2 Samwiri 14
14
1Awo Yowaabu mutabani wa Zeruyiya n'ategeera ng'omutima gwa kabaka guli eri Abusaalomu. 2Yowaabu n'atuma e Tekowa n'akimayo omukazi ow'amagezi n'amugamba nti Nkwegayiridde, weefuule ng'afiiriddwa, oyambale ebyambalo eby'okufiirwa, nkwegayiridde, so tosaaba mafuta, naye weefuule ng'omukazi eyaakamala ebiro bingi ng'akaabira omufu: 3#2 Sam 14:19; 8:8oyingire eri kabaka omugambe bw'otyo. Awo Yowaabu n'amuweerera ebigambo. 4#2 Bassek 6:26; 8:3Awo omukazi ow'e Tekowa bwe yayogera ne kabaka, n'avuunama amaaso ge ne yeeyanza n'ayogera nti Mbeera, ai kabaka. 5#2 Sam 12:1Kabaka n'amugamba nti Obadde otya? N'addamu nti Mazima nze ndi mukazi nnammwandu ne baze yafa. 6Era omuzaana wo yalina abaana babiri, ne balwana bombi ku ttale, so nga tewali wa kubataasa, naye omu n'afumita munne n'amutta. 7#Mak 12:7Kale, laba, ekika kyonna kimugolokokeddeko omuzaana wo era bayogera nti Waayo oyo eyafumita muganda we tumutte olw'obulamu bwa muganda we gwe yatta, tutte bwe tutyo n'omusika: kale bwe batyo banaazikiza eryanda lyange erisigaddewo, ne batamulekera baze linnya newakubadde ekitundu ekifisseewo ku ttaka lyonna. 8Awo kabaka n'agamba omukazi nti Genda ewuwo, nange n'alagira ebigambo byo bwe binaaba. 9#1 Sam 25:24Awo omukazi ow'e Tekowa n'agamba kabaka nti Mukama wange, ai kabaka, obutali butuukirivu bube ku nze ne ku nnyumba ya kitange: kabaka abe nga taliiko musango n'entebe ye ey'obwakabaka. 10Kabaka n'ayogera nti Buli anaakugambanga ekigambo kyonna, omuleetanga gye ndi so talikukwatako lwa kubiri. 11#Kubal 35:19,21, Ma 19:12, 1 Sam 14:45, Bik 27:34Awo n'alyoka ayogera nti Nkwegayiridde, kabaka ajjukire Mukama Katonda wo, awalana eggwanga ly'omusaayi aleme okweyongera okuzikiriza, baleme okuzikiriza mutabani wange. N'ayogera nti Mukama nga bw'ali omulamu, tewaliba luviiri lumu lwa mutabani wo oluligwa wansi. 12Awo omukazi n'ayogera nti Nkwegayiridde, omuzaana wo ayogere ekigambo ne mukama wange kabaka. N'ayogera nti Yogera. 13#2 Sam 13:37,38Omukazi n'ayogera nti Kale wateesezza ki ekigambo ekifaanana bwe kityo eri abantu ba Katonda? kubanga kabaka bw'ayogera ekigambo ekyo, aliŋŋanga aliko omusango, kubanga kabaka takomyawo eka ewuwe eyagobebwa. 14#1 Sam 26:19, Yob 7:9; 14:10, Zab 88:5, Mub 3:19-21; 8:8Kubanga kitugwanira okufa, era tuliŋŋanga amazzi agayiise wansi agatayinzika kuyooleka nate; so Katonda taggyaawo bulamu, naye n'asala amagezi oyo eyagobebwa aleme okuba omudduse gy'ali. 15Kale nno kubanga nzize okwogera ekigambo ekyo ne mukama wange kabaka, kyenvudde njija kubanga abantu bantiisizza: omuzaana wo n'ayogera nti Kaakano naayogera ne kabaka; mpozzi kabaka alikola omuzaana we by'amwegayiridde. 16Kubanga kabaka anaawulira, okuwonya omuzaana we mu mukono gw'omusajja ayagala okunzikiriza fembi ne mutabani wange okutuggya mu busika bwa Katonda. 17#2 Sam 19:27Awo omuzaana wo n'alyoka ayogera nti Nkwegayiridde, ekigambo kya mukama wange kabaka kibeere kya kusanyusa: kubanga mukama wange kabaka aliŋŋanga malayika wa Katonda okwawulamu ebirungi n'ebibi: era Mukama Katonda wo abeere naawe. 18Awo kabaka n'alyoka addamu n'agamba omukazi nti Tonkisa, nkwegayiridde, ekigambo kyonna kye nnaakubuuza. Omukazi n'ayogera nti Mukama wange kabaka ayogere kaakano. 19#2 Sam 14:3Kabaka n'ayogera nti Omukono gwa Yowaabu guli naawe mu bino byonna? Omukazi n'addamu n'ayogera nti Nga ggwe bw'oli omulamu, mukama wange kabaka, tewali ayinza okukyama ku mukono ogwa ddyo newakubadde ku gwa kkono okuva ku kigambo kyonna mukama wange kabaka ky'ayogedde: kubanga omuddu wo Yowaabu ye yandagira, era ye yaweerera omuzaana wo ebigambo bino byonna: 20okuwaanyisa ekigambo bwe kifaanana omuddu wo Yowaabu kyavudde akola kino: era mukama wange mugezigezi ng'amagezi bwe gali aga malayika wa Katonda, okumanya byonna ebiri mu nsi. 21Kabaka n'agamba Yowaabu nti Laba nno, ekigambo kino nkikoze: kale genda omukomyewo omulenzi Abusaalomu. 22Awo Yowaabu n'avuunama amaaso ge, ne yeeyanza, ne yeebaza kabaka: Yowaabu n'ayogera nti Leero omuddu wo amanyi nga ŋŋanze mu maaso go, mukama wange, ai kabaka, kubanga kabaka akoze omuddu we ky'amwegayiridde. 23#2 Sam 13:38Awo Yowaabu n'agolokoka n'agenda e Gesuli n'aleeta Abusaalomu e Yerusaalemi. 24Kabaka n'ayogera nti Addeyo mu nnyumba ye ye, naye aleme okulaba amaaso gange. Awo Abusaalomu n'addayo mu nnyumba ye, n'atalaba maaso ga kabaka.
25Awo mu Isiraeri yenna temwali n'omu wa kutenderezebwa nga Abusaalomu olw'obulungi bwe: okuva ku bigere bye wansi okutuuka ku bwezinge bw'omutwe gwe nga taliiko kabi. 26Awo bwe yasalanga enviiri ze, (era buli mwaka bwe gwaggwangako n'azisalanga: kubanga, zaamuzitoowereranga kyeyava azisala:) n'apima enviiri ez'oku mutwe gwe ne ziba sekeri ebikumi bibiri, ng'okupima kwa kabaka bwe kwali. 27#2 Sam 18:18Awo Abusaalomu n'azaalirwa abaana ab'obulenzi basatu n'ow'obuwala omu, erinnya lye Tamali: yali mukazi wa maaso malungi.
28Awo Abusaalomu n'amala emyaka ebiri emirambirira mu Yerusaalemi; n'atalaba maaso ga kabaka. 29Awo Abusaalomu n'atumya Yowaabu, okumutuma eri kabaka; naye n'atakkiriza kujja gy'ali: awo n'atumya nate omulundi ogw'okubiri, naye n'atakkiriza kujja. 30Kyeyava agamba abaddu be nti Laba, ennimiro ya Yowaabu eriraanye n'eyange, era alina sayiri eyo; mugende mugyokye. Awo abaddu ba Abusaalomu ne bookya ennimiro. 31Awo Yowaabu n'alyoka agolokoka n'ajja eri Abusaalomu mu nnyumba ye n'amugamba nti Abaddu bo bookedde ki ennimiro yange? 32#2 Sam 13:38Abusaalomu n'addamu Yowaabu nti Laba nakutumira nga njogera nti Jjangu wano, nkutume eri kabaka okwogera nti Njijiridde ki okuva e Gesuli? mbeera kubeera eyo ne kaakano kyandibadde kirungi gye ndi: kale nno ndabe amaaso ga kabaka; era oba nga mulimu obutali butuukirivu mu nze, anzite. 33#Luk 15:20Awo Yowaabu n'ajja eri kabaka n'amubuulira: awo bwe yayita Abusaalomu, n'ajja eri kabaka, n'avuunama amaaso ge mu maaso ga kabaka: kabaka n'anywegera Abusaalomu.
Currently Selected:
2 Samwiri 14: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.