Ekyabalamuzi 4
4
1 #
Balam 2:19
Abaana ba Isiraeri ne beeyongera nate okukola ekyali mu maaso ga Mukama ekibi, Ekudi bwe yamala okufa. 2#Yos 11:1,10, Balam 2:14, 1 Sam 12:9, Zab 83:9Mukama n'abatunda mu mukono gwa Yabini kabaka wa Kanani, eyafugira mu Kazoli; omugabe w'eggye lye Sisera, eyatuula mu Kalosesi eky'ab'amawanga. 3#Balam 1:19; 3:9Abaana ba Isiraeri ne bakaabira Mukama: kubanga yali alina amagaali ag'ekyuma lwenda; n'ajoogera nnyo abaana ba Isiraeri emyaka abiri.
4Era Debola, nnabbi, omukazi wa Lappidosi, ye yalamulanga Isiraeri mu biro ebyo. 5Era yatuulanga wansi w'olukindu lwa Debola wakati w'e Laama n'e Beseri mu nsi ya Efulayimu ey'ensozi: abaana ba Isiraeri ne bambukanga gy'ali okubasaliranga emisango. 6#Yos 19:37, Balam 8:18, Beb 11:32N'atuma n'ayita Balaki, mutabani wa Abinoamu ave mu Kedesunafutaali, n'amugamba nti Mukama, Katonda wa Isiraeri, talagidde nti Genda mukunganire eri olusozi Taboli, otwale naawe abasajja kakumi ku baana ba Nafutaali ne ku baana ba Zebbulooni? 7#Balam 3:28; 4:13; 5:21, 1 Bassek 18:40, Zab 83:9Nange ndiwalulira gy'oli eri omugga Kisoni Sisera omugabe w'eggye lya Yabini, n'amagaali ge n'ekibiina kye; nange ndimugabula mu mukono gwo. 8Balaki n'amugamba nti Ggwe bw'oligenda nange, kale ndigenda: naye bw'otoligenda nange ggwe, sirigenda. 9N'agamba nti Mazima ndigenda naawe: naye olugendo lw'ogenda teruliba lwa kitiibwa kyo; kubanga Mukama alitunda Sisera mu mukono gw'omukazi. Debola n'agolokoka, n'agenda ne Balaki e Kedesi. 10#Balam 5:18Balaki n'ayita Zebbulooni ne Nafutaali bakuŋŋaanire e Kedesi; ne bayambukayo abasajja kakumi nga balinnya mu bigere bye: Debola n'ayambukira wamu naye. 11#Kubal 10:29, Balam 1:16Era Keberi Omukeeni yali ayawukanye n'Abakeeni, be baana ba Kobabu mukoddomi wa Musa, n'azimba eweema ye awali omwera mu Zaanannimu ekiri okumpi ne Kedesi. 12Ne babuulira Sisera nga Balaki mutabani wa Abinoamu alinnye ku lusozi Taboli. 13#Balam 4:3Sisera n'akuŋŋaanya amagaali ge gonna, amagaali ag'ekyuma lwenda, n'abantu bonna abaali naye, okuva ku Kalosesi eky'ab'amawanga okutuusa ku mugga Kisoni. 14#Ma 9:3, 2 Sam 5:24, Zab 68:7, Is 52:12Debola n'agamba Balaki nti Golokoka; kubanga leero Mukama lw'agabudde Sisera mu mukono gwo: Mukama takukulembedde okutabaala? Awo Balaki n'ava ku lusozi Taboli, abasajja kakumi ne bamugoberera. 15#Kuv 14:14, Yos 10:10Mukama n'afufuggaza Sisera n'amagaali ge gonna n'eggye lye lyonna n'obwogi bw'ekitala mu maaso ga Balaki; Sisera n'ava mu ggaali lye, n'adduka n'ebigere. 16Naye Balaki n'agoberera amagaali n'eggye okutuuka e Kalosesi eky'ab'amawanga: n'eggye lya Sisera lyonna obwogi bw'ekitala ne bulimalawo; tewaasigala muntu.
17 #
Balam 5:24
Naye Sisera n'adduka n'ebigere n'atuuka mu weema ya Yayeeri mukazi wa Keberi Omukeeni: kubanga Yabini kabaka we Kazoli n'ennyumba ya Keberi Omukeeni baali balina emirembe. 18Yayeeri n'afuluma okusisinkana Sisera, n'amugamba nti Kyama, mukama wange, oyingire ewange; totya. N'akyama n'ayingira ewuwe mu weema n'amubikkako ekikunta. 19#Balam 5:25N'amugamba nti nkwegayiridde, mpa otuzzi nnywe; kubanga ennyonta ennuma. N'asumulula eddiba ery'amata, n'amunywesa, n'amubikkako. 20N'amugamba nti yimirira mu mulyango gw'eweema, awo olunaatuuka, omuntu yenna bw'anajja n'akubuuza n'ayogera nti Omusajja yenna ali muno? naawe onooyogera nti Nedda. 21#Balam 5:26Awo Yayeeri mukazi wa Keberi n'addira enkondo y'eweema, n'addira ennyondo mu mukono gwe, n'amusemberera ng'asooba, n'amukomerera enkondo mu kyenyi, n'eyitamu n'ekwata n'ettaka; kubanga yali yeebase otulo tungi; n'azirika n'afa. 22Era, laba, Balaki ng'agoberera Sisera, Yayeeri n'afuluma okumusisinkana, n'amugamba nti Jjangu, nange n'akulaga omusajja gw'onoonya. N'ajja gy'ali; era, laba, Sisera yali agalamidde afudde, n'enkondo ng'eri mu kyenyi kye. 23Bw'atyo Katonda n'ajeemula ku lunaku olwo Yabini kabaka wa Kanani mu maaso g'abaana ba Isiraeri. 24Omukono gw'abaana ba Isiraeri ne gweyongerayongera okuwangula Yabini kabaka wa Kanani, okutuusa lwe baamala okuzikiriza Yabini kabaka wa Kanani.
Currently Selected:
Ekyabalamuzi 4: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.