2 Samwiri 13
13
1 #
2 Sam 3:2,3, 1 Byom 3:2,9 Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo Abusaalomu mutabani wa Dawudi yalina mwannyina omulungi, erinnya lye Tamali; Amunoni mutabani wa Dawudi n'amwagala. 2Awo Amunoni ne yeeraliikirira bw'atyo n'okulwala n'alwala olwa mwannyina Tamali; kubanga yali tannamanya musajja; Amunoni n'akirowooza nga kizubu okumukola ekigambo kyonna. 3#1 Sam 16:9; 17:13, 1 Byom 2:13Naye Amunoni yalina mukwano gwe, erinnya lye Yonadabu, mutabani wa Simeya muganda wa Dawudi: era Yonadabu yali musajja mugerengetanya nnyo. 4N'amugamba nti Ekikukozza bw'otyo bulijjo bulijjo kiki, ggwe omwana wa kabaka? tombuulire? Amunoni n'amugamba nti Njagala Tamali mwannyina muganda wange Abusaalomu. 5Awo Yonadabu n'amugamba nti Galamira ku kitanda kyo weerwazerwaze: kale kitaawo bw'aliba ng'azze okukulaba, n'omugmaba nti Mwannyinaze Tamali ajje, nkwegayiridde, ampe emmere okulya, era afumbe emmere mu maaso gange ngirabe ngiriire mu ngalo ze. 6Awo Amunoni n'agalamira ne yeerwazalwaza: awo kabaka bwe yajja okumulaba, Amunoni n'agamba kabaka nti Mwannyinaze Tamali ajje, nkwegayiridde, anfumbire emigaati ebiri mu maaso gange ndiire mu ngalo ze. 7Awo Dawudi n'atuma eka eri Tamali ng'ayogera nti Genda nno eri ennyumba ya muganda wo Amunoni omufumbire emmere. 8Awo Tamali n'agenda eri ennyumba ya muganda we Amunoni; ye ng'agalamidde. N'addira obutta n'abugoya n'abumba emigaati mu maaso ge n'ayokya emigaati. 9N'addira ekikalango n'agifuka mu maaso ge; naye n'agaana okulya. Amunoni n'agamba nti Abasajja bonna bave we ndi. Ne bava w'ali buli musajja. 10Amunoni n'agamba Tamali nti Leeta emmere mu kisenge ndiire mu ngalo zo. Tamali n'addira emigaati gy'afumbye n'agireeta mu kisenge eri Amunoni mwannyina. 11Awo bwe yagimusembereza okulya n'amukwata n'amugamba nti Jjangu osule nange, mwannyinaze. 12#Lub 34:7, Leev 18:9,11; 20:17, Yer 29:23N'amuddamu nti Nedda, mwannyinaze, tonkwata; kubanga tekigwanidde kukola kigambo ekifaanana bwe kityo mu Isiraeri: tokola busirusiru buno. 13Nange nno naatwala wa obuwemu bwange? naawe oliba ng'omu ku basirusiru mu Isiraeri. Kale nno, nkwegayiridde, yogera ne kabaka; kubanga tajja kukunnyima. 14Naye n'atakkiriza kuwulira ddoboozi lye: naye kubanga yamusinga amaanyi n'amukwata n'asula naye. 15Awo Amunoni n'alyoka amukyawa ekitakyayika; kubanga okukyawa kwe yamukyawa kwasinga okwagala kwe yamwagala. Amunoni n'amugamba nti Golokoka ogende. 16N'ayogera nti Nedda, kubanga ekyonoono kino ekinene ky'onkola ng'ongoba kisinga kiri ky'onkoze. Naye n'ataganya kumuwulira. 17Awo n'alyoka ayita omuddu we eyamuweerezanga n'ayogera nti Fulumya nno omukazi ono ave we ndi, osibe oluggi ennyuma we. 18#Lub 37:3Era yali ayambadde ekyambalo eky'amabala amangi: kubanga bwe baayambalanga bwe batyo abawala ba kabaka abatamanyi musajja. Awo omuddu we n'amufulumya n'asiba oluggi ennyuma we. 19#2 Sam 1:11Awo Tamali n'ateeka evvu ku mutwe gwe n'ayuza ekyambalo kye eky'amabala amangi kye yali ayambadde; ne yeetikka omukono gwe n'agenda ng'akaaba. 20Abusaalomu mwannyina n'amugamba nti Amunoni mwannyoko abadde naawe? naye kaakano sirika, mwannyinaze: ye mwannyoko; ekigambo ekyo kireme okukunakuwaza omwoyo. Awo Tamali n'abeera mu nnyumba ya mwannyina Abusaalomu nga talina bba. 21Awo kabaka Dawudi bwe yawulira ebyo byonna, n'asunguwala nnyo. 22Abusaalomu n'atayogera ne Amunoni newakubadde ebirungi newakubadde ebibi: kubanga Abusaalomu n'akyawa Amunoni, kubanga yali akutte Tamali mwannyina.
23 #
Lub 38:12,13, 1 Sam 25:2,36 Awo olwatuuka emyaka ebiri emirambirira bwe gyayitawo, Abusaalomu yalina abasala ebyoya by'endiga ze e Baalu-kazoli, ekiri ku mabbali ga Efulayimu: Abusaalomu n'ayita abaana ba kabaka bonna. 24Abusaalomu n'ajja eri kabaka n'ayogera nti Laba nno, omuddu wo alina abasala ebyoya by'endiga; nkwegayiridde, kabaka n'abaddu be bagende n'omuddu wo. 25Kabaka n'agamba Abusaalomu nti Nedda, mwana wange, tuleme okugenda fenna, tuleme okukuzitoowerera. N'amutayirira: naye n'atakkiriza kugenda, naye n'amusabira omukisa. 26Awo Abusaalomu n'ayogera nti ogaanyi, nkwegayiridde muganda wange Amunoni agende naffe. Kabaka n'amugamba nti Ekinaaba kimutwala nawe kiki? 27Naye Abusaalomu n'amutayirira akkirize Amunoni n'abaana ba kabaka bonna okugenda naye. 28#1 Sam 25:36Awo Abusaalomu n'alagira abaddu be ng'ayogera nti Mwekkaanye nno, omutima gwa Amunoni nga gusanyuse olw'omwenge; awo bwe nnaabagamba nti Mufumite Amunoni, mumutte, temutya: si nze mbalagidde? mugume emyoyo mube abazira. 29Abaddu ba Abusaalomu ne bakola Amunoni nga Abusaalomu bw'alagidde. Awo abaana ba kabaka bonna ne balyoka bagolokoka ne beebagala buli muntu ennyumbu ye ne badduka. 30Awo olwatuuka bwe baali nga bakyali mu kkubo, Dawudi n'aleeterwa ebigambo nga boogera nti Abusaalomu asse abaana ba kabaka bonna, tekusigadde n'omu. 31#2 Sam 12:16Awo kabaka n'agolokoka n'ayuza ebyambalo bye n'agalamira ku ttaka; abaddu be bonna ne bayimirira gy'ali nga bayuzizza engoye zaabwe. 32#2 Sam 13:3,14Yonadabu, mutabani wa Simeya muganda wa kabaka, n'addamu n'ayogera nti Mukama wange aleme okulowooza nga basse abalenzi bonna abaana ba kabaka; kubanga Amunoni yekka ye afudde: kubanga Abusaalomu yateesa bw'atyo ng'akimalirira okuva ku lunaku lwe yakwata Tamali mwannyina. 33Kale nno mukama wange kabaka ekigambo ekyo kireme okumunakuwaza omwoyo okulowooza ng'abaana ba kabaka bonna bafudde: kubanga Amunoni yekka ye afudde. 34#2 Sam 18:24Naye Abusaalomu n'adduka. Awo omulenzi eyakuumanga n'ayimusa amaaso ge n'atunula, awo, laba, abantu bangi nga bajja nga bafuluma mu kkubo ery'oku lusozi ennyuma we. 35Awo Yonadabu n'agamba kabaka nti Laba, abaana ba kabaka batuuse: ng'omuddu wo bw'ayogedde, bwe guli bwe gutyo. 36Awo olwatuuka bwe yamala okwogera, awo, laba, abaana ba kabaka ne bajja ne bayimusa eddoboozi lyabwe ne bakaaba: era ne kabaka n'abaddu be bonna ne bakaaba nnyo nnyini. 37#2 Sam 3:3Naye Abusaalomu n'adduka, n'agenda eri Talumayi mutabani wa Ammikuli, kabaka w'e Gesuli. Dawudi n'anaakuwaliranga mutabani we buli lunaku.
38Awo Abusaalomu n'adduka n'agenda e Gesuli, n'amalayo emyaka esatu. 39#Lub 24:67; 37:35Dawudi ne yeegomba okuvaayo okugenda eri Abusaalomu: kubanga yakubagizibwa olwa Amunoni, okuba ng'afudde.
Currently Selected:
2 Samwiri 13: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.