YouVersion Logo
Search Icon

Eby'Abaleevi 3

3
1 # Leev 7:11-21,29-34; 17:5; 22:21 Era oba ng'awaayo ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe; bw'anaawangayo ku nte, oba nnume oba nkazi, anaawangayo eteriiko bulema mu maaso ga Mukama. 2Awo anaateekanga engalo ze ku mutwe gwayo gy'awaayo, n'agittira ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu: awo abaana ba Alooni bakabona banaamansiranga omusaayi ku kyoto enjuyi zonna. 3#Kuv 29:13Era anaawangayo ku ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama; amasavu agabikka ku byenda n'amasavu gonna agali ku byenda, 4n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, agaliraana ekiwato, n'ekisenge ekiri ku kibumba, awamu n'ensigo, anaabiggyangako. 5#Leev 6:12Awo abaana ba Alooni banaagookeranga ku kyoto ku kiweebwayo ekyokebwa ekiri ku nku eziri ku muliro: kye kiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama.
6Era oba ng'awaayo ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe eri Mukama ku mbuzi; oba nnume oba nkazi, anaagiwangayo nga teriiko bulema. 7Bw'anaawangayo omwana gw'endiga okuba ekitone kye, anaaguweerangayo mu maaso ga Mukama: 8awo anaateekanga engalo ze ku mutwe gw'ekitone kye, n'agittiranga mu maaso g'eweema ey'okusisinkanirangamu: awo abaana ba Alooni banaamansiranga omusaayi gwayo ku kyoto enjuyi zonna. 9Era anaawangayo ku ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama; amasavu gaayo, omukira ogwa ssava omulamba, anaagusaliranga kumpi n'omugongo; n'amasavu agabikka ku byenda, n'amasavu gonna agali ku byenda, 10n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, agaliraana ekiwato, n'ekisenge ekiri ku kibumba, awamu n'ensigo, anaabiggyangako. 11#Leev 21:6,8, Kubal 28:2, Ez 44:7, Mal 1:7,12Awo kabona anaagookeranga ku kyoto: ekyokulya eky'ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama.
12Era oba ng'awaayo embuzi, anaagiweerangayo mu maaso ga Mukama: 13awo anaateekanga engalo ze ku mutwe gwayo, n'agittira mu maaso g'eweema ey'okusisinkanirangamu: awo abaana ba Alooni banaamansiranga omusaayi gwayo ku kyoto enjuyi zonna. 14Awo anaawangayo ku yo ekitone kye, ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama; amasavu agabikka ku byenda, n'amasavu gonna agali ku byenda, 15n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, agaliraana ekiwato, n'ekisenge ekiri ku kibumba, awamu n'ensigo, anaabiggyangako. 16#Leev 7:23-25, 1 Sam 2:15Awo kabona anaabyokeranga ku kyoto: kye kyokulya eky'ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro olw'evvumbe eddungi: amasavu gonna ga Mukama. 17#Lub 9:4, Leev 7:26; 17:10-14, Ma 12:23,24, 1 Sam 14:33, Bik 15:20Lino linaabanga etteeka eritajjulukuka emirembe gyammwe gyonna mu nnyumba zammwe zonna, obutalyanga ku masavu newakubadde omusaayi.

Currently Selected:

Eby'Abaleevi 3: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

Video for Eby'Abaleevi 3