YouVersion Logo
Search Icon

1 Abakkolinso 8

8
1 # Bik 15:29 Naye ku ebyo ebiweebwa eri ebifaananyi: tumanyi nga tulina fenna okutegeera. Okutegeera kwegulumizisa, naye okwagala kuzimba. 2#Bag 6:3Omuntu bw'alowoozanga ng'aliko ky'ategedde, nga tannategeera nga bwe kimugwanira okutegeera; 3#Bag 4:9naye omuntu bw'ayagala Katonda, oyo ategeerwa ye. 4#1 Kol 10:19, Ma 6:4Kale ku kulyanga ebiweebwa eri ebifaananyi, tumanyi ng'ekifaananyi si kintu mu nsi, era nga tewali Katonda omulala wabula omu. 5#Zab 82:6, Yok 10:34Kuba newakubadde nga waliwo abayitibwa bakatonda, oba mu ggulu, oba mu nsi; nga bwe waliwo bakatonda abangi n'abaami abangi; 6#Mal 2:10, Bak 1:16, 1 Kol 12:5,6naye gye tuli waliwo Katonda omu, Kitaffe, omuva byonna, naffe tuli ku bw'oyo; ne Mukama waffe omu, Yesu Kristo, abeesaawo byonna, era atubeesaawo ffe. 7#1 Kol 10:27Naye okutegeera okwo tekuli mu bantu bonna: naye abalala, kubanga baamanyiira ebifaananyi okutuusa kaakano, balya ng'ekiweereddwa eri ekifaananyi; n'omwoyo gwabwe, kubanga munafu, gubeera n'empitambi. 8#Bar 14:17Naye ekyokulya tekitusiimisa eri Katonda: era bwe tutalya tetuweebuuka: era bwe tulya tetweyongerako. 9#Bag 5:13Naye mwekuumenga mpozzi obuyinza bwammwe obwo bulemenga okuba enkonge eri abanafu. 10Kubanga omuntu bw'akulaba ggwe alina okutegeera ng'otudde ku mmere mu ssabo ly'ekifaananyi, omwoyo gw'oyo, bw'aba nga munafu, teguliguma kulya ebiweebwa eri ebifaananyi? 11#Bar 14:15Kubanga omunafu abula olw'okutegeera kwo, ow'oluganda Kristo gwe yafiirira. 12Era bwe kityo, bwe mwonoonanga ab'oluganda, era ne mufumita omwoyo gwabwe,. bwe guba nga munafu, nga mwonoona Kristo. 13#Bar 14:21Kale, oba ng'ekyokulya kyesittaza muganda wange, siiryenga nnyama emirembe gyonna, nnemenga okwesittaza muganda wange.

Currently Selected:

1 Abakkolinso 8: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in