1 Bassekabaka 16
16
1 #
2 Byom 16:7; 19:2 Awo ekigambo kya Mukama ne kimujjira Yeeku mutabani wa Kanani ku Baasa nga kyogera 2#2 Bassek 14:7nti Kubanga nakugulumiza nga nkuggya mu nfuufu ne nkufuula omukulu w'abantu bange Isiraeri; naawe otambulidde mu kkubo lya Yerobowaamu n'oyonoonyesa abantu bange Isiraeri okunsunguwaza n'ebibi byabwe; 3#1 Bassek 14:10laba, ndiggirawo ddala Baasa n'ennyumba ye: era ndifuula ennyumba yo okufaanana ennyumba ya Yerobowaamu mutabani wa Nebati. 4#1 Bassek 14:11Owa Baasa anaafiiranga mu kibuga embwa zinaamulyanga; n'ow'oku babe anaafiiranga ku ttale ennyoni ez'omu bbanga zinaamulyanga. 5Era ebikolwa ebirala byonna ebya Baasa ne bye yakola n'amaanyi ge tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri? 6#1 Bassek 15:21Baasa ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n'aziikibwa e Tiruza: Era mutabani we n'afuga mu kifo kye. 7#1 Bassek 15:27,29, 2 Byom 19:2Era nate ekigambo kya Mukama ne kijja ku Baasa mu mukono gwa nnabbi Yeeku mutabani wa Kanani ne ku nnyumba ye olw'ebibi byonna bye yakola mu maaso ga Mukama okumusunguwaza n'omulimu gw'emikono gye ng'afaanana ennyumba ya Yerobowaamu era kubanga yamukuba.
8Mu mwaka ogw'amakumi abiri mu mukaaga ogwa Asa kabaka wa Yuda Era mutabani wa Baasa n'atanula okufugira Isiraeri e Tiruza n'afugira emyaka ebiri. 9Awo omuddu we Zimuli omukulu w'ekitundu ky'amagaali ge n'amwekobaana: era yali ali e Tiruza ng'anywa omwenge ng'atamiirira mu nnyumba ya Aluza eyali saabakaaki mu Tiruza: 10#2 Bassek 9:31Zimuli n'ayingira n'amufumita n'amutta mu mwaka ogw'amakumi abiri mu musanvu ogwa Asa kabaka wa Yuda, n'afuga mu kifo kye. 11#1 Sam 25:22 Awo olwatuuka bwe yatanula okufuga, nga kyajje atuule ku ntebe ye, awo n'atta ennyumba yonna eya Baasa: teyamusigaliza mwana wa bulenzi, newakubadde ku nda ze newakubadde ku mikwano gye. 12Bw'atyo Zimuli bwe yazikiriza ennyumba yonna eya Baasa ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali kye yayogera ku Baasa mu Yeeku nnabbi, 13#Ma 32:21olw'ebibi byonna ebya Baasa, n'ebibi bya Era mutabani we bye bayonoona era bye bayonoonyesa Isiraeri, okusunguwaza Mukama Katonda wa Isiraeri n'ebirerya byabwe. 14Era ebikolwa ebirala byonna ebya Era ne byonna bye yakola tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri?
15 #
1 Bassek 15:27
Mu mwaka ogw'amakumi abiri mu musanvu ogwa Asa kabaka wa Yuda Zimuli n'afugira ennaku musanvu e Tiruza. Era abantu baali basiisidde okulwana ne Gibbesoni eky'Abafirisuuti. 16Awo abantu abaali basiisidde ne bawulira nga boogera nti Zimula yeekobaanye era asse kabaka: Isiraeri yenna kyebaava bafuula Omuli omukulu w'eggye okuba kabaka wa Isiraeri ku lunaku olwo mu lusiisira. 17Omuli n'ayambuka ng'ava e Gibbesoni ne Isiraeri yenna wamu naye, ne bazingiza Tiruza. 18#2 Sam 17:23, 2 Bassek 15:25Awo olwatuuka Zimuli bwe yalaba ng'ekibuga kimenyeddwa, n'ayingira mu kifo eky'ennyumba ya kabaka, ne yeeyokerera n'omuliro mu nnyumba ya kabaka n'afa, 19#1 Bassek 15:26,34olw'ebibi bye bye yayonoona ng'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi ng'atambulira mu kkubo lya Yerobowaamu ne mu kibi kye kye yakola okwonoonyesa Isiraeri. 20Era ebikolwa ebirala byonna ebya Zimuli n'obujeemu bwe bwe yajeema tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri?
21Awo abantu ba Isiraeri ne baawulibwamu ebibiina bibiri: ekitundu ky'abantu nga bagoberera Tibuni mutabani wa Ginasi okumufuula kabaka; n'ekitundu nga bagoberera Omuli. 22Naye abantu abaagoberera Omuli ne basinga abantu abaagoberera Tibuni mutabani wa Ginasi: awo Tibuni n'afa, Omuli n'alya obwakabaka. 23Mu mwaka ogw'amakumi asatu mu gumu ogwa Asa kabaka wa Yuda Omuli n'atanula okufuga Isiraeri n'afugira emyaka kkumi n'ebiri: yafugira emyaka mukaaga e Tiruza. 24N'agula olusozi Samaliya eri Semeri ne talanta bbiri za ffeeza; n'azimba ku lusozi n'atuuma ekibuga kye yazimba erinnya ng'erinnya bwe lyali erya Semeri nnyini lusozi Samaliya. 25#Mi 6:16Omuli n'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi n'agira ekyejo okusinga bonna abaamusooka. 26#1 Bassek 15:26,34Kubanga yatambulira mu kkubo lyonna erya Yerobowaamu mutabani wa Nebati ne mu bibi bye bye yayonoonyesa Isiraeri okusunguwaza Mukama Katonda wa Isiraeri n'ebirerya byabwe. 27Era ebikolwa ebirala byonna ebya Omuli bye yakola n'amaanyi ge ge yalaga tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri? 28Awo Omuli ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n'aziikibwa mu Samaliya: Akabu mutabani we n'afuga mu kifo kye.
29Awo mu mwaka ogw'amakumi asatu mu munaana ogwa Asa kabaka wa Yuda Akabu mutabani wa Omuli n'atanula okufuga Isiraeri: Akabu mutabani wa Omuli n'afugira Isiraeri mu Samaliya emyaka amakumi abiri mu ebiri. 30#1 Bassek 21:25Era Akabu mutabani wa Imuli n'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi okusinga bonna abaamusooka. 31#Kuv 34:16, Ma 7:3, 1 Bassek 21:25,26, 2 Bassek 10:18Awo olwatuuka, ng'akiyita kigambo kitono okutambulira mu bibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati, n'awasa Yezeberi muwala wa Esubaali kabaka w'Abasidoni, n'agenda n'aweereza Baali n'amusinza. 32#2 Bassek 10:21,26,27Era yasimbira Baali ekyoto mu ssabo lya Baali lye yazimba mu Samaliya. 33Akabu n'akola Baaseri; Akabu ne yeeyongera nate okukola eby'okusunguwaza Mukama Katonda wa Isiraeri okusinga bakabaka bonna aba Isiraeri abaamusooka. 34#Yos 6:26, 2 Sam 10:5Ku mirembe gye Kyeri Omubeseri n'azimba Yeriko: yassaawo emisingi gyakyo n'okufiirwa Abiraamu omubereberye we, n'asimba enzigi zaakyo n'okufiirwa mutabani we omuto Segubi, ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali kye yayogera n'omukono gwa Yoswa mutabani wa Nuni.
Currently Selected:
1 Bassekabaka 16: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.