1 Bassekabaka 15
15
1 #
2 Byom 11:20; 13:1,2 Awo mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana ogwa Yerobowaamu kabaka mutabani wa Nebati, Abiyaamu n'atanula okufuga Yuda. 2Yafugira emyaka esatu mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye lyali Maaka muwala wa Abisalomu. 3#1 Bassek 11:4N'atambulira mu bibi byonna ebya kitaawe bye yakola okumusooka: n'omutima gwe tegwatuukirira eri Mukama Katonda we ng'omutima gwa Dawudi kitaawe. 4#1 Bassek 11:36Era naye ku lwa Dawudi Mukama Katonda we n'amuwa ettabaaza mu Yerusaalemi okuyimusa mutabani we oluvannyuma lwe n'okunyweza Yerusaalemi: 5#2 Sam 11:4,15; 12:9, 1 Bassek 9:4; 14:8kubanga Dawudi yakolanga ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi, n'atakyuka okuva mu kintu kyonna kye yamulagira ennaku zonna ez'obulamu bwe wabula mu kigambo kya Uliya Omukiiti. 6#1 Bassek 14:30Awo waabangawo entalo eri Lekobowaamu ne Yerobowaamu ennaku zonna ez'obulamu bwe. 7#2 Byom 13:2-22N'ebikolwa ebirala byonna ebya Abiyaamu ne byonna bye yakola tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda? Ne wabanga entalo eri Abiyaamu ne Yerobowaamu. 8#2 Byom 14:1, Mat 1:7Abiyaamu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe: ne bamuziika mu kibuga kya Dawudi: Asa mutabani we n'afuga mu kifo kye.
9Awo mu mwaka ogw'amakumi abiri ogwa Yerobowaamu kabaka wa Isiraeri Asa n'atanula okufuga Yuda. 10N'afugira emyaka ana mu gumu mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye lyali Maaka muwala wa Abisalomu. 11#2 Byom 14:2 Asa n'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi nga Dawudi kitaawe bwe yakola. 12#1 Bassek 14:24, 2 Byom 15:8N'agoba abaalyanga ebisiyaga mu nsi, n'aggyawo ebifaananyi byonna bajjajjaabe bye baakola. 13#2 Byom 15:16-18, 2 Bassek 23:6Era ne Maaka nnyina n'amugoba mu bwa nnamasole kubanga yali akoze ekifaananyi eky'omuzizo okuba Asera; Asa n'atema ekifaananyi kye n'akyokera ku kagga Kiduloni. 14#2 Bassek 12:3; 14:4Naye ebifo ebigulumivu tebyaggibwawo: naye omutima gwa Asa gwatuukirira eri Mukama ennaku ze zonna. 15#1 Bassek 7:51N'ayingiza mu nnyumba ya Mukama ebintu kitaawe bye yawonga n'ebintu bye yawonga ye yennyini, effeeza n'ezaabu n'ebintu. 16Ne wabanga entalo eri Asa ne Baasa kabaka wa Isiraeri ennaku zaabwe zonna. 17#2 Byom 16:1-6, 1 Bassek 12:27Awo Baasa kabaka wa Isiraeri n'atabaala Yuda, n'azimba Laama, obutaganya muntu kufuluma newakubadde okuyingira eri Asa kabaka wa Yuda. 18#1 Bassek 14:26, 2 Bassek 12:18Awo Asa n'addira effeeza yonna n'ezaabu eyali esigadde mu by'obugagga eby'omu nnyumba ya Mukama n'eby'obugagga eby'omu nnyumba ya kabaka n'abikwasa mu mikono gy'abaddu be: kabaka Asa n'abiweereza Benikadadi mutabani wa Tabulimmoni mutabani wa Keziyoni kabaka w'e Busuuli eyabeeranga e Ddamasiko, ng'ayogera 19#2 Byom 16:7nti Waliwo endagaano eri nze naawe, eri kitange ne kitaawo: laba, nkuweerezza ekirabo kya ffeeza n'ezaabu; genda omenye endagaano yo eri Baasa kabaka wa Isiraeri anveeko. 20#Balam 18:29, 2 Bassek 15:29Awo Benikadadi n'awulira kabaka Asa, n'atuma abakulu b'eggye lye okulumba ebibuga bya Isiraeri, n'akuba Iyoni ne Ddaani ne Aberubesumaaka ne Kinnerosi yonna n'ensi yonna eya Nafutaali. 21Awo olwatuuka Baasa bwe yakiwulira n'aleka okuzimba Laama n'abeeranga e Tiruza. 22Awo kabaka Asa n'alangira Yuda yenna; tewali eyaggibwako; ne baggyawo amayinja ag'e Laama, n'emiti gyakyo, Baasa bye yazimbya; kabaka Asa n'abizimbisa Geba ekya Benyamini ne Mizupa. 23#2 Byom 16:11-14Era ebikolwa ebirala byonna ebya Asa n'amaanyi ge gonna ne byonna bye yakola n'ebibuga bye yazimba tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda? Naye mu kiseera eky'obukadde bwe n'alwala ebigere. 24#2 Byom 17:1, Mat 1:8Asa ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n'aziikibwa wamu ne bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi kitaawe: Yekosafaati mutabani we n'afuga mu kifo kye.
25 #
1 Bassek 14:20
Awo Nadabu mutabani wa Yerobowaamu n'atanula okufuga Isiraeri mu mwaka ogw'okubiri ogwa Asa kabaka wa Yuda, n'afugira Isiraeri emyaka ebiri. 26#1 Bassek 12:30; 14:16, 1 Bassek 14:11N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi, n'atambulira mu kkubo lya kitaawe ne mu kyonoono kye kye yayonoonyesa Isiraeri. 27#1 Bassek 14:14; 16:15Awo Baasa mutabani wa Akiya ow'omu nnyumba ya Isakaali n'amwekobaana; Baasa n'amukubira e Gibbesoni eky'Abafirisuuti; kubanga Nadabu ne Isiraeri yenna baali bazingizizza Gibbesoni. 28Mu mwaka ogw'okusatu ogwa Asa kabaka wa Yuda Baasa mwe yamuttira, n'afuga mu kifo kye. 29#1 Bassek 14:10,15Awo olwatuuka amangu ago bwe yalya obwakabaka, n'atta ennyumba yonna eya Yerobowaamu; teyamulekera Yerobowaamu n'omu eyassa omukka okutuusa lwe yamuzikiriza; ng'ekigambo bwe kyali ekya Mukama kye yayogera n'omukono gw'omuddu we Akiya Omusiiro: 30olw'ebibi bya Yerobowaamu bye yayonoona era bye yayonoonyesa Isiraeri; olw'okusunguwaza kwe kwe yasunguwaza Mukama Katonda wa Isiraeri. 31Era ebikolwa ebirala byonna ebya Nadabu ne byonna bye yakola tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri? 32Ne wabanga entalo eri Asa ne Baasa kabaka wa Isiraeri ennaku zaabwe zonna.
33Mu mwaka ogw'okusatu ogwa Asa kabaka wa Yuda Baasa mutabani wa Akiya n'atanula okufuga Isiraeri yenna e Tiruza, n'afugira emyaka amakumi abiri mu ena. 34N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi n'atambulira mu kkubo lya Yerobowaamu ne mu kwonoona kwe kweyayonoonyesa Isiraeri.
Currently Selected:
1 Bassekabaka 15: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.