Era Katonda akuwenga ku musulo oguva mu ggulu,
Ne ku bugimu obw'ensi,
N'eŋŋaano nnyingi n'omwenge mungi:
Abantu bakuweerezenga
N'amawanga gakuvuunamirenga:
Ofugenga baganda bo,
N'abaana ba nnyoko bakuvuunamirenga:
Akolimirwenga buli akukolimira,
Era aweebwenga omukisa buli akusabira omukisa.