YouVersion Logo
Search Icon

Eby'Abaleevi 18

18
1Mukama n'agamba Musa nti 2#Kuv 6:7, Ez 20:5Yogera n'abaana ba Isiraeri, obagambe nti Nze Mukama Katonda wammwe. 3#Kuv 23:24, Ez 20:7,8Ng'ebikolwa bwe biri eby'omu nsi y'e Misiri, gye mwatuulangamu, temukolanga bwe mutyo: era ng'ebikolwa bwe biri eby'omu nsi ya Kanani, gye ndibatuusaamu, temukolanga bwe mutyo: so temutambuliranga mu mateeka gaabwe. 4#Ez 20:19Emisango gyange gye muba mukolanga, n'amateeka gange ge muba mwekuumanga, okubitambulirangamu: nze Mukama Katonda wammwe. 5#Ez 20:11, Luk 10:28, Bar 10:5, Bag 3:12Kale mwekuumenga amateeka gange n'emisango gyange; ebyo omuntu bw'anaabikolanga, anaabanga mulamu olw'ebyo: nze Mukama.
6Tewabanga ku mmwe anaasembereranga ow'obuko yenna, okubikkula ku nsonyi ze: nze Mukama. 7#Leev 20:11-21Ensonyi za kitaawo, ze nsonyi za nnyoko, tozibikkulangako: ye nnyoko; tobikkulanga ku nsonyi ze. 8#Ma 22:30; 27:20, 1 Kol 5:1Tobikkulanga ku nsonyi za musika wa nnyoko: ze nsonyi za kitaawo. 9#Lub 20:12, Ma 27:22, 2 Sam 13:12Ensonyi za mwannyoko, azaalibwa kitaawo, oba azaalibwa nnyoko, oba yazaalirwa waka, oba yazaalirwa walala, ensonyi zaabwe tozibikkulangako. 10Ensonyi za muwala wa mutabani wo, oba muwala wa muwala wo, ensonyi zaabwe tozibikkulangako: kubanga ensonyi zaabwe ze zizo ggwe. 11Ensonyi za muwala wa mukazi wa kitaawo, kitaawo gw'azaala, oyo mwannyoko, tobikkulanga ku nsonyi ze. 12Tobikkulanga ku nsonyi za ssenga wo: oyo wa buko ne kitaawo. 13Tobikkulanga ku nsonyi za muganda wa nnyoko: oyo wa buko ne nnyoko. 14Tobikkulanga ku nsonyi za muganda wa kitaawo, tosembereranga mukazi we: oyo ssenga wo. 15#Lub 38:6-26Tobikkulanga ku nsonyi za muka mwana wo: oyo muka mutabani wo; tobikkulanga ku nsonyi ze. 16#Ma 25:5, Mat 14:3,4; 22:24Tobikkulanga ku nsonyi za muka muganda wo: ze nsonyi za muganda wo. 17#Ma 27:23Tobikkulanga ku nsonyi z'omukazi n'eza muwala we; totwalanga muwala wa mutabani we, newakubadde muwala wa muwala we, okubikkula ku nsonyi ze; abo ba buko: ekyo kibi. 18#Lub 30:15So totwalanga mukazi wamu ne muganda we, okuba muggya we, okubikkula ku nsonyi ze, wamu ne munne, ye ng'akyali mulamu. 19#Leev 15:24; 20:18So tosembereranga mukazi okubikkula ku nsonyi ze, ng'akyayawulibwa olw'obutali bulongoofu bwe. 20#Kuv 20:14So tosulanga na muka muliraanwa wo, okweyonoona naye. 21#Leev 19:12; 20:2-5; 22:32, 1 Bassek 11:7, 2 Bassek 16:3; 23:10, Ez 36:20, Mal 1:12So towangayo ku zzadde lyo okubayisa mu muliro eri Moleki, so tovumisanga linnya lya Katonda wo: nze Mukama. 22#Bar 1:27, 1 Tim 1:10Tosulanga na basajja, nga bwe basula n'abakazi: ekyo kya muzizo. 23#Kuv 22:19, Ma 27:21So tosulanga na nsolo yonna, okweyonoona nayo: so n'omukazi yenna tayimiriranga mu maaso g'ensolo okugalamira nayo: okwo kwe kutabula.
24 # Leev 20:23, Ma 9:4; 18:12, Mat 15:18 Temweyonoonanga n'ebyo byonna byonna: kubanga olw'ebyo byonna amawanga goonoonese ge ngoba mu maaso gammwe: 25#Leev 18:27,28; 20:22, Is 24:5; 26:21n'ensi eyonoonese: kyenva ngiwalanako obutali butuukirivu bwayo, n'ensi esesemera ddala abagituulamu. 26Kale mmwe mwekuumenga amateeka gange n'emisango gyange, so temukolangako ku by'emizizo ebyo byonna byonna; newakubadde enzaalwa, newakubadde omugenyi atuula mu mmwe: 27(kubanga eby'emizizo ebyo byonna abasajja ab'omu nsi baabikolanga, abaabasooka, n'ensi eyonoonese;) 28ensi ereme okubasesemera ddala nammwe, bwe mugyonoonanga, nga bwe yasesemera ddala eggwanga eryabasooka. 29Kubanga omuntu yenna bw'anaakolanga kyonna ku by'emizizo ebyo, abantu abo abaabikola banaazikirizibwanga okubaggya mu bantu baabwe. 30Kyemunaavanga mwekuuma bye mbakuutira, obutakolanga yonna ku mpisa ezo ez'emizizo, ezaakolebwanga okusooka mmwe, n'obuteeyonoonanga n'ezo: nze Mukama Katonda wammwe.

Currently Selected:

Eby'Abaleevi 18: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in