YouVersion Logo
Search Icon

Ebikolwa By'Abatume 27

27
1 # Bik 25:12 Awo bwe kyalagirwa ffe okuwanika amatanga okugenda Italiya, ne bawaayo Pawulo n'abasibe abalala abamu eri omwami, erinnya lye Yuliyo, ow'ekitongole kya Augusito. 2#Bik 19:29; 20:4Ne tusaabala mu kyombo eky'e Adulamutiyo ekyali kigenda ku njuyi z'e Asiya, ne tuvaayo, Alisutaluuko ow'e Makedoni ow'omu Ssessaloniika naye ng'ali naffe. 3#Bik 24:23; 28:2,16Ku lunaku olw'okubiri ne tugoba e Sidoni: Yuliyo n'akola bulungi Pawulo n'amukkiriza okugenda eri mikwano gye okumulabirira. 4Ne tuvaayo ne tuyita ku mabbali ga Kupulo kubanga omuyaga gwali gutuva mu bwengula. 5Bwe twayita mu nnyanja ey'e Kirukiya n'e Panfuliya; ne tutuuka e Mula eky'e Lukiya. 6Omwami n'alabayo ekyombo eky'e Alegezanderiya nga kigenda Italiya; n'atusaabaza mu ekyo. 7Bwe twagenda empola ennaku nnyingi ne tutuuka lwa mpaka ku Kunido, omuyaga bwe gwatulobera, ne tuyita ku mabbali ga Kuleete mu maaso ga Salumone; 8ne tukiyitako lwa mpaka ne tutuuka mu kifo ekiyitibwa Emyalo Emirungi; awaliraanye ekibuga Lasaya.
9 # 2 Kol 11:25,26, Leev 16:29 Bwe waayitawo ebiro bingi, obubi bwali bumaze okubaawo okugenda mu nnyanja kubanga ennaku ez'Okusiiba zaali ziyise, Pawulo n'abalabula 10ng'abagamba nti Abasajja, ndaba nti olugendo luno lulibaamu okwonoonekerwa n'okufiirwa kungi si kwa bintu byokka n'ekyombo, era naye n'obulamu bwaffe. 11Naye omwami n'akkiriza omugoba ne nnannyini kyombo okusinga Pawulo by'ayogedde. 12Kubanga omwalo tegwali mulungi okwewogomamu omuyaga, abamu bangi ne bateesa okuvaayo, mpozzi balyoke batuuke e Foyiniiki okwewogoma omuyaga; gwe mwalo ogw'e Kuleete ogutunuulira wakati w'obukiika n'ebuvanjuba, ne wakati w'obukiika obulala n'ebuvanjuba. 13Empewo ez'omuggundu bwe zaakunta empola, ne balowooza nti bafunye kye babadde baagala, ne basimbula essika ne bayita kumpi nnyo ne Kuleete. 14Naye oluvannyuma lw'ebiro si bingi omuyaga ogulimu kibuyaga ogwavaayo oguyitibwa Ewulakulo ne gukunta: 15ekyombo bwe kyakwatibwa ne kitayinza kwolekera muyaga, ne tukireka ne tutwalibwa omuyaga. 16Ne tweyuna mu mabbali g'akazinga akayitibwa Kawuda, ne tutegana okukwata eryato: 17bwe baamala okulirinnyisa, ne baddira emigwa egy'okunyweza ekyombo ne bakisiba wansi. Bwe baatya okusuulibwa mu Suluti, ne bassa ebyali waggulu, ne batwalibwa omuyaga. 18Bwe twategana ennyo n'omuyaga, ku lunaku olw'okubiri ne basiikulula ebintu, 19era ku lw'okusatu ne basuula n'emikono gyabwe ebitwala ekyombo. 20Era enjuba newakubadde emmunyeenye mu nnaku nnyingi nga tebyaka, era n'omuyaga si mutono ogwatukwata, oluvannyuma essuubi lyonna ery'okulokoka ne lituggwaamu. 21Enjala bwe yali ennyingi, awo Pawulo n'alyoka ayimirira wakati waabwe n'agamba nti Kyabagwanira, abasajja, okumpulira obutava mu Kuleete, obutalaba kwonoonekerwa kuno n'okufiirwa. 22Era kaakano mbabuulirira okuguma emyoyo; kubanga tewaabe mu mmwe anaafiirwa obulamu n'akatono wabula ekyombo. 23Kubanga we ndi waayimiridde ekiro kino malayika wa Katonda, nze owuwe, gwe mpeereza, 24#Bik 23:11ng'agamba nti Totya, Pawulo; kikugwanidde okuyimirira awali Kayisaali; era, laba, Katonda akuwadde bonna abagenda awamu naawe. 25Kale mugume emyoyo, abasajja; kubanga nzikiriza Katonda nga kiriba nga bwe yaŋŋambye. 26#Bik 28:1Naye kitugwanidde okusuulibwa ku kizinga.
27Naye ekiro eky'ekkumi n'ebina bwe kyatuuka, nga tusuukundirwa eruuyi n'eruuyi mu Aduliya, mu ttumbi abalunnyanja ne bateebereza nti banaatera okusemberera olukalu; 28ne bagera ne balaba ebifuba amakumi abiri: bwe twagendako katono, ne bagera nate, ne balaba ebifuba kkumi na bitaano. 29Bwe baatya okuseerera awali amayinja, ne basuula amasiika ana ku kiwenda ne balindirira bukye. 30Abalunnyanja bwe baali baagala okudduka mu kyombo ne bamala okussa eryato mu nnyanja ng'abagenda okusuula amasiika ku nsanda, 31Pawulo n'agamba omwami n'abaserikale nti Bwe bataabeere bano mu kyombo, mmwe temuuyinze kulokoka. 32Basserikale ne balyoka basala emigwa egy'eryato ne balireka okugenda. 33#Bik 27:27Awo bwe bwali bunaatera okukya, Pawulo n'abeegayirira bonna okulya ku mmere, ng'agamba nti Leero lunaku lwa kkumi na nnya ze mwakalindiririra nga musiiba ne mutalya kantu. 34#1 Sam 14:45, 2 Sam 14:11, Mat 10:30Kyenva mbeegayirira okulya ku mmere: kubanga okwo kunaabalokola: kubanga tewaabule luviiri ku mitwe gyammwe n'omu. 35#Yok 6:11, 1 Tim 4:4, Luk 22:19Bwe yamala okwogera bwatyo n'addira omugaati, ne yeebaliza Katonda mu maaso ga bonna n'agumenyamu n'atanula okulyako. 36Bonna ne baguma emyoyo, nabo ne balyako. 37Ne tuba fenna abaali mu kyombo emyoyo bikumi bibiri mu nsanvu mu mukaaga. 38Bwe baamala okukkuta emmere, ekyombo ne bakiwewula nga basuula eŋŋaano mu nnyanja. 39Bwe bwakya enkya, nga tebamanyi gye bali: naye ne balaba ekikono ekiriko omusenyu; ne bateesa, oba nga kiyinzika, okuseeza omwo ekyombo. 40Ne bakutula amasiika, ne bagaleka mu nnyanja, mu kiseera ekyo bwe baasumulula emigwa egy'enkasi egoba, ne bawanika ettanga eri mu maaso eri empewo ne boolekera ku ttale. 41Naye bwe baatuuka mu kifo amayengo abiri we gaasisinkana, ne baseeza ekyombo; ensanda n'eseera n'enywera n'etanyeenya, naye ekiwenda ne kizibikuka n'amaanyi g'amayengo. 42Basserikale ne bateesa abasibe battibwe baleme okuwugirira okudduka. 43Naye omwami bwe yayagala okuwonya Pawulo, n'abaziyiza okukola kye bateesezza; n'alagira abaayinza okuwuga okwesuulamu basooke okutuuka ku ttale; 44#Bik 27:22-25n'abalala abaasigalawo, abamu ku mpero, n'abamu ku bintu by'ekyombo. Awo bwe batyo bonna ne batuuka ku ttale emirembe.

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in