YouVersion Logo
Search Icon

Ebikolwa By'Abatume 25

25
1Awo Fesuto bwe yatuuka mu ssaza, bwe waayitawo ennaku ssatu, n'ava mu Kayisaliya n'alinnya e Yerusaalemi. 2#Bik 24:1Bakabona abakulu n'abakungu b'Abayudaaya ne bamubuulira Pawulo bye yaloopebwa; ne bamwegayirira, 3#Bik 23:15nga baagala abakole obulungi ku ye, amutumire okujja e Yerusaalemi; bamuteegere mu kkubo okumutta. 4Naye Fesuto n'addamu nti Pawulo akuumirwa mu Kayisaliya, naye ye yennyini yali ng'anaatera okuvaayo okugenda. 5N'agamba nti Kale abakulu mu mmwe bagende nange, bamuvunaane oyo oba ng'aliko ekibi kyonna kyonna.
6Bwe yamalayo ewaabwe ennaku ezitaasingawo munaana oba kkumi, n'aserengeta e Kayisaliya; ku lunaku olw'okubiri n'atuula ku ntebe esalirwako emisango, n'alagira okuleeta Pawulo. 7Bwe yatuuka Abayudaaya abaava e Yerusaalemi ne bayimirira okumwetooloola, nga baleeta ebimuvunaanwa bingi era ebizibu, bye bataayinza kulumiriza; 8Pawulo n'awoza nti Siyonoonanga mu mateeka g'Abayudaaya newakubadde ku yeekaalu newakubadde eri Kayisaali. 9#Bik 24:27Naye Fesuto, bwe yayagala Abayudaaya okumusiima, n'addamu eri Pawulo n'agamba nti Oyagala okugenda e Yerusaalemi osalirwe eyo omusango gw'ebigambo bino mu maaso gange? 10Naye Pawulo n'agamba nti Nnyimiridde awali entebe esalirwako emisango eya Kayisaali, we ŋŋwanidde okusalirwa omusango: siyonoonanga eri Abayudaaya, era nga naawe bw'otegeerera ddala obulungi. 11Kale oba nga nnayonoona era nga nnakola ekigambo ekisaanidde okunzisa, sigaana kufa: naye oba nga bano ebigambo bye banvunaana nga tebiriiwo na kimu, tewali muntu ayinza okumpaayo mu bo. Njulira Kayisaali. 12Fesuto bwe yamala okuteesa nabo mu lukiiko n'alyoka addamu nti Ojulidde Kayisaali: oligenda eri Kayisaali.
13Awo bwe waayitawo ennaku, Agulipa kabaka ne Berenike ne batuuka e Kayisaliya, ne balamusa Fesuto. 14#Bik 24:27Bwe baamalayo ennaku nnyingi, Fesuto n'abuulira kabaka ebigambo bya Pawulo ng'agamba nti Waliwo omuntu Ferikisi gwe yaleka nga musibe: 15bwe nnali mu Yerusaalemi bakabona abakulu n'abakadde b'Abayudaaya ne bambuulira ebigambo bye, nga baagala okumusalira omusango. 16Ne mbaddamu nti Si mpisa ya Baruumi okuwaayo omuntu abamuvunaana nga tebannaba kubaawo mu maaso ge, era nga tannaweebwa bbanga lya kuwoza bye bamuvunaana. 17Awo bwe baakuŋŋaanira wano, saalwa n'akatono, naye ku lunaku olw'okubiri ne ntuula ku ntebe esalirwako emisango ne ndagira okuleeta omusajja oyo. 18Bwe baayimirira abamuvunaana ne bataleeta nsonga ya bigambo bibi nga bwe nnali ndowooza; 19#Bik 18:15naye baalina ku ye ebibuuzibwa mu ddiini yaabwe n'eby'omuntu Yesu eyafa, Pawulo gwe yayogerako okuba omulamu. 20Nange bwe nnabulwa bwe nnaakebera ebyo, ne mmubuuza ng'ayagala okugenda e Yerusaalemi okusalirwayo omusango ogwa bino. 21Naye Pawulo bwe yajulira okukuumibwa okusalirwa omusango eri Augusito, ne ndagira okumukuuma okutuusa lwe ndimuweereza eri Kayisaali. 22#Luk 23:8Agulipa n'agamba Fesuto nti Nandyagadde nange okuwulira omuntu oyo. N'agamba nti Enkya onoomuwulira.
23 # Mat 10:18 Awo ku lunaku olw'okubiri Agulipa ne Berenike bwe bajja n'ekitiibwa ekinene era bwe baayingira mu kifo awawulirirwa emisango wamu n'abaami abakulu n'abakungu ab'omu kibuga, Fesuto n'alagira Pawulo n'aleetebwa. 24#Bik 2:7; 22:22Fesuto n'agamba nti Agulipa kabaka nammwe mwenna abali wano naffe, mumulaba ono, ekibiina kyonna eky'Abayudaaya gwe banneegayiririra mu Yerusaalemi ne wano nga boogerera waggulu nti tekimugwanidde kuba mulamu nate. 25Naye nze ne ntegeera nga takoze kigambo ekisaanidde okumussa: naye ye bwe yajulira Augusito ne nsala okumuweerezaayo. 26Sirina kigambo ku ye eky'amazima okuwandiikira mukama wange. Kyenvudde mmuleeta we muli, era okusinga w'oli, ggwe kabaka Agulipa, bwe tunaamala okumukemereza ndyoke mbeere n'ekigambo eky'okuwandiika. 27Kubanga ndaba nga kya busiru okuweereza omusibe n'obutabuulira nsonga eziri ku ye.

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in