Okuva 1
1
1 #
Lub 35:23-26
Gano ge mannya g'abaana ba Isiraeri abaatuuka mu Misiri buli muntu n'ennyumba ye n'ajja awamu ne Yakobo. 2Lewubeeni, Simyoni, Leevi ne Yuda; 3Isakaali, Zebbulooni, ne Benyamini; 4Ddaani ne Nafutaali, Gaadi ne Aseri. 5#Lub 46:27, Ma 10:22Abantu bonna abaava mu ntumbwe za Yakobo ne baba emyoyo nsanvu: naye Yusufu yali ng'amaze okubeera mu Misiri. 6#Lub 50:26, Bik 7:15Yusufu n'afa, ne baganda be bonna, n'emirembe giri gyonna. 7#Lub 46:3, Ma 26:5, Bik 7:17Abaana ba Isiraeri ne bazaala, ne beeyongera nnyo, ne baba bangi, ne baba ba maanyi nnyo; ensi n'ejjula abo.
8 #
Bik 7:18, Bik 7:19 Awo ne walya kabaka omuggya mu Misiri ataamanya Yusufu. 9#Zab 105:24N'abagamba abantu be nti Laba, abantu b'abaana ba Isiraeri bangi ba maanyi okusinga ffe: 10#Zab 83:3,4; 105:25, Bik 7:19kale tubasalire amagezi; baleme okuba abangi, olutalo bwe lulijja baleme okwegatta n'abalabe baffe, okulwana naffe, okugolokoka okuva mu nsi. 11#Lub 15:13; 47:11, Kuv 2:11; 5:4,5; 6:6,7, Ma 26:6, Zab 81:6Kyebaava babateekako abakoza okubabonyaabonya n'emigugu. Ne bamuzimbira Falaawo ebibuga eby'amaterekero, Pisomu ne Lamusesi. 12#Kubal 22:3Naye nga bwe beeyongera okubabonyaabonya, bwe batyo bo bwe beeyongera obungi n'okubuna. Ne banakuwala olw'abaana ba Isiraeri. 13Abamisiri ne babakoza emirimu abaana ba Isiraeri n'amaanyi: 14#Kuv 2:23; 6:9, Kubal 20:15, Bik 7:19ne bakaayisa obulamu bwabwe mu buddu obuzibu, okutegana n'ebbumba n'amatoffaali, era n'obuddu bwonna obw'omu nsuku, obuddu bwonna bwe baabakoza n'amaanyi.
15Kabaka w'e Misiri n'abagamba abazaalisa Abaebbulaniya, erinnya ly'omu Sifira, erinnya ly'ow'okubiri Puwa:
16n'ayogera nti Bwe mubakolanga abakazi Abaebbulaniya emirimu egy'obuzaalisa, bwe mubalabanga nga bali ku ntebe; omwana bw'abanga ow'obulenzi, mumuttanga; naye bw'abanga ow'obuwala, abeeranga mulamu. 17#Nge 16:6, Dan 6:13, Bik 5:29Naye abazaalisa ne bamutya Katonda, so tebaakola nga bwe baalagirwa kabaka w'e Misiri, naye baabakuuma abaana ab'obulenzi nga balamu. 18Kabaka w'e Misiri n'abayita abazaalisa, n'abagamba nti Kiki ekibakoza ekigambo ekyo, ne mubakuuma abaana ab'obulenzi nga balamu? 19Abazaalisa ne bamugamba Falaawo nti Kubanga abakazi Abaebbulaniya tebali ng'abakazi Abamisiri; kubanga balamu, abazaalisa we bagenda okubatuukirako nga bamaze okuzaala. 20#Mub 8:12, Is 3:10Katonda n'akola bulungi abazaalisa: abantu ne baba bangi, ne baba ba maanyi nnyo. 21#1 Sam 2:35, 2 Sam 7:11,27, 1 Bassek 2:24; 11:38Awo, kubanga abazaalisa baatya Katonda, n'abawa abaana. 22#Bik 7:19Falaawo n'alagira abantu be bonna n'ayogera nti Buli mulenzi alizaalibwa mumusuulanga mu mugga, buli muwala mumulekanga.
Currently Selected:
Okuva 1: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.