1 Abakkolinso 10
10
1 #
Kuv 13:21; 14:22 Kubanga ssaagala mmwe obutategeera, ab'oluganda, bajjajjaffe bonna bwe baali wansi w'ekire, era bonna bwe baayita mu nnyanja; 2era bonna bwe baabatizibwa eri Musa mu kire ne mu nnyanja; 3#Kuv 16:4,35, Ma 8:3era bonna ne balyanga emmere emu ey'omwoyo; era bonna ne banywanga ekyokunywa ekimu eky'omwoyo: 4#Kuv 17:6kubanga baanywanga mu lwazi olw'omwoyo olwabagobereranga: n'olwazi olwo lwali Kristo. 5#Kubal 14:16,23,30Naye bangi ku bo Katonda teyabisiima: kubanga baazikiririzibwa mu ddungu. 6#Kubal 11:4,34, 1 Kol 6:12Naye ebyo byali byakulabirako gye tuli, tulemenga okwegomba ebibi, era nga bo bwe beegomba. 7#Kuv 32:6, Bar 14:2-10,22So temubanga basinza ba bifaananyi, ng'abamu ku bo: nga bwe kyawandiikibwa nti Abantu ne batuula okulya n'okunywa, ne bagolokoka okuzannya. 8#Kubal 25:1,9Era tetwendanga, ng'abamu ku bo bwe baayenda, ne bagwa ku lunaku olumu obukumi bubiri mu enkumi ssatu. 9#Kubal 21:5,6Era tetukemanga Mukama waffe, ng'abamu ku bo bwe baakema, emisota egyo ne gibatta. 10#Kubal 14:2,36, Beb 3:11,17Era temwemulugunyanga, ng'abamu ku bo bwe beemulugunya, ne bazikirizibwa omuzikiriza. 11#1 Peet 4:7Naye ebyo byababaako abo okubeeranga ebyokulabirako; era byawandiikibwa olw'okutulabulanga ffe abatuukiddwako enkomerero z'emirembe. 12Kale alowooza ng'ayimiridde yeekuumenga aleme okugwa. 13Siwali kukema okubakwata okutali kwa bantu: naye Katonda mwesigwa, ataabaganyenga kukemebwa okusinga bwe muyinza; naye awamu n'okukemebwa era anassangawo n'obuddukiro, mulyoke muyinzenga okugumiikiriza.
14 #
1 Yok 5:21
Kale, baganda bange, muddukenga okusinza ebifaananyi. 15Mbagamba ng'abalina amagezi; mulowooze kye njogera. 16#Mat 26:27, Bik 2:42Ekikompe eky'omukisa, kye tusabira omukisa, si kwe kusseekimu omusaayi gwa Kristo? Omugaati gwe tumenyaamenya si kwe kusseekimu omubiri gwa Kristo? 17#1 Kol 12:27, Bar 12:5kubanga ffe abangi tuli mugaati gumu, omubiri gumu: kubanga fenna tugabana omugaati gumu. 18#Leev 7:6,15Mulabe Isiraeri ow'omubiri: abalya ssaddaaka tebassa kimu na kyoto? 19#1 Kol 8:4Kale njogera ki? ekiweebwa eri ekifaananyi nga kintu, oba ekifaananyi nga kintu? 20#Leev 17:7, Ma 32:17, Zab 106:37, Kub 9:20Naye njogera ng'ab'amawanga bye bawaayo bawa eri balubaale, so si eri Katonda: nange ssaagala mmwe kubeeranga abassekimu ne balubaale. 21#2 Kol 6:15,16, Mal 1:7,12Temuyinza kunywa ku kikompe kya Mukama waffe ne ku kikompe kya balubaale: temuyinza kugabana ku mmeeza ya Mukama waffe ne ku mmeeza ya balubaale. 22#Ma 32:21Oba Mukama waffe tumukwasa obuggya? ffe tumusinga amaanyi?
23 #
1 Kol 6:12
Byonna birungi; naye ebisaana si byonna. Byonna birungi, naye ebizimba si byonna. 24#Bar 15:2Omuntu yenna tanoonyanga bibye yekka, wabula ebya munne. 25#Bar 14:2-10,22Buli kye batundanga mu katale, mukiryanga, nga temubuuzizza kigambo olw'omwoyo; 26#Zab 24:1kubanga ensi ya Mukama waffe, n'okujjula kwayo. 27#Luk 10:8Omu ku abo abatakkiriza bw'abayitanga, nammwe bwe mwagalanga okugenda; ekiteekebwanga mu maaso gammwe mukiryanga, nga temubuuzizza kigambo olw'omwoyo. 28#1 Kol 8:7Naye omuntu bw'abagambanga nti Kino kyaweebwa okubeera ssaddaaka, temukiryanga ku lw'oyo abuulidde, n'olw'omwoyo: 29bwe njogera omwoyo, si gugwo ggwe naye gwa mulala; kubanga eddembe lyange lwaki okusalirwa omusango n'omwoyo gw'omulala? 30#1 Tim 4:4Nze bwe ndya n'okwebaza, kiki ekinvumya olw'ekyo kye nneebaza? 31#Bak 3:17Kale oba nga mulya, oba nga munywa, oba nga mukola ekigambo kyonna kyonna, mukolenga byonna olw'ekitiibwa kya Katonda. 32#Bar 14:13Temuleetanga ekyesittaza eri Abayudaaya, newakubadde eri Abayonaani, newakubadde eri ekkanisa ya Katonda: 33#1 Kol 9:20-22era nga nange bwe nsanyusa bonna mu byonna, nga sinoonya magoba gange nze, wabula ag'abangi, balyoke balokoke.
Currently Selected:
1 Abakkolinso 10: LUG68
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.

: