Ebikolwa By'Abatume 26
26
1Agulipa n'agamba Pawulo nti Okkirizibwa okuwoza ensonga zo. Awo Pawulo n'alyoka agolola omukono n'awoza nti
2Bye nnavunaanibwa Abayudaaya byonna, kabaka Agulipa, nneesiimye kubanga ŋŋenda okubiwoza leero w'oli; 3era okusinga kubanga omanyi empisa n'ebibuuzibwa byonna ebiri mu Bayudaaya: kyenva nkwegayirira ogumiikirize okumpulira. 4Kale empisa zange okuva mu buto ezaasooka okubeeranga mu ggwanga lyaffe ne mu Yerusaalemi, Abayudaaya bonna bazimanyi; 5#Bik 23:6, Baf 3:5abantegeera okusooka edda, singa baagala okutegeeza, bwe nneegenderezanga mu kitundu ekisinga obuzibu eky'eddiini yaffe, ne mbeera Mufalisaayo. 6#Bik 28:20Kaakano nnyimiridde okusalirwa omusango olw'essuubi Katonda lye yasuubiza bajjajjaffe; 7#Bik 24:15lye basuubira okutuukako ebika byaffe ekkumi n'ebibiri, nga banyiikira okuweerezanga Katonda emisana n'ekiro: olw'essuubi eryo, kabaka, Abayudaaya kyebavudde bampawaabira. 8Kiki ekibalowoozesa nti tekiyinzika Katonda okuzuukiza abafu? 9#Bik 9:1-29; 22:3-21Mazima nze nalowoozanga nzekka nga kiŋŋwanidde okukolanga obubi ebigambo bingi ku linnya lya Yesu Omunazaaleesi. 10N'okukola ne nkolanga bwe ntyo e Yerusaalemi: nze ne nsibanga mu makomera abatukuvu baamu bangi, bwe nnaweebwa obuyinza eri bakabona abakulu, era bwe battibwa, ne nzikiriza okubatta. 11Era bwe nnababonerezanga emirundi mingi mu makuŋŋaaniro gonna ne mbawalirizanga okuvvoola; ne mbasunguwaliranga nnyo ne mbayigganyanga okutuuka mu bibuga eby'ebweru. 12Awo bwe nnali nga ŋŋenda e Ddamasiko nga nnina obuyinza n'okulagirwa okwava eri bakabona abakulu, 13mu ttuntu, kabaka, ne ndaba mu kkubo omusana ogwava mu ggulu ogusinga okwaka kw'enjuba ne gumasamasa ne gunneetooloola n'abaali batambula nange. 14Ne tugwa fenna wansi ne mpulira eddoboozi nga lyogera nange mu lulimi Olwebbulaniya nti Sawulo, Sawulo, onjigganyiza ki? kye kizibu ggwe okusamba ku miwunda. 15Nze ne ŋŋamba nti Ggwe ani, Mukama wange? Mukama waffe n'agamba nti Nze Yesu, gw'oyigganya ggwe. 16#Ez 2:1,3Naye golokoka, oyimirire ku bigere byo: kyenvudde nkulabikira, nkulonde obeerenga omuweereza era omujulirwa w'ebyo mw'ondabidde era ow'ebyo mwe nnaakulabikiranga, 17#Yer 1:7, 1 Byom 16:35nga nkuwonya mu bantu ne mu b'amawanga, nze gye nkutuma okuzibula amaaso gaabwe, 18#Ma 33:3, Is 35:5; 42:7,16, Bik 20:32, Bef 2:2, Bak 1:13bakyuke okuva mu kizikiza badde eri omusana n'okuva mu buyinza bwa Setaani badde eri Katonda, balyoke baweebwe okuggibwako ebibi n'obusika mu abo abatukuzibwa olw'okukkiriza nze. 19#Bag 1:16Kale, kabaka Agulipa, saalema kugondera okwolesebwa okw'omu ggulu: 20#Mat 3:8naye nnasooka okubuulira ab'omu Ddamasiko ne mu Yerusaalemi, era n'ensi yonna ey'e Buyudaaya n'ab'amawanga okwenenya n'okukyukira Katonda, nga bakolanga ebikolwa ebisaanidde okwenenya. 21#Bik 21:30,31Abayudaaya kyebaava bankwata mu yeekaalu ne bagezaako okunzita. 22#Luk 24:44-47Kale bwe nnafuna okubeerwa okwava eri Katonda, okutuusa ku lunaku luno nnyimiridde nga ntegeeza abato n'abakulu, nga soogera kigambo wabula bannabbi ne Musa bye baayogera nga bigenda okujja; 23#1 Kol 15:20bwe kigwanira Kristo okubonyaabonyezebwa; era ye bw'alisooka mu kuzuukira kw'abafu okubuulira omusana abantu n'ab'amawanga.
24Bwe yawoza bw'atyo Fesuto n'agamba n'eddoboozi ddene nti Olaluse, Pawulo: okusoma okwo okungi kukukyusa okuba omulalu. 25Naye Pawulo n'agamba nti Siraluse, Fesuto omulungi ennyo, naye njogera ebigambo eby'amazima n'eby'obuntu-bulamu. 26#Yok 18:20Kubanga kabaka amanyi ebigambo bino, gwe njogerera mu maaso ge n'obugumu. Kubanga mmanyi ebigambo bino tebyekwese eri kabaka n'ekimu; kubanga ekyo tekyakolebwa mu bubba. 27Okkiriza bannabbi, kabaka Agulipa? Mmanyi ng'okkiriza. 28#Bik 11:26, 1 Peet 4:16Agulipa n'agamba Pawulo nti Oyagala okunsendasenda onfuule Omukristaayo; 29Pawulo n'agamba nti Nandisabye Katonda olw'okusendasenda okutono oba okunene si ggwe wekka era naye ne bonna abampulira leero okufuuka nga nze awatali kusibibwa kuno.
30Kabaka n'agolokoka n'owessaza ne Berenike n'abaali batudde awamu nabo; 31bwe baddayo eka, ne boogera bokka na bokka nga bagamba nti Omuntu ono takoze ekisaanidde okumussa oba okumusibya. 32#Bik 25:11Agulipa n'agamba Fesuto nti Omuntu ono yandiyinzizza okuteebwa, singa teyajulira Kayisaali.
Currently Selected:
Ebikolwa By'Abatume 26: LUG68
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.

: