2 Bassekabaka 2
2
1 #
Lub 5:24, 1 Bassek 19:19-21 Awo olwatuuka Mukama bwe yayagala okulinnyisa Eriya n'embuyaga ez'omuzimu mu ggulu, Eriya n'agenda ne Erisa ng'ava e Girugaali. 2#Luus 1:15,16; 3:13Awo Eriya n'agamba Erisa nti Beera wano, nkwegayiridde; kubanga Mukama antumye e Beseri. Erisa n'ayogera nti Nga Mukama bw'ali omulamu n'emmeeme yo nga bw'eri ennamu, sijja kukuleka. Awo ne baserengeta ne bajja e Beseri. 3#2 Bassek 4:1,38Awo abaana ba bannabbi abaali e Beseri ne bafuluma eri Erisa, ne bamugamba nti Omanyi nga Mukama anaggya mukama wo ku mutwe gwo leero? N'ayogera nti Weewaawo, mmanyi; mmwe musirike. 4#1 Bassek 16:34Awo Eriya n'amugamba nti Erisa, beera wano, nkwegayiridde; kubanga Mukama antumye e Yeriko. N'ayogera nti Nga Mukama bw'ali omulamu n'emmeeme yo nga bw'eri ennamu, sijja kukuleka. Awo ne bajja e Yeriko. 5Awo abaana ba bannabi abaali e Yeriko ne basemberera Erisa ne bamugamba nti Omanyi nga Mukama anaggya mukama wo ku mutwe gwo leero? N'addamu nti Weewaawo, mmanyi; mmwe musirike. 6Awo Eriya n'amugamba nti Nkwegayiridde, beera wano; kubanga Mukama antumye e Yoludaani. N'ayogera nti Nga Mukama bw'ali omulamu n'emmeeme yo nga bw'eri ennamu, sijja kukuleka. Awo abo bombi ne batambula. 7Awo abasajja amakumi ataano ab'oku baana ba bannabbi ne bagenda ne bayimirira okuboolekera wala nabo; abo bombi ne bayimirira ku Yoludaani. 8#Kuv 14:21, Yos 3:16, 1 Bassek 19:19Awo Eriya n'addira omunagiro gwe n'aguzinga wamu n'akuba amazi ne gaawulibwamu eruuyi n'eruuyi n'okuyita ne bayita bombi ku lukalu. 9#Ma 21:17Awo olwatuuka bwe baamala okusomoka Eriya n'agamba Erisa nti Saba kye nnaakukolera nga sinnaba kukuggibwako. Erisa n'ayogera nti Nkwegayiridde emigabo ebiri egy'omwoyo gwo gibere ku nze. 10N'ayogera nti Osabye kizibu: naye bw'onondaba bwe nnaakuggibwako kinaaba bwe kityo gy'oli; naye bw'otondabe tekiibe bwe kityo. 11#2 Bassek 6:17, Mak 16:19, Kub 11:12Awo olwatuuka nga bakyatambula nga balojja, laba ne walabika eggaali ery'omuliro n'embalaasi ez'omuliro ne zibaawula bombi; Eriya n'alinnya mu ggulu n'embuyaga ez'omuzimu. 12#2 Bassek 13:14Era Erisa n'akiraba n'ayogerera waggulu nti Kitange, kitange, amagaali ga Isiraeri n'embalaasi ze! N'atambula nate: n'akwata ebyambalo bye n'abiyuzaamu ebitundu bibiri. 13Era n'alonda n'ekyambalo kya Eriya ky'asudde, n'addayo n'ayimirira ku lubalama lwa Yoludaani. 14#Kuv 14:21, Yos 3:16N'addira ekyambalo kya Eriya ky'asudde, n'akuba amazzi n'ayogera nti Ali luuyi wa Mukama Katonda wa Eriya? awo ng'amaze okukuba amazzi naye, ne gaawulibwamu eruuyi n'eruuyi: Erisa n'asomoka. 15#2 Bassek 2:3Awo abaana ba bannabbi abaali e Yeriko okumwolekera bwe baamulaba, ne boogera nti Omwoyo gwa Eriya gutuula ku Erisa. Ne bajja okumusisinkana, ne bavuunama mu maaso ge. 16#1 Bassek 18:12, Bik 8:39Awo ne bamugamba nti Laba nno waliwo abasajja amakumi ataano ab'amaanyi wamu n'abaddu bo; tukwegayiridde bagende banoonye mukama wo: mpozzi omwoyo gwa Mukama gumusitudde ne gumusuula ku lusozi oba mu kiwonvu. N'ayogera nti Temutuma. 17Awo bwe baamutayirira okutuusa ensonyi lwe zaamukwata, n'ayogera nti Mutume. Awo ne batuma abasajja amakumi ataano; ne banoonyeza ennaku ssatu naye ne batamulaba. 18Awo ne bakomawo gy'ali ng'akyalinda e Yeriko; n'abagamba nti Saabagamba nti Temugenda?
19Awo abasajja ab'omu kibuga ne bagamba Erisa nti Laba, tukwegayiridde, awali ekibuga kino walungi nga mukama wange bw'alaba: naye amazzi tegaliiko kye gagasa, n'ensi tekuza mmere. 20N'ayogera nti Mundeetere akasumbi akaggya, muteeke omwo omunnyo. Ne bakaleeta gy'ali. 21#Kuv 15:25, 2 Bassek 4:41N'afuluma n'ajja awali ensulo y'amazzi, n'asuula omwo omunnyo n'ayogera nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Mponyezza amazzi gano; temukyavaamu nate lumbe newakubadde obutakuza mmere. 22Awo amazzi ne gawona ne leero ng'ekigambo bwe kyali ekya Erisa kye yayogera.
23Awo n'avaayo n'ayambuka n'agenda e Beseri: awo ng'ali mu kkubo ng'ayambuka abaana abato ne bava mu kibuga ne bamuduulira ne bamugamba nti Yambuka, ggwe ow'ekiwalaata; yambuka, ggwe ow'ekiwalaata. 24N'akebuka n'abalaba n'abakolimira mu linnya lya Mukama. Eddubu bbiri enkazi ne ziva mu kibira ne zitaagula abaana amakumi ana mu babiri ku bo. 25#1 Bassek 18:19,20Awo n'avaayo n'agenda eri olusozi Kalumeeri, n'avaayo n'akomawo e Samaliya.
Currently Selected:
2 Bassekabaka 2: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.