1
2 Bassekabaka 2:9
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
LUG68
Awo olwatuuka bwe baamala okusomoka Eriya n'agamba Erisa nti Saba kye nnaakukolera nga sinnaba kukuggibwako. Erisa n'ayogera nti Nkwegayiridde emigabo ebiri egy'omwoyo gwo gibere ku nze.
Compare
Explore 2 Bassekabaka 2:9
2
2 Bassekabaka 2:11
Awo olwatuuka nga bakyatambula nga balojja, laba ne walabika eggaali ery'omuliro n'embalaasi ez'omuliro ne zibaawula bombi; Eriya n'alinnya mu ggulu n'embuyaga ez'omuzimu.
Explore 2 Bassekabaka 2:11
3
2 Bassekabaka 2:10
N'ayogera nti Osabye kizibu: naye bw'onondaba bwe nnaakuggibwako kinaaba bwe kityo gy'oli; naye bw'otondabe tekiibe bwe kityo.
Explore 2 Bassekabaka 2:10
4
2 Bassekabaka 2:14
N'addira ekyambalo kya Eriya ky'asudde, n'akuba amazzi n'ayogera nti Ali luuyi wa Mukama Katonda wa Eriya? awo ng'amaze okukuba amazzi naye, ne gaawulibwamu eruuyi n'eruuyi: Erisa n'asomoka.
Explore 2 Bassekabaka 2:14
5
2 Bassekabaka 2:12
Era Erisa n'akiraba n'ayogerera waggulu nti Kitange, kitange, amagaali ga Isiraeri n'embalaasi ze! N'atambula nate: n'akwata ebyambalo bye n'abiyuzaamu ebitundu bibiri.
Explore 2 Bassekabaka 2:12
6
2 Bassekabaka 2:8
Awo Eriya n'addira omunagiro gwe n'aguzinga wamu n'akuba amazi ne gaawulibwamu eruuyi n'eruuyi n'okuyita ne bayita bombi ku lukalu.
Explore 2 Bassekabaka 2:8
7
2 Bassekabaka 2:1
Awo olwatuuka Mukama bwe yayagala okulinnyisa Eriya n'embuyaga ez'omuzimu mu ggulu, Eriya n'agenda ne Erisa ng'ava e Girugaali.
Explore 2 Bassekabaka 2:1