Ekyabalamuzi 6
6
1 #
Balam 2:19
Abaana ba Isiraeri ne bakola ekyali mu maaso ga Mukama ekibi: Mukama n'abagabula mu mukono gwa Midiyaani emyaka musanvu. 2#1 Sam 13:6Omukono gwa Midiyaani ne guwangula Isiraeri: era olwa Midiyaani abaana ba Isiraeri kyebaava beekolera obuyu obuli ku nsozi n'empuku n'ebigo. 3#Lub 29:1, Balam 3:13; 6:33; 7:12; 8:10, 1 Bassek 4:30, Yob 1:3Awo olwatuuka Isiraeri bwe yamalanga okusiga, Abamidiyaani ne bayambukanga n'Abamaleki n'abaana ab'ebuvanjuba; nabo baabayambukirako; 4#Ma 28:30-33,51ne basiisira ewaabwe, ne bazikiriza ebibala by'ettaka, okutuusa bw'otuuka e Gaaza, so tebaaleka kya kulya mu Isiraeri, newakubadde endiga, newakubadde ente, newakubadde endogoyi. 5#Balam 7:12Kubanga baayambukira wamu n'ente zaabwe n'eweema zaabwe, baayingiranga ng'enzige okuba abangi; bo era n'eŋŋamira zaabwe tebyabalikika: ne bayingira mu nsi okugizikiriza. 6#Balam 3:7Isiraeri n'ajeezebwa nnyo olwa Midiyaani; abaana ba Isiraeri ne bakaabira Mukama.
7Awo olwatuuka, abaana ba Isiraeri bwe baakaabira Mukama olwa Midiyaani, 8#Kuv 20:2, 1 Sam 10:18Mukama n'atuma nnabbi eri abaana ba Isiraeri: n'abagamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, nti Nabaggya mu Misiri ne mbalinnyisa, era nabaggya mu nnyumba y'obuddu; 9#Zab 44:2,3era nabawonya mu mukono gw'Abamisiri, ne mu mukono gw'abo bonna abaabajooga, ne mbagoba mu maaso gammwe, ne mbawa ensi yaabwe; 10#Kuv 20:3-5; 23:24, Yos 23:7; 24:7; 24:15, 2 Bassek 17:35-38ne mbagamba nti Nze ndi Mukama Katonda wammwe; temutyanga bakatonda b'Abamoli, be mutuulira mu nsi yaabwe: naye temuwulidde ddoboozi lyange.
11 #
Yos 17:2, Beb 11:32, Kuv 33:20 Malayika wa Mukama n'ajja, n'atuula wansi w'omwera ogwali mu Ofula, kye kyali ekya Yowaasi Omwabiezeri: ne mutabani we Gidyoni yali awuula eŋŋaano mu ssogolero agikise Abamidiyaani. 12#Yos 1:5, Balam 13:3, Luk 1:11,28Malayika wa Mukama n'amulabikira, n'amugamba nti Mukama ali wamu naawe, ggwe omusajja ow'amaanyi omuzira. 13#Zab 44:1; 89:49, Is 63:15Gidyoni n'amugamba nti Ai mukama wange, oba nga Mukama ali wamu naffe, kale ekitubeesezzaako ebyo byonna kiki? era ebikolwa bye byonna eby'ekitalo biri ludda wa bajjajjaffe bye baatubuulirako, nti Mukama teyatuggya mu Misiri? naye kaakano Mukama atusudde, atugabudde mu mukono gwa Midiyaani. 14#Kuv 3:10-12, Yos 1:9, 1 Sam 12:11Mukama n'amutunuulira n'ayogera nti Genda n'amaanyi go gano, olokole Isiraeri mu mukono gwa Midiyaani: si nze nkutumye? 15#Kuv 3:11, 1 Sam 9:21; 18:18, Yer 1:6N'amugamba nti Ai Mukama wange, Isiraeri ndimulokolera ku ki? laba, baganda bange be basinga okuba abaavu mu Manase, nange ndi muto mu nnyumba ya kitange. 16#Kuv 3:12Mukama n'amugamba nti Mazima ndibeera wamu naawe, era olikuba Abamidiyaani ng'omuntu omu. 17#Kuv 4:1-8; 33:13, 2 Bassek 20:8,9, Is 7:11N'amugamba nti Oba nga kaakano ndabye ekisa mu maaso go, kale ndaga akabonero nga ggwe wuuyo ayogera nange. 18#Lub 18:3-5, Balam 13:15Tova wano, nkwegayiridde, okutuusa lwe nnajja gy'oli, ne nfulumya ekirabo kyange, ne nkiteeka mu maaso go. N'ayogera nti Naabeera wano okutuusa lw'onookomawo. 19#Lub 18:6-8Gidyoni n'ayingira, n'ateekateeka omwana gw'embuzi, n'emigaati egitazimbulukuswa ne efa ey'obutta: ennyama n'agiteeka mu kibbo, n'amazzi gaayo n'agafuka mu kibya, n'abimuleetera wansi w'omwera, n'abimuwa. 20#Balam 13:19Malayika wa Mukama n'amugamba nti Ddira ennyama n'emigaati egitazimbulukuswa obiteeke ku jjinja lino, ofuke amazzi g'ennyama. N'akola bw'atyo. 21#Leev 9:24, 1 Bassek 18:38, 1 Byom 21:26, 2 Byom 7:1Awo malayika wa Mukama n'agolola ekikolo ky'omuggo ogwali mu mukono gwe, n'akoma ku nnyama ne ku migaati egitazimbulukuswa; omuliro ne guva mu jjinja ne gulinnya, ne gumalawo ennyama n'emigaati egitazimbulukuswa; malayika wa Mukama n'ava mu maaso ge. 22#Lub 32:30, Ma 5:26, Balam 13:21Gidyoni n'alaba nga ye malayika wa Mukama; Gidyoni n'ayogera nti Zinsanze, ai Mukama Katonda, kubanga ndabaganye n'amaaso ne malayika wa Mukama. 23#Dan 10:19Mukama n'amugamba nti Emirembe gibe gy'oli; totya: togenda kufa. 24#Lub 22:14; 33:20, Kuv 17:15, Yos 22:34, Balam 8:27,32Gidyoni n'alyoka azimbira eyo ekyoto eri Mukama, n'akiyita Yakuwasalumu: okutuusa leero kikyali mu Ofula eky'Ababiezeri.
25 #
Kuv 34:13, Ma 7:5; 12:3, Balam 3:7 Awo olwatuuka mu kiro ekyo Mukama n'amugamba nti Ddira ente ya kitaawo, ye nte ey'okubiri ey'akamaze emyaka omusanvu, osuule ekyoto kya Baali kitaawo ky'alina, otemeeteme ne Asera akiri okumpi: 26ozimbe ekyoto eri Mukama Katonda wo waggulu ku kigo kino, ng'empisa bwe yalagirwa, oddire ente eyo ey'okubiri, oweeyo ekiweebwayo ekyokebwa n'omuti gwa Asera gw'onootemaatema. 27Awo Gidyoni n'atwala abasajja kkumi ku baddu be, n'akola nga Mukama bw'amulagidde: awo olwatuuka, kubanga yali atidde ab'ennyumba ya kitaawe n'abasajja ab'omu kibuga, n'atayinza kukola bw'atyo emisana, kyeyava akola ekiro. 28Abasajja ab'omu kibuga bwe baagolokoka enkya mu makya, laba ekyoto kya Baali nga kimenyesemenyese, ne Asera akibadde okumpi ng'atemeddwatemeddwa, n'ente eyo ey'okubiri ng'eweereddwayo ku kyoto ekizimbiddwa. 29Ne bagambagana nti Ani akoze kino? Awo bwe baabuuza ne bakemereza, ne boogera nti Gidyoni mutabani wa Yowaasi ye akoze kino. 30Awo abasajja ab'omu kibuga ne bagamba Yowaasi nti Fulumya mutabani wo afe: kubanga amenyeemenye ekyoto kya Baali, era kubanga atemyetemye Asera akibadde okumpi. 31#Ma 17:2-5, 1 Bassek 18:27Yowaasi n'agamba bonna abamuyimiridde mu maaso ge nti Mwagala okuwolereza Baali? oba mwagala okumulokola? ayagala okumuwolereza, bamutte nga (bukyali) bwa nkya: oba nga ye katonda, yeewolereze, kubanga bamenyeemenye ekyoto kye. 32#Balam 7:1, 1 Sam 12:11, 2 Sam 11:21Ku lunaku olwo kyeyava amuyita Yerubbaali, ng'ayogera nti Baali amuwawaabire kubanga amenyeemenye ekyoto kye. 33#Balam 6:3Awo Abamidiyaani bonna n'Abamaleki n'abaana ab'ebuvanjuba ne bakuŋŋaana wamu; ne basomoka, ne basiisira mu kiwonvu eky'e Yezureeri. 34#Balam 3:10,27, 1 Byom 12:18, 2 Byom 24:20Naye omwoyo gwa Mukama ne gujja ku Gidyoni; n'afuuwa ekkondeere; Abiezeri n'akuŋŋaana wamu gy'ali. 35#Balam 7:23,24N'atuma ababaka okubuna Manase yenna; era nabo ne bakuŋŋaanira wamu gy'ali: n'atuma ababaka eri Aseri n'eri Zebbulooni n'eri Nafutaali; ne bayambuka okubasisinkana. 36#Balam 6:17Gidyoni n'agamba Katonda nti Oba nga olirokola Isiraeri n'omukono gwange, nga bwe wayogera, 37laba, naateeka ebyoya by'endiga mu gguuliro; oba ng'omusulo gunaaba ku byoya byokka, ettaka lyonna nga kkalu, ne ndyoka mmanya ng'olirokola Isiraeri n'omukono gwange, nga bwe wayogera. 38Awo bwe kyali bwe kityo: kubanga n'agolokoka enkya mu makya, n'akamula ebyoya, omusulo n'agumalamu mu byoya, amazzi ne gajjula ekibya. 39#Lub 18:32Gidyoni n'agamba Katonda nti Obusungu bwo buleme okumbuubuukirako, era naayogera omulundi guno gwokka: nkwegayiridde, nkeme n'ebyoya omulundi guno gwokka; kaakano ebyoya byokka bibeere bikalu, omusulo gube ku ttaka lyonna. 40Katonda n'akola bw'atyo ekiro ekyo: kubanga ebyoya byokka bye byali ebikalu, omusulo ne guba ku ttaka.
Currently Selected:
Ekyabalamuzi 6: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.