1 Abakkolinso 9
9
1 #
1 Kol 15:8, Bik 26:16; 22:17 Ssiri wa ddembe? ssiri mutume? ssaalaba Yesu Mukama waffe? mmwe temuli mulimu gwange mu Mukama waffe? 2#2 Kol 3:2,3Oba nga ssiri mutume eri abalala, naye ndi mutume eri mmwe: kubanga mmwe kabonero k'obutume bwange mu Mukama waffe. 3Bwe mpoza bwe nti eri abo abankemereza. 4#Luk 10:8Tetulina buyinza okulyanga n'okunywanga? 5#Yok 1:42Tetulina buyinza okutwalanga omukazi ow'oluganda awamu naffe, era ng'abatume abalala, ne baganda ba Mukama waffe, ne Keefa. 6Oba nze nzekka ne Balunabba tetulina buyinza obutakolanga mirimu? 7Ani agenda okutabaala yonna yonna n'atabaaza ebintu bye ye? ani asimba olusuku n'atalya ku mmere yaamu? oba ani alunda ekisibo n'atanywa ku mata g'ekisibo ekyo? 8Ebyo njogera bya buntu? oba era n'amateeka tegoogera bwe gatyo? 9#Ma 25:4, 1 Tim 5:18Kubanga kyawandiikibwa mu mateeka ga Musa nti Togisibanga kamwa ente ng'ewuula. Katonda alowooza bya nte? 10#2 Tim 2:6oba ayogera ku lwaffe fekka? Kubanga kyawandiikibwa ku lwaffe: kubanga alima kimugwanira okulima ng'asuubira, era n'awuula kimugwanira okuwuula ng'asuubira okuweebwako. 11#Bar 15:27Oba nga ffe twabasigamu eby'omwoyo, kya kitalo ffe bwe tulikungula ebyammwe eby'omubiri? 12#Bik 20:34,35, 1 Kol 13:7, 2 Kol 11:9Oba nga abalala balina obuyinza obwo ku mmwe, ffe tetusinga bo? Naye tetwakoza buyinza obwo; naye tugumiikiriza byonna, tulemenga okuleeta ekiziyiza enjiri ya Kristo. 13#Kubal 18:8,31, Ma 18:1-3Temumanyi ng'abo abaweereza ebitukuvu balya ku by'omu yeekaalu, n'abo abaweereza ku kyoto bagabana n'ekyoto? 14#Luk 10:7, Bag 6:6Era ne Mukama waffe bw'atyo yalagira ababuulira enjiri baliisibwenga olw'enjiri. 15#Bik 18:3Naye nze sibikozanga ebyo n'ekimu: so siwandiise ebyo kiryoke kinkolerwenga nze bwe kityo kubanga waakiri nze okufa, okusinga omuntu yenna okufuula okwenyumiriza kwange okw'obwereere. 16#Yer 20:9Kubanga bwe mbuulira enjiri, siba na kya kwenyumiriza; kubanga nnina okuwalirizibwa; kubanga zinsanze, bwe ssibuulira njiri. 17#1 Kol 4:1Kuba oba nga nkola bwe ntyo n'okwagala, mbeera n'empeera: naye oba nga ssikola na kwagala, nnateresebwa obuwanika. 18#1 Kol 9:8,9Kale mpeera ki gye nnina? Mbuulira enjiri okugifuula ey'obwereere, nneme okukoleza ddala obuyinza bwange mu njiri. 19#Mat 20:26,27Kuba newakubadde nga ndi wa ddembe eri bonna, nneefuula muddu eri bonna, ndyoke nfunenga abangi. 20#Bik 16:3; 21:20-26N'eri Abayudaaya nnafuuka nga Omuyudaaya, nfunenga Abayudaaya; eri abo abafugibwa amateeka nnafuuka ng'afugibwa amateeka, nze kennyini nga sifugibwa mateeka, nfunenga abafugibwa amateeka; 21#Bag 2:3eri abatalina mateeka nnafuuka ng'atalina mateeka, si butaba na mateeka eri Katonda, naye nga mpulira amateeka eri Kristo, nfunenga abatalina mateeka. 22#2 Kol 11:29, Bar 11:14Eri abanafu nnafuuka munafu, nfunenga abanafu: eri bonna nfuuse byonna, mu byonna byonna ndyoke ndokolenga abamu. 23Era nkola byonna olw'enjiri, ndyoke nzisenga kimu mu yo. 24#2 Tim 4:7, Baf 3:14Temumanyi ng'abadduka mu kuwakana baddukanira ddala bonna, naye aweebwako empeera omu? Muddukenga bwe mutyo mulyoke muweebwe. 25#2 Tim 2:4,5; 4:8, 1 Peet 5:4, Yak 1:12Era buli muntu awakana yeegendereza mu byonna. Kale bo bakola bwe batyo balyoke baweebwe engule eryonooneka, naye ffe etayonooneka. 26Nze kyenva nziruka bwe nti, si ng'atamanyi; nnwana bwe nti si ng'akuba ebbanga: 27#Bar 8:13; 13:14naye nneebonereza omubiri gwange era ngufuga: mpozzi, nga mmaze okubuulira abalala, nze nzekka nneme okubeera atasiimibwa.
Currently Selected:
1 Abakkolinso 9: LUG68
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.

: