Koseya 8
8
1 #
Ma 28:49
Teeka ekkondeere ku mumwa gwo. Ng'empungu bw'atyo bw'ajja okulumba ennyumba ya Mukama: kubanga basobezza endagaano ne boonoona amateeka gange. 2#Mat 7:21Balinkaabira nti Katonda wange, ffe Isiraeri tukumanyi. 3Isiraeri asudde ekirungi: omulabe alibayigganya. 4#2 Byom 13:5Bataddewo bakabaka naye si ku bwange; balonze abakungu nange nga sikimanyi: beekoledde ebifaananyi ne ffeeza yaabwe ne zaabu yaabwe balyoke bamalibwewo. 5#1 Bassek 12:28, Kos 10:5,6Asudde ennyana yo, ai Samaliya; obusungu bwange bubaakiddeko: ebiro biryenkana wa okutuusa lwe baliba n'obutayonoona? 6#Mi 1:6,7Kubanga n'ekyo kivudde mu Isiraeri; omukozi ye yakikola, so si Katonda n'akatono: weewaawo, ennyana ya Samaliya erimenyekamenyeka. 7#Kos 7:9; 10:13, Bag 6:8Kubanga basiga embuyaga, era balikungula embuyaga ez'akazimu: talina ŋŋaano emera; ekiti tekiribala mmere; n'okubala bwe kiriba kibaze, bannaggwanga baligiriira ddala. 8#2 Bassek 17:6Isiraeri aliiriddwa ddala: kaakano bali mu mawanga ng'ekibya ekitaliiko bwe kisanyusa. 9#Yer 2:24, Kos 5:13Kubanga bambuse eri Obwasuli ng'entulege eri emu yokka: Efulayimu aguliridde abaganzi. 10#Ez 26:7Weewaawo, newakubadde nga bagulirira mu mawanga, kaakano naabakuŋŋaanya; era batanudde okukendeera olw'omugugu gwa kabaka w'abalangira. 11Kubanga Efulayimu ayongedde ebyoto okuleeta okwonoona, ebyoto kyebivudde bibeera gy'ali eky'okuleeta okwonoona. 12#Ma 4:6,8Newakubadde nga muwandiikira amateeka gange mu biragiro kakumi, biyitibwa kintu kinnaggwanga. 13#Ma 28:68, Yer 7:21, Kos 9:9, Am 8:7Ssaddaaka ez'ebyange ebiweebwayo, bawaayo ennyama okuba ssaddaaka ne bagirya; naye Mukama tabakkiriza: kaakano anajjukira obutali butuukirivu bwabwe n'abonereza olw'ebibi byabwe; balidda mu Misiri. 14#Is 17:7, Am 2:5; 5:11Kubanga Isiraeri yeerabidde Omukozi we, n'azimba amayumba; era Yuda ayongedde ebibuga ebiriko enkomera: naye ndiweereza omuliro ku bibuga bye, era gulyokya ebigo byabyo.
Currently Selected:
Koseya 8: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.