YouVersion Logo
Search Icon

1 Abakkolinso 7

7
1Naye ku ebyo bye mwampandiikira; kirungi omusajja obutakwatanga ku mukazi. 2Naye, olw'obwenzi, buli musajja abeerenga ne mukazi we ye, na buli mukazi abeerenga ne musajja we ye. 3Omusajja asasulenga mukazi we ekyo ekimugwanira: era n'omukazi asasulenga bw'atyo omusajja. 4Omukazi tafuga mubiri gwe ye, wabula musajja we: era n'omusajja bw'atyo tafuga mubiri gwe ye, wabula mukazi we. 5Temummaŋŋananga, wabula mpozzi nga mulagaanye ekiseera, mulyoke mubeerenga n'ebbanga ery'okusabiramu, ate mulyoke mubeerenga wamu, Setaani alemenga okubakema olw'obuteeziyiza bwammwe. 6Naye ebyo mbyogera nga nzikiriza bukkiriza, so siteeka tteeka. 7#Mat 19:12Naye nandyagadde abantu bonna okubeeranga nga nze. Naye buli muntu alina ekirabo kye ye, ekiva eri Katonda, omulala bw'ati, n'omulala bw'ati.
8Naye abatannafumbiriganwa ne bannamwandu mbagamba nti Kirungi bo okubeeranga nga nze. 9#1 Tim 5:14Naye oba nga tebayinza kweziyiza, bafumbiriganwenga: kubanga kye kirungi okufumbiriganwanga okusinga okwakanga. 10#Mat 5:32Naye abaamala okufumbiriganwa mbalagira, so si nze wabula Mukama waffe, omukazi obutanobanga ku musajja we 11(naye okunoba bw'anobanga, abeerenga awo obutafumbirwanga, oba atabaganenga ne musajja we); era n'omusajja obutalekangayo mukazi we. 12Naye abalala mbagamba nze, si Mukama waffe: ow'oluganda yenna bw'abanga n'omukazi atakkiriza, omukazi bw'atabagananga naye okubeera naye, tamulekangayo. 13N'omukazi bw'abeeranga n'omusajja atakkiriza, naye bw'atabagananga naye okubeera naye, tanobanga ku musajja we. 14#Bar 11:16Kubanga omusajja atakkiriza atukuzibwa na mukazi, n'omukazi atakkiriza atukuzibwa na wa luganda: singa tekiri bwe kityo, abaana bammwe tebandibadde balongoofu; naye kaakano batukuvu. 15#Bar 14:19Naye atakkiriza bw'ayawukananga, ayawukane: ow'oluganda omusajja oba mukazi tali mu buddu mu bigambo ebiri bwe bityo: naye Katonda yatuyitira mirembe. 16#1 Peet 3:1Kubanga, ggwe omukazi, omanyi otya nga tolirokola musajja wo? oba, ggwe omusajja, omanyi otya nga tolirokola mukazi wo? 17#1 Kol 7:20,24Kino kyokka, buli muntu nga Mukama waffe bwe yamugabira, buli muntu nga Katonda bwe yamuyita, atambulenga bw'atyo. Era bwe ndagira bwe ntyo mu kkanisa zonna. 18Omuntu yenna yayitibwa nga mukomole? teyeggyangako bukomole bwe. Omuntu yenna yayitibwa nga si mukomole? Takomolebwanga. 19#Bag 5:6; 6:15, Bar 2:25Okukomolwa si kintu, n'obutakomolwa si kintu, wabula okukwatanga ebiragiro bya Katonda. 20Buli muntu abeerenga mu kuyitibwa kwe yayitirwamu. 21Wayitibwa ng'oli muddu? tokyeraliikiriranga: naye okuyinza bw'oyinzanga okuweebwa eddembe, waakiri obeerenga nalyo. 22#Bef 6:6, Fir 1:16Kubanga mu Mukama waffe eyayitibwa nga muddu, aweebwa Mukama waffe eddembe: bw'atyo eyayitibwa nga wa ddembe ye muddu wa Kristo. 23Mwagulibwa na muwendo; temufuukanga baddu ba bantu. 24Ab'oluganda, okuyitibwa buli muntu kwe yayitirwamu, abeerenga mu okwo wamu ne Katonda.
25 # 1 Tim 1:12,13 Naye ku by'obutafumbiriganwa sirina kiragiro kya Mukama waffe: naye mbagamba nze ng'omuntu Mukama waffe gwe yasaasira okubeera omwesigwa. 26Kale ndowooza kino okubeera ekirungi olw'okubonaabona okwa kaakano, nga kirungi omuntu okubeera nga bw'ali. 27Wasibibwa n'omukazi? tonoonyanga kusumululwa. Wasumululwa ku mukazi? tonoonyanga mukazi. 28#Luk 21:23Naye okuwasa bw'owasanga, nga toyonoonye; n'omuwala bw'afumbirwanga, nga tayonoonye. Naye abali bwe batyo banaabeeranga n'okubonaabona mu mubiri: nange mbasaasira. 29#Bar 13:11, Luk 14:26Naye kino kye njogera, ab'oluganda, nti Ebiro biyimpawadde, okutanula kaakano abalina abakazi babe ng'abatalina: 30era n'abo abakaaba babe ng'abatakaaba; n'abo abasanyuka babe ng'abatasanyuka; n'abo abagula babe ng'abatalina; 31#1 Yok 2:15-17n'abo abakoza eby'omu nsi babe ng'abatabikoza bubi: kubanga engeri ey'omu nsi muno eggwaawo. 32Naye njagala mmwe obuteeraliikiriranga. Atali mufumbo yeeraliikirira bya Mukama waffe, bw'anaasanyusanga Mukama waffe: 33#Luk 14:20, Bef 5:29naye omufumbo yeeraliikirira bya mu nsi, bw'anaasanyusanga mukazi we. 34Era waliwo enjawulo ku mufumbo n'omuwala. Atafumbirwa yeeraliikirira bya Mukama waffe, abeerenga mutukuvu omubiri n'omwoyo: naye afumbirwa yeeraliikirira bya mu nsi, bw'anaasanyusanga musajja we. 35Njogedde ekyo olw'okubagasa mmwe bennyini; si lwakuba nga kyambika, wabula olw'obulungi era mulyoke muweerezenga Mukama waffe obutategananga. 36Naye omuntu bw'alowoozanga nga takola bulungi muwala we, oba nga ayitiridde obukulu, era oba nga kigwana okubeera bwe kityo, akolenga nga bw'ayagala; tayonoona; bafumbiriganwe. 37Naye oyo anywera mu mutima gwe, nga tawalirizibwa, naye ng'ayinza okutuukiriza bw'ayagala ye, era nga yamalirira kino mu mutima gwe okukuumanga muwala we, alikola bulungi. 38Kale afumbiza muwala we akola bulungi; era n'oyo atalifumbiza ye alisinga okukola obulungi. 39#Bar 7:2Omukazi asibibwa musajja we ng'akyali mulamu; naye musajja we bw'aba nga yeebase, nga wa busa afumbirwenga gw'ayagala; kyokka mu Mukama waffe. 40Naye aba musanyufu okusigala nga bw'ali, nga nze bwe ndowooza: era ndowooza nga nange nnina Omwoyo gwa Katonda.

Currently Selected:

1 Abakkolinso 7: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in