Bible App logo
Search Icon

Koseya 6

6
1 # Is 30:26, Kos 14:1 Mujje tudde eri Mukama: kubanga ye yataagula, era ye alituwonya; ye yafumita; era ye alitunyiga. 2#Zab 71:20, Luk 24:27,44Ennaku bbiri nga ziyiseewo alitulamya: alitugolokosa ku lunaku olw'okusatu, naffe tuliba balamu mu maaso ge. 3#Kos 4:6; 14:5, Yo 2:23, Mi 5:2Era tumanye, tunyiikire okumanya Mukama; okufuluma kwe kwa nkalakkalira ng'enkya: era alijja gye tuli ng'enkuba, ng'enkuba eya ddumbi efukirira ettaka.
4 # Yer 2:2, Kos 11:8; 13:3 Ai Efulayimu, naakukola ntya? ai Yuda, naakukola ntya? kubanga obulungi bwammwe buliŋŋanga ekire eky'enkya era ng'omusulo oguggwaako nga bukyali. 5#Yer 23:29, Beb 4:12Kyennavanga mbatemya bannabbi; nnabassanga ebigambo eby'omu kamwa kange: n'emisango gyo giriŋŋanga omusana ogufuluma. 6#1 Sam 15:22, Mat 9:13; 12:7Kubanga njagala ekisa so si ssaddaaka; n'okumanya Katonda okusinga ebiweebwayo ebyokebwa. 7#Ma 17:2, Yob 31:33, Kos 5:7Naye bo nga Adamu basobezza endagaano: eyo bankuusizza. 8Gireyaadi kibuga ky'abo abakola obutali butuukirivu, kisiigiddwako omusaayi. 9Era ng'ebibiina eby'abatemu bwe balindirira omusajja, ekibiina ekya bakabona bwe battira bwe batyo mu kkubo erigenda e Sekemu; weewaawo, bakoze eby'obukaba. 10Mu nnyumba ya Isiraeri mwe ndabidde ekigambo eky'ekivve: obwenzi bulabikidde eyo mu Efulayimu, Isiraeri ayonoonese. 11#Yob 42:10, Zab 126:1, Yo 3:13Era naawe, ai Yuda, ebikungulwa byakuteekerwawo, bwe ndikomyawo obusibe obw'abantu bange.

Currently Selected:

Koseya 6: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in