Koseya 5
5
1 #
Kos 9:8
Muwulire kino, mmwe bakabona, era muwulirize, mmwe ennyumba ya Isiraeri, era mutege amatu, mmwe ennyumba ya kabaka, kubanga omusango guno gwammwe; kubanga mwabanga ekyambika e Mizupa, era ekitimba ekyasuulibwa ku Taboli. 2#Zab 50:21, Kos 9:9,15Era abajeemu bagenze nnyo wansi nga batta; naye nze ndi munenya w'abo bonna. 3#Am 3:2; 5:12Mmanyi Efulayimu, so ne Isiraeri tankisibwa: kubanga kaakano, ai Efulayimu, okoze eby'obwenzi, Isiraeri ayonoonese. 4#Is 59:2Ebikolwa byabwe tebibagaanye kukyukira Katonda waabwe: kubanga omwoyo ogw'obwenzi guli mu bo, so tebamanyi Mukama. 5#Yer 23:29, Beb 4:12Era amalala ga Isiraeri gaba mujulirwa gy'ali mu maaso ge: Isiraeri ne Efulayimu kyebaliva beesittala mu butali butuukirivu bwabwe: era ne Yuda alyesittalira wamu nabo. 6#1 Sam 15:22, Mat 9:13; 12:7Baligenda n'embuzi zaabwe n'ente zaabwe okunoonya Mukama; naye tebalimulaba: abeeyawuddeko. 7#Ma 17:2, Yob 31:33, Kos 5:7Bakuusizza Mukama; kubanga bazadde abaana ab'amakiro: kaakano omwezi ogwakaboneka gulibalya wamu n'ennimiro zaabwe.
8Mufuuwe eŋŋombe mu Gibeya n'ekkondeere mu Laama: mulaye eŋŋoma e Besaveni; nti Ennyuma wo, ai Benyamini. 9Efulayimu alifuuka matongo ku lunaku olw'okunenyezebwako: mmanyisizza mu bika bya Isiraeri ebyo ebitalirema kubaawo. 10Abakungu ba Yuda bali ng'abo abajjulula akabonero k'ensalo: ndifuka obusungu bwange ku bo ng'amazzi. 11#Yob 42:10, Zab 126:1, Yo 3:13Efulayimu ajoogeddwa, abetenteddwa mu kusalirwa omusango; kubanga yakkiriza okutambula okugoberera ekiragiro. 12#Yob 13:28Kyenvudde mbeera eri Efulayimu ng'ennyenje, n'eri ennyumba ya Yuda ng'okuvunda. 13#2 Bassek 15:19, Is 1:5,6, Kos 14:3Efulayimu bwe yalaba endwadde ye, ne Yuda n'alaba ekiwundu kye, kale Efulayimu n'agenda eri Obwasuli n'atumira kabaka Yalebu: naye tayinza kubawonya, so talibavumula ekiwundu kyammwe. 14#Kos 13:7Kubanga ndiba eri Efulayimu ng'empologoma, era ng'empologoma ento eri ennyumba ya Yuda: nze, nze mwene, nditaagula ne nvaawo; nditwalira ddala so tewaliba wa kuwonya. 15#Is 26:16, Yer 29:10-12Ndigenda ne nzirayo mu kifo kyange okutuusa lwe balikkiriza okusobya kwabwe, ne banoonya amaaso gange: mu kubonyaabonyezebwa kwabwe mwe balinyiikirira okunnoonya.
Currently Selected:
Koseya 5: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.