YouVersion Logo
Search Icon

1 Abakkolinso 5

5
1 # Leev 18:7,8 N'okugamba bagamba nga mu mmwe mulimu obwenzi, era obwenzi bwe butyo obutali ne mu b'amawanga, omuntu okubeera ne mukazi wa kitaawe. 2Nammwe mwegulumizizza, so temwanakuwala bunakuwazi, oyo eyakola ekikolwa ekyo alyoke aggibwe wakati mu mmwe. 3#Bak 2:5Kubanga nze bwe ssibaayo mu mubiri naye nga ndiyo mu mwoyo, mmaze okusalira omusango oyo eyayonoona ekyo bw'atyo, 4#Mat 16:19; 18:18, 2 Kol 13:10mu linnya lya Mukama waffe Yesu, mmwe nga mukuŋŋaanye n'omwoyo gwange awamu n'amaanyi ga Mukama waffe Yesu, 5#1 Tim 1:20, 1 Peet 4:6okuwaayo ali bw'atyo eri Setaani omubiri okuzikirizibwa, omwoyo gulyoke gulokoke ku lunaku lwa Mukama waffe Yesu. 6#Bag 5:9Okwenyumiriza kwammwe si kulungi. Tetumanyi ng'ekizimbulukusa ekitono kizimbulukusa ekitole kyonna? 7#Kuv 12:21; 13:7, Is 53:7, 1 Peet 1:19Muggyeemu ekizimbulukusa eky'edda, mulyoke mubeere ekitole ekiggya, nga temuliimu kizimbulukusa. Kubanga era n'Okuyitako kwaffe kwattibwa, ye Kristo: 8kale tufumbe embaga, si na kizimbulukusa eky'edda, newakubadde n'ekizimbulukusa eky'ettima n'obubi, wabula n'ebitazimbulukuswa eby'obutali bukuusa n'amazima.
9Nnabawandiikira mu bbaluwa yange obuteegattanga na benzi; 10#Bag 5:19-21so si kwewalira ddala abenzi ab'omu nsi muno, oba abeegombi n'abanyazi, oba abasinza ebifaananyi: kubanga bwe kiba kityo kyandibagwanidde okuva mu nsi: 11#Tit 3:3-7naye kaakano mbawandiikira obuteegattanga naye, omuntu yenna ayitibwa ow'oluganda bw'aba nga mwenzi, oba mwegombi, oba asinza ebifaananyi, oba muvumi, oba mutamiivu, oba munyazi; ali bw'atyo n'okulya temulyanga naye. 12#1 Kol 10:23Kubanga nfaayo ki okusalira omusango abali ebweru? Mmwe temusalira musango ba munju? 13#1 Bas 4:3-5Naye ab'ebweru Katonda ye abasalira omusango. Omubi oyo mumuggye mu mmwe.

Currently Selected:

1 Abakkolinso 5: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in