Eby'Abaleevi 20
20
1Mukama n'agamba Musa nti 2#Leev 18:21Era nate gamba abaana ba Isiraeri nti Bwe wanaabangawo omuntu yenna ku baana ba Isiraeri, oba ku bagenyi abatuula mu Isiraeri, anaawangayo ku zzadde lye eri Moleki: talemanga kuttibwa: abantu ab'omu nsi banaamukubanga amayinja. 3#Leev 17:10; 18:21, Ez 5:11; 23:38,39Era nange naamwolekezanga amaaso gange omuntu oyo, ne mmuzikiriza okumuggya mu bantu be; kubanga awaddeyo ku zzadde lye eri Moleki, okwonoona awatukuvu wange, n'okuvumisa erinnya lyange ettukuvu. 4#Ma 17:2,3,5Era abantu ab'omu nsi bwe banaakisanga n'akatono amaaso gaabwe omuntu oyo, bw'anaawangayo ku zzadde lye eri Moleki, ne batamutta: 5#Kuv 20:5; 34:15awo naamwolekezanga obwenyi bwange omuntu oyo ne baganda be, ne mmuzikiriza ye n'abo bonna abamugoberera okwenda, okwenda ne Moleki, okubaggya mu bantu baabwe. 6#Leev 19:31N'omuntu anaakyukiranga abo abasamira emizimu, n'abalogo, okubagoberera okwenda, naamwolekezanga obwenyi bwange omuntu oyo ne mmuzikiriza okumuggya mu bantu be. 7#Kuv 22:31, Leev 11:44Kale mwetukuzenga mubeerenga abatukuvu: kubanga nze Mukama Katonda wammwe. 8#Kuv 31:13, Leev 18:4, Ez 37:28Era mwekuumenga amateeka gange, mugakolenga: nze Mukama abatukuza. 9#Kuv 21:17, 2 Sam 1:16, 1 Bassek 2:32, Mat 15:4Kubanga buli anaakolimiranga kitaawe oba nnyina talemanga kuttibwa: ng'akolimidde kitaawe oba nnyina; omusaayi gwe gunaabanga ku ye. 10#Leev 18:20, Ma 22:22, Yok 8:4,5N'omuntu anaayendanga ku mukazi w'omusajja omulala, anaayendanga ku mukazi wa muliraanwa we, omwenzi omusajja n'omwenzi omukazi tebalemanga kuttibwa. 11#Leev 18:8N'omusajja anaasulanga ne mukazi wa kitaawe ng'abikudde ku nsonyi za kitaawe: bombi tebalemanga kuttibwa; omusaayi gwabwe gunaabanga ku bo. 12#Leev 18:8Era omusajja bw'anaasulanga ne muka mwana we, bombi tebalemanga kuttibwa: nga bakoze okutabula; omusaayi gwabwe gunaabanga ku bo. 13#Leev 18:22Era omusajja bw'anaasulanga n'omusajja, nga bwe yandyebase n'abakazi, bombi nga bakoze eky'omuzizo: tebalemanga kuttibwa; omusaayi gwabwe gunaabanga ku bo. 14#Leev 18:17Era omusajja bw'anaawasanga omukazi ne nnyina, ekyo kibi: banaayokebwanga omuliro ye nabo; muleme okuba ekibi mu mmwe. 15#Leev 18:23Era omusajja bw'anaasulanga n'ensolo, talemanga kuttibwa: era munattanga ensolo eyo. 16Era omukazi bw'anaasembereranga ensolo yonna, n'agalamira nayo, omuttanga omukazi oyo n'ensolo: tebiremanga kuttibwa; omusaayi gwabyo gunaabanga ku byo. 17#Leev 18:9Era omusajja bw'anaawasanga mwannyina, muwala wa kitaawe, oba muwala wa nnyina, n'alaba ensonyi ze, naye n'alaba ensonyi ze; kye kigambo eky'obuwemu; era banaazikirizibwanga mu maaso g'abaana b'abantu baabwe: ng'abikudde ku nsonyi za mwannyina; anaabangako obutali butuukirivu bwe. 18#Leev 18:19Era omusajja bw'anaasulanga n'omukazi aliko endwadde ye, n'abikkula ku nsonyi ze; ng'afudde obwereere ensulo ye, naye ng'abikudde ku nsulo y'omusaayi gwe: awo bombi banaazikirizibwanga okuggibwa mu bantu baabwe. 19#Leev 18:6,12,13So tobikkulanga ku nsonyi za muganda wa nnyoko, newakubadde eza mwannyina kitaawo: kubanga afudde obwereere ow'obuko: banaabangako obutali butuukirivu bwabwe. 20#Leev 18:14Era omusajja bw'anaasulanga ne mukazi wa kojja we, ng'abikudde ku nsonyi za kojja we: banaabangako ekibi kyabwe; balifa nga tebalina baana. 21#Leev 18:16Era omusajja bw'anaawasanga mukazi wa muganda we, bwe butali bulongoofu: ng'abikudde ku nsonyi za muganda we; tebaliba na baana.
22 #
Leev 18:4,25 Kyemunaavanga mwekuuma amateeka gange gonna, n'emisango gyange gyonna, ne mubikolanga: ensi, gye mbayingizaamu okutuula omwo, eremenga okubasesemera ddala. 23#Leev 18:3,24, Ma 9:5 So temutambuliranga mu mpisa z'eggwanga, lye ngoba mu maaso gammwe: kubanga baakolanga ebyo byonna, era kyenvudde mbakyawa. 24#Kuv 3:17; 6:8; 19:5; 33:16, Ma 7:6, 1 Bassek 8:53Naye nabagamba mmwe nti Mulisikira ensi yaabwe, nange ndigibawa okugirya, ensi ekulukuta n'amata n'omubisi gw'enjuki; nze Mukama Katonda wammwe, eyabaawula mu mawanga. 25#Leev 11:2-47, Ma 14:4-20Kyemunaavanga mwawula ensolo ennongoofu n'eteri nnongoofu, n'ennyonyi eteri nnongoofu n'ennongoofu: so temufuulanga mmeeme zammwe za mizizo olw'ensolo, oba olw'ennyonyi, oba olw'ekintu kyonna eky'ekulula ku nsi, bye nnayawula gye muli obutaba birongoofu. 26#Kuv 19:6, Leev 19:2Era munaabanga batukuvu gye ndi: kubanga nze Mukama ndi mutukuvu, era nabaawula mu mawanga mubeere abange.
27 #
Kuv 22:18, Leev 19:31; 20:2,9 Era omusajja oba omukazi asamira omuzimu, oba omulogo, talemanga kuttibwa; banaabakubanga amayinja: omusaayi gwabwe gunaabanga ku bo.
Currently Selected:
Eby'Abaleevi 20: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.

: