Eby'Abaleevi 19
19
1Mukama n'ayogera ne Musa nti 2#Leev 11:44,45; 20:7,26, 1 Peet 1:16Yogera n'ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri, obagambe nti Munaabanga batukuvu: kubanga nze Mukama Katonda wammwe ndi mutukuvu. 3#Kuv 20:8,12, Is 56:2; 58:13Mutyenga buli muntu nnyina ne kitaawe, era mwekuumenga ssabbiiti zange: nze Mukama Katonda wammwe. 4#Kuv 20:3-5; 34:17, Leev 26:1Temukyukiranga bifaananyi, so temwekoleranga bakatonda basaanuuse: nze Mukama Katonda wammwe. 5#Leev 7:15-18Era bwe munaawangayo ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe eri Mukama, munaagiwangayo era mukkirizibwe. 6Ku lunaku olwo lwe munaagiweerangako kwe munaagiriiranga, ne ku lw'enkya: era ekintu kyonna bwe kinaafikkangako okutuusa ku lunaku olw'okusatu, kinaayokebwanga omuliro. 7Era bwe kinaaliibwangako n'akatono ku lunaku olw'okusatu, kiba kya muzizo; tekikkirizibwenga: 8naye buli anaakiryangako anaabangako obutali butuukirivu bwe, kubanga avumisizza ekintu ekitukuvu ekya Mukama: era omuntu oyo anaazikirizibwanga mu bantu be.
9 #
Leev 23:22, Ma 24:19,21 Era bwe munaakungulanga ebikungulwa by'ensi yammwe, tomaliranga ddala kukungula nsonda za nnimiro yo so tokuŋŋaanyanga ebyerebwa ku bikungulwa byo. 10So toyeranga mu lusuku lwo olw'emizabbibu, so tokuŋŋaanyanga bibala ebikunkumuka mu lusuku lwo olw'emizabbibu; onoobirekeranga omwavu n'omugenyi: nze Mukama Katonda wammwe. 11#Kuv 20:15, Leev 6:2,3, Bef 4:25, Bak 3:9, Kuv 20:7Temubbanga; so temulyazaamaanyanga, so temulimbagananga mwekka na mwekka. 12#Kuv 20:7So temulayiriranga bwereere linnya lyange, n'okuvumisa n'ovumisa erinnya lya Katonda wo: nze Mukama. 13#Leev 6:2, Ma 24:14,15, Mal 3:5Tojooganga muliraanwa wo, so tomunyaganga: empeera y'omusenze akolera empeera tosulanga ng'oli nayo okukeesa obudde. 14#Leev 19:32; 25:17, Ma 27:18, Mub 12:13, 1 Peet 2:17Tokolimiranga muggavu wa matu, so tomuteekerangawo nkonge omuzibe w'amaaso, naye onootyanga Katonda wo: nze Mukama. 15#Kuv 23:2,3, Ma 1:17; 16:19, Nge 24:23, Yak 2:9Temusalanga misango egitali gya nsonga: tolowoozanga maaso ga mwavu, so tossangamu kitiibwa maaso ga wa maanyi: naye onoosaliranga muliraanwa wo emisango gya nsonga. 16#Kuv 23:1,7, 1 Bassek 21:10-13, Mat 26:60,61Tobanga wa nnimi ng'otambulatambula mu bantu bo; so toyimiriranga kulumba musaayi gwa muliraanwa wo: nze Mukama. 17#Lub 27:41, Luk 17:3, Bar 1:32, Bef 5:11, 1 Tim 5:22, 1 Yok 2:9,11; 3:15Tokyawanga muganda wo mu mutima gwo: tolemanga kunenya muliraanwa wo, oleme okubaako ekibi ku lulwe. 18#Mat 5:43; 19:19; 22:39, Mak 12:31, Luk 10:27, Bar 12:17,19; 13:9, Bag 5:14, Yak 2:8Towalananga ggwanga, so tobanga na nge yonna eri abaana b'abantu bo, naye onooyagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka: nze Mukama. 19#Leev 18:4, Ma 22:9-11Mwekuumenga amateeka gange. Tozaalisanga nsolo zo ngeri ezitafaanana bumu: tosiganga mu nnimiro yo nsigo ey'engeri ebbiri: ekyambalo tekikubikkangako eky'engeri ebbiri ez'olugoye ezitabuddwa awamu. 20Era buli anaasulanga n'omukazi, naye nga muzaana, ng'aliko bba amwogereza, era nga tanunulwanga n'akatono, so nga taweebwanga ddembe; banaabonerezebwanga, tebattibwanga, kubanga teyali wa busa. 21#Leev 6:6,7Awo anaaleetanga ekyo ky'awaayo olw'omusango eri Mukama, ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, embuzi ennume okuba ekiweebwayo olw'omusango. 22Awo kabona anaamutangirizanga endiga ennume ey'ekiweebwayo olw'omusango mu maaso ga Mukama olw'ekibi kye yakola; kale anaasonyiyibwanga ekibi kye yakola. 23Era bwe mubanga muyingidde mu nsi eyo, era nga mumaze okusimba emiti egy'engeri zonna egiriibwako, ne mulyoka muyita ebibala byagyo obutakomolwa bwagyo: emyaka esatu binaabanga gye muli ng'ebitali bikomole tebiriibwangako. 24Naye mu mwaka ogw'okuna ebibala byayo byonna biriba bitukuvu, olw'okutendereza Mukama. 25Ne mu mwaka ogw'okutaano mulirya ku bibala byayo, ebawe ekyengera kyayo: nze Mukama Katonda wammwe. 26#Leev 17:10, Ma 18:10, 2 Bassek 21:6Temulyanga kintu kyonna wamu n'omusaayi, so temuwanga ddogo, so temulagulanga. 27#Leev 21:5, Yer 9:26Temumwanga nkiiya, so toyonoonanga nsonda za kirevu kyo. 28#Ma 14:1Temwesalanga ku mubiri gwammwe olw'abafu, so temwesalangako bya buyonjo byonna: nze Mukama. 29#Ma 23:17, Kos 4:13,14Tovumisanga muwala wo, okumufuula omwenzi; ensi ereme okugoberera obwenzi, ensi n'ejjula ekibi. 30#Leev 19:3; 26:2, Mub 5:1, Mat 21:12,13Mwekuumenga ssabbiiti zange, era mutyenga awatukuvu wange: nze Mukama. 31#Leev 20:6, 1 Sam 28:7, Is 8:19Temukyukiranga abo abasamira emizimu, newakubadde abalogo; temubanoonyanga, okwonooneka olw'abo: nze Mukama Katonda wammwe. 32#Leev 19:14, Nge 20:29, 1 Tim 5:1Oseguliranga alina envi, era ossangamu ekitiibwa amaaso g'omukadde, era otyanga Katonda wo: nze Mukama. 33#Kuv 22:21Era omugenyi bw'anaatuulanga naawe mu nsi yammwe, temumukolanga bubi. 34#Kuv 12:48,49, Ma 10:19Omugenyi anaatuulanga nammwe anaabanga gye muli ng'enzaalwa mummwe, era omwagalanga nga bwe weeyagala wekka, kubanga mwali bagenyi mu nsi y'e Misiri: nze Mukama Katonda wammwe. 35Temukolanga ebitali bya butuukirivu okusala emisango, okupima emikono, okupimira mu minzaani, newakubadde okugera. 36#Ma 25:13,15, Nge 20:10Munaabanga ne minzaani ntuufu, n'ebigera bituufu, efa ntuufu, ne ini ntuufu: nze Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri. 37#Leev 18:4,5Era mukwatenga amateeka gange gonna, n'emisango gyange gyonna, ne mubikolanga: nze Mukama.
Currently Selected:
Eby'Abaleevi 19: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.

: