YouVersion Logo
Search Icon

1 Abakkolinso 4

4
1 # Tit 1:7 Omuntu atulowoozenga bw'ati, nga tuli baweereza ba Kristo era abawanika b'ebyama bya Katonda. 2#Luk 12:42Era wano kigwanira abawanika, omuntu okulabikanga nga mwesigwa. 3Naye ku nze kigambo kitono nnyo mmwe okunsalira omusango, oba omuntu yenna: era nange nzekka sseesalira musango. 4#Zab 143:2Kubanga sseemanyiiko kigambo; naye ekyo tekimpeesa butuukirivu: naye ansalira omusango ye Mukama waffe. 5#1 Kol 3:8Kale temusalanga musango gwa kigambo kyonna, ebiro nga tebinnatuuka, okutuusa Mukama waffe lw'alijja, alimulisa ebikwekebwa eby'omu kizikiza, era alirabisa okuteesa okw'omu mitima; buli muntu n'alyoka aweebwa ettendo lye eri Katonda.
6 # Bar 12:3 Naye ebyo, ab'oluganda, mbigeredde ku nze ne Apolo ku lwammwe; mulyoke muyigire ku ffe obutasukkanga ku byawandiikibwa; omuntu yenna alemenga okwegulumiza olw'omu okusinga omulala. 7#Bar 12:6Kubanga akwawula ye ani? era olina ki ky'otaaweebwa? naye okuweebwa oba nga waweebwa, kiki ekikwenyumirizisa ng'ataaweebwa? 8#Kub 3:17,21Mumaze okukkuta, mumaze okugaggawala, mwafuga nga bakabaka awatali ffe: era mubeera kufuga nandyagadde, era naffe tulyoke tufugire wamu nammwe. 9#Bar 8:36, Beb 10:33Kubanga ndowooza nga Katonda ffe abatume yatwolesa enkomerero ng'abataaleme kufa: kubanga twafuuka ekyerolerwa ensi ne bamalayika n'abantu. 10#1 Kol 3:18Ffe tuli basirusiru ku bwa Kristo, naye mmwe muli bagezigezi mu Kristo; ffe tuli banafu, naye mmwe muli ba maanyi; mmwe muli ba kitiibwa, ffe tuli ba kunyoomebwa. 11#2 Kol 11:23-27Era n'okutuusa ekiseera kino, tulumwa enjala era n'ennyonta, era tuba bwereere, era tukubibwa ebikonde, era tetuliiko waffe; 12#Bik 18:3; 20:34, 1 Bas 2:9, 2 Bas 3:8, Bar 12:14, 1 Kol 9:15, Zab 109:28era tukola emirimu nga tutegana n'emikono gyaffe: bwe tuvumibwa, tubasabira omukisa; bwe tuyigganyizibwa, tugumiikiriza; 13bwe tuwaayirizibwa, twegayirira: twafuuka ng'ebisasiro eby'ensi, empitambi eza byonna, okutuusa kaakano.
14Ebyo ssibiwandiika kubakwasa nsonyi, wabula okubabuulirira ng'abaana bange abaagalwa. 15#Bag 4:19Kuba newakubadde nga mulina abayigiriza kakumi mu Kristo, naye temulina bakitammwe bangi; kubanga nze nabazaaza enjiri mu Kristo Yesu. 16#1 Kol 11:1Kyenva mbeegayirira okungobereranga. 17#Bik 19:22, Baf 2:20Kyenva ntuma Timoseewo gye muli ye mwana wange omwagalwa omwesigwa mu Mukama waffe, alibajjukiza amakubo gange agali mu Kristo, nga bwe njigiriza yonna yonna mu buli kkanisa. 18Naye waliwo abalala abeegulumiza nga balowooza nga nze sigenda kujja gye muli. 19#Bik 18:21, Yak 4:15Naye ndijja gye muli mangu, Mukama waffe bw'alyagala; era ndimanya amaanyi gaabwe abeegulumiza so si kigambo kyabwe. 20#1 Kol 2:4, Luk 17:20Kubanga obwakabaka bwa Katonda tebuli mu kigambo, wabula mu maanyi. 21Mwagalako ki? njije gye muli n'omuggo, oba mu kwagala ne mu mwoyo ogw'obuwombeefu?

Currently Selected:

1 Abakkolinso 4: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in