2 Abakkolinso 4:16-17
2 Abakkolinso 4:16-17 LUG68
Kyetuva tulema okuddirira; naye newakubadde omuntu waffe ow'okungulu ng'aggwaawo, naye omuntu waffe ow'omunda afuuka omuggya bulijjo bulijjo. Kubanga okubonaabona kwaffe okutazitowa, okw'ekiseera ekya kaakano, kwongerayongera nnyo okutukolera ekitiibwa ekizitowa eky'emirembe n'emirembe