YouVersion Logo
Search Icon

1 Abakkolinso 6

6
1Omuntu yenna ku mmwe bw'aba n'ekigambo ku munne, ayaŋŋanga okuwoleza ensonga abatali batuukirivu, so si eri abatukuvu? 2#Kub 3:21, Dan 7:22Oba temumanyi ng'abatukuvu be balisalira ensi omusango? era oba ng'ensi mmwe muligisalira omusango, temusaanira kusala nsonga entono ennyo? 3Temumanyi nga tulisalira bamalayika omusango? tulirema tutya okusala emisango egy'omu bulamu buno? 4Kale bwe muba n'okusala emisango egy'omu bulamu buno, abanyoomebwa mu kkanisa abo be muteekawo? 5Njogedde kubakwasa nsonyi. Kiri bwe kityo nti mu mmwe temuyinza kuzuuka muntu mugezi, ayinza okusalira baganda be ensonga, 6naye ow'oluganda awoze n'ow'oluganda, era ne mu maaso gaabo abatali bakkiriza? 7#Mat 5:39, 1 Bas 5:15, 1 Peet 3:9Naye era bwe mutyo mumaze okubaako akabi, kubanga mulina emisango mwekka na mwekka. Lwaki obutamala gakolwanga bubi? lwaki obutamala galyazaamaanyizibwanga? 8Naye mmwe mwennyini mukola bubi, mulyazaamaanya, era n'ab'oluganda. 9Oba temumanyi ng'abatali batuukirivu tebalisikira bwakabaka bwa Katonda? Temulimbibwanga: newakubadde abakaba, newakubadde abasinza ebifaananyi, newakubadde abenzi, newakubadde abafuuka abakazi, newakubadde abalya ebisiyaga, 10#Bag 5:19-21newakubadde ababbi, newakubadde abeegombi, newakubadde abatamiivu, newakubadde abavumi, newakubadde abanyazi, tebalisikira bwakabaka bwa Katonda. 11#Tit 3:3-7Era abamu ku mmwe mwali ng'abo: naye mwanaazibwa, naye mwatukuzibwa, naye mwaweebwa obutuukirivu olw'erinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo, n'olw'Omwoyo gwa Katonda waffe.
12 # 1 Kol 10:23 Byonna birungi gye ndinaye byonna tebinsaanira. Byonna birungi gye ndi: naye nze sigenda kufugibwanga kyonna kyonna. 13#1 Bas 4:3-5Eby'okulya bya lubuto, n'olubuto lwa bya kulya: naye Katonda alibiggyawo byombiriri. Naye omubiri si gwa bwenzi, naye gwa Mukama waffe; ne Mukama waffe avunaana omubiri: 14#1 Kol 15:15,20, 2 Kol 4:14, Bar 8:11era Katonda yazuukiza Mukama waffe, era naffe alituzuukiza olw'amaanyi ge. 15#1 Kol 12:27Temumanyi ng'emibiri gyammwe bye bitundu bya Kristo? kale nzirirenga ebitundu bya Kristo mbifuule bitundu by'omwenzi? Kitalo. 16#Lub 2:24Oba temumanyi ng'eyeegatta n'omwenzi gwe mubiri gumu? kubanga ayogera nti Bombiriri banaabeeranga omubiri gumu. 17#Yok 17:21,22, Bef 5:30, 2 Kol 3:17Naye eyeegatta ne Mukama waffe gwe mwoyo gumu. 18Mwewalenga obwenzi. Buli kibi kyonna omuntu ky'akola kiri kungulu ku mubiri; naye ayenda akola ekibi ku mubiri gwe ye. 19#1 Kol 3:16Oba temumanyi ng'omubiri gwammwe ye yeekaalu y'Omwoyo Omutukuvu ali mu mmwe, gwe mulina eyava eri Katonda? nammwe temuli ku bwammwe; 20#1 Peet 1:18,19, 1 Kol 7:23, Baf 1:20kubanga mwagulibwa na muwendo: kale mugulumizenga Katonda mu mubiri gwammwe.

Currently Selected:

1 Abakkolinso 6: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in