Olubereberye 27
27
1 #
Lub 48:10, 1 Sam 3:2 Awo olwatuuka Isaaka bwe yamala okukaddiwa, n'amaaso ge nga gayimbadde n'okuyinza nga takyayinza kulaba, n'ayita Esawu omwana we omubereberye, n'amugamba nti Mwana wange: n'amugamba nti Nze nzuuno. 2N'ayogera nti Laba nno, nze nkaddiye, simanyi lunaku lwe ndifiirako. 3#Lub 25:27,28Kale kaakano nkwegayirira, ddira by'oyizza, omufuko gwo n'omutego gwo, ogende mu nsiko, onjiggire omuyiggo; 4#Lub 27:9,10; 48:9,15; 49:28era onnongooseze ennyama ey'akawoowo, nga bwe njagala, ogindeetere ndye; obulamu bwange bukusabire omukisa nga sinnafa. 5Lebbeeka n'awulira Isaaka bwe yayogera ne Esawu omwana we. Esawu n'agenda mu nsiko okuyigga omuyiggo, n'okuguleeta. 6Lebbeeka n'agamba Yakobo omwana we nti Laba, mpulidde kitaawo ng'agamba Esawu muganda wo nti 7Ndeetera omuyiggo, onnongooseze ennyama ey'akawoowo, ndye, nkusabire omukisa mu maaso ga Mukama nga sinnafa. 8Kale kaakano, mwana wange, wulira eddoboozi lyange ng'ebyo bwe biri bye nkulagira. 9Genda kaakano eri embuzi, onkimireyo abaana b'embuzi abalungi babiri; nange naazirongooseza kitaawo okuba ennyama ey'akawoowo, nga bw'ayagala: 10#Lub 27:14naawe onoogitwalira kitaawo, alye, alyoke akusabire omukisa nga tannafa. 11#Lub 25:25Yakobo n'agamba Lebbeeka nnyina nti Laba, Esawu muganda wange ye musajja ow'obwoya, nange omubiri gwange guseerera. 12#Lub 27:22, Ma 27:18Mpozzi kitange anampeeweetako, nange naafaanana gyali ng'omulimba; era neereetako okukolimirwa, so si mukisa. 13#Lub 27:8, 1 Sam 25:24, 2 Sam 14:9Nnyina namugamba nti Okukolimirwa kwo kubeere ku nze, mwana wange: kino kyokka, wulira eddoboozi lyange, ogende obinkimire. 14N'agenda, n'abikima, n'abireetera nnyina: nnyina n'alongoosa ennyama ey'akawoowo, nga kitaawe bwe yayagala. 15#Lub 27:27Lebbeeka n'addira ebyambalo ebirungi ebya Esawu omwana we omubereberye, ebyali naye mu nnyumba, n'ayambaza ebyo Yakobo omwana we omuto: 16n'ateeka amaliba g'abaana b'embuzi ku ngalo ze, ne ku nsingo awaseerera: 17n'awa omwana we Yakobo mu ngalo ze ennyama ey'akawoowo n'emmere bye yali alongoosezza. 18N'ajja eri kitaawe, n'ayogera nti Kitange: n'ayogera nti Nze nzuuno; ggwe ani, mwana wange? 19Yakobo n'agamba kitaawe nti Nze Esawu omwana wo omubereberye; era nkoze nga bw'ondagidde: golokoka, nkwegayirira, otuule olye ku muyiggo gwange, obulamu bwo bunsabire omukisa. 20Isaaka n'agamba omwana we nti Kiki ekikugulabisizza amangu bwe kityo, mwana wange? N'ayogera nti Kubanga Mukama Katonda wo ambedde. 21#Lub 27:12Isaaka n'agamba Yakobo nti Sembera, nkwegayiridde, nkuweeweeteko, mwana wange, oba ggwe mwana wange Esawu ddala ddala nantiki si ye wuuyo. 22Yakobo n'asemberera Isaaka kitaawe; n'amuweeweetako, n'ayogera nti Eddoboozi ly'eddoboozi lya Yakobo, naye engalo z'engalo za Esawu. 23#Lub 27:16, Beb 11:20N'atamwekkaanya, kubanga engalo ze zaaliko obwoya, ng'engalo za muganda we Esawu: kale n'amusabira omukisa. 24N'ayogera nti Ggwe mwana wange Esawu ddala ddala? N'ayogera nti Nze nzuuyo. 25#Lub 27:10N'ayogera nti Gunsembereze, nange n'alya ku muyiggo ogw'omwana wange, obulamu bwange bukusabire omukisa. N'agusembeza gy'ali, n'alya; n'amuleetera omwenge, n'anywa. 26Kitaawe Isaaka n'amugamba nti Sembera kaakano, onnywegere, mwana wange. 27#Lub 27:15, Kos 14:6, Beb 6:7N'asembera, n'amunywegera: n'awulira akaloosa ek'ebyambalo bye, n'amusabira omukisa, n'ayogera nti
Laba, akaloosa ak'omwana wange
Kaliŋŋanga akaloosa ak'ennimiro Mukama gy'awadde omukisa:
28 #
Ma 33:13,28, 2 Sam 1:21, Yo 2:19, Zek 8:12 Era Katonda akuwenga ku musulo oguva mu ggulu,
Ne ku bugimu obw'ensi,
N'eŋŋaano nnyingi n'omwenge mungi:
29 #
Lub 12:3; 49:8, 2 Sam 8:14 Abantu bakuweerezenga
N'amawanga gakuvuunamirenga:
Ofugenga baganda bo,
N'abaana ba nnyoko bakuvuunamirenga:
Akolimirwenga buli akukolimira,
Era aweebwenga omukisa buli akusabira omukisa.
30Awo olwatuuka, Isaaka bwe yali nga kyajje amale okusabira Yakobo omukisa, ne Yakobo ng'akyaliwo tannaviira ddala eri Isaaka kitaawe, Esawu muganda we n'alyoka ayingira ng'avudde okuyigga. 31Era naye n'alongoosa ennyama ey'akawoowo, n'agireetera kitaawe; n'agamba kitaawe nti Kitange agolokoke, alye ku muyiggo ogw'omwana we, obulamu bwo bunsabire omukisa. 32Isaaka kitaawe n'amugamba nti Ggwe ani? N'ayogera nti Nze mwana wo, omubereberye wo, Esawu. 33#Kubal 23:20Isaaka n'akankana nnyo nnyini, n'ayogera nti Kale ani oyo eyayizze omuyiggo n'agundeetera, nange ndidde ku byonna nga tonnajja, ne mmusabira omukisa? era naye n'okuweebwa aliweebwa omukisa. 34#Beb 12:17Esawu bwe yawulira ebigambo bya kitaawe, n'akaaba okukaaba okunene ennyo era okw'ennaku ennyingi, n'agamba kitaawe nti Nsabira nze, era nange, ai kitange. 35N'ayogera nti Muganda wo azze ng'alimba, era akuggyeko omukisa gwo. 36#Lub 25:26,33N'ayogera nti Teyatuumibwa bulungi erinnya lye Yakobo? kubanga annyingiriridde mu byange emirundi gino gyombi: yanziyako eby'obukulu bwange; ne kaakano, laba anziyeeko omukisa gwange. N'ayogera nti Tonterekedde nange mukisa? 37#Lub 27:28,29Isaaka n'addamu n'agamba Esawu nti Laba, mmuwadde okukufuganga ggwe, ne baganda be bonna mbawadde eri ye okumuweerezanga; era mmujjanjabye n'eŋŋaano n'omwenge: kale kiki kye nnaakukolera ggwe, mwana wange? 38#Beb 12:17Esawu n'agamba kitaawe nti Olina omukisa gumu gwokka, kitange? nsabira nze, era nange, ai kitange. Esawu n'ayimusa eddoboozi lye, n'akaaba. 39#Lub 36:6,7Isaaka kitaawe n'addamu n'amugamba nti
Laba, ennyumba yo eneebanga ya bugimu bwa nsi,
Era ya musulo oguva mu ggulu waggulu;
40 #
Lub 25:23, 2 Bassek 8:20,22 N'ekitala kyo kye kinaakuwanga obulamu, era onooweerezanga muganda wo;
Era olulituuka bw'olyesumattula,
Olikunkumula ekikoligo kye okuva mu bulago bwo.
41Esawu n'akyawa Yakobo olw'omukisa kitaawe gwe yamusabira: Esawu n'ayogera mu mutima gwe nti Ennaku ez'okukaabira kitange ziritera okutuuka; ne ndyoka nzita muganda wange Yakobo. 42Ne babuulira Lebbeeka ebigambo bya Esawu omwana we omubereberye; n'atuma n'ayita Yakobo omwana we omuto, n'amugamba nti Laba, muganda wo Esawu, mu bigambo byo, yeesanyusa, ng'ateesa okukutta. 43Kale kaakano, mwana wange, wulira eddoboozi lyange; ogolokoke, oddukire eri Labbaani mwannyinaze mu Kalani: 44omaleyo naye ennaku si nnyingi, okutuusa obukambwe bwa muganda wo lwe bulyekooloobya; 45obusungu bwa muganda wo lwe bulyekooloobya gy'oli, naye lw'alyerabira kye wamukolera: ne ndyoka ntuma, ne nkuggyayo: kiki ekyandinfiisizzaako mmwe mmwembi ku lunaku olumu?
46 #
Lub 26:34,35 Lebbeeka n'agamba Isaaka nti Obulamu bwange bunkooyesezza olw'abawala ba Keesi: Yakobo bw'aliwasa omukazi ku bawala ba Keesi, abali nga abo, ku bawala ab'omu nsi eno, obulamu bwange bulingasa butya?
Currently Selected:
Olubereberye 27: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.