv 29:2 Era bw'owangayo ekitone eky'obutta obuweebwayo obwokeddwa mu kabiga, kinaabanga emigaati egitazimbulukuswa egy'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta, oba egy'empewere egitazimbulukuswa egy'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta, oba egy'empewere egitazimbulukuswa egisiigibwako amafuta. 5Era oba ng'owaayo ekitone eky'obutta eky'omu kikalango, kinaabanga kya butta bulungi obutazimbulukuswa obutabuddwamu amafuta. 6Onookyawulangamu ebitundu, obufukeko amafuta: kye kiweebwayo eky'obutta. 7Era oba ng'owaayo ekitone eky'obutta eky'omu kikalango, kinaakolebwanga n'obutta obulungi wamu n'amafuta. 8Awo onooleetanga ekiweebwayo eky'obutta ekikolebwa n'ebyo eri Mukama: awo kinaaleeterwanga kabona, naye anaakitwalanga eri ekyoto. 9#Leev 2:2Awo kabona anaalobolanga ku kiweebwayo eky'obutta ekijjukizo kyakyo, anaakyokeranga ku kyoto: ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama. 10N'ekyo ekinaafikkangawo ku kiweebwayo eky'obutta kinaabanga kya Alooni n'abaana be: kye kintu ekitukuvu ennyo ku biweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro. 11#Leev 6:17Tewabangawo kiweebwayo kya butta, kye munaawangayo eri Mukama, ekikolebwa n'ekizimbulukusa: kubanga temwokyanga ekizimbulukusa kyonna, newakubadde omubisi gw'enjuki gwonna, okuba ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama. 12#Kuv 23:19, Leev 23:10,11, Ma 26:10Ebyo munaabiwangayo eri Mukama okuba ekitone eky'ebibereberye: naye tebirinnyisibwanga ku kyoto okuba evvumbe eddungi. 13#Kubal 18:19, Mak 9:49Era buli kitone eky'obutta bw'onoowangayo onookirungangamu omunnyo; so tokkirizanga ky'owaayo eky'obutta okubulwa omunnyo ogw'endagaano ya Katonda wo: awamu n'ebitone byo byonna onoowangayo omunnyo.
14 # Leev 23:14 Era oba ng'owaayo ekiweebwayo eky'obutta eky'ebibereberye eri Mukama, onoowangayo okuba ekiweebwayo eky'obutta eky'ebibereberye byo eŋŋaano ng'ekyali ku birimba eyokebwa n'omuliro, eŋŋaano embetentere ku birimba ebibisi. 15#Leev 2:1,2Awo onoogifukangako amafuta, era onoogiteekangako omugavu: ekyo kye kiweebwayo eky'obutta. 16Era kabona anaayokyanga ekijjukizo kyakyo, ekitundu ky'eŋŋaano yaakyo embetente, n'ekitundu ky'amafuta gaakyo, wamu n'omugavu gwakyo gwonna: kye kiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama.

Currently Selected:

Eby'Abaleevi 2: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy