1 Abakkolinso 3
3
1 #
Yok 16:12
Nange, ab'oluganda, ssaayinza kwogera nammwe ng'ab'omwoyo, naye ng'ab'omubiri, ng'abaana abawere mu Kristo. 2#1 Peet 2:2, Beb 5:12,13Nnabanywesa mata, so si mmere; kubanga mwali temunnagiyinza: naye era ne kaakano temunnagiyinza; 3#1 Kol 1:10-12; 11:18kubanga mukyali ba mubiri: kubanga mu mmwe nga bwe mukyalimu obuggya n'okuyomba, temuli ba mubiri, era temutambula ng'abantu obuntu? 4Kubanga omuntu bw'ayogera nti Nze ndi wa Pawulo; n'omulala nti Nze ndi wa Apolo; nga temuli bantu buntu? 5#Bik 18:24,27Kale Apolo kye ki? ne Pawulo kye ki? Baweereza buweereza ababakkirizisa; era buli muntu nga Mukama waffe bwe yamuwa. 6#Bik 18:4,11Nze nnasiga, Apolo n'afukirira; naye Katonda ye yakuza. 7Kale bwe kityo asiga si kintu, newakubadde afukirira; wabula Katonda akuza. 8Naye asiga n'afukirira bali bumu: naye buli muntu aliweebwa empeera ye ye ng'omulimu gwe ye bwe guliba. 9#Mat 13:3-9, Bef 2:20Kubanga Katonda tuli bakozi banne: muli nnimiro ya Katonda, muli nnyumba ya Katonda.
10 #
1 Kol 15:10, 2 Peet 3:15 Ng'ekisa kya Katonda bwe kiri kye nnaweebwa, ng'omukoza w'abazimbi ow'amagezi n'asima omusingi; n'omulala n'azimbako. Naye buli muntu yeekuumenga bw'azimbako. 11#1 Peet 2:4-6Kubanga tewali muntu ayinza kusima musingi mulala wabula ogwo ogwasimibwa, ye Yesu Kristo. 12Naye omuntu yenna bw'azimbanga ku musingi ogwo zaabu, ffeeza, amayinja ag'omuwendo omungi, emiti, essubi, ebisasiro; 13#1 Kol 4:5, 2 Bas 1:8omulimu ogwa buli muntu gulirabisibwa: kubanga olunaku luli luligwolesa, kubanga gulibikkulirwa mu muliro; n'omuliro gwennyini gulikema omulimu ogwa buli muntu bwe gufaanana. 14Omulimu ogwa buli muntu gwe yazimbako bwe gulibeerawo, aliweebwa empeera. 15Omulimu ogwa buli muntu bwe gulyokebwa, alifiirwa; naye ye yennyini alirokoka; naye bw'ati, kuyita mu muliro.
16 #
1 Kol 6:19, 2 Kol 6:16 Temumanyi nga muli yeekaalu ya Katonda, era nga Omwoyo gwa Katonda abeera mu mmwe? 17Omuntu yenna bw'azikirizanga yeekaalu ya Katonda, Katonda alimuzikiriza oyo; kubanga yeekaalu ya Katonda ntukuvu: ye mmwe.
18 #
Kub 3:17,18 Omuntu yenna teyeerimbanga. Omuntu yenna bwe yeerowoozanga okuba omugezi mu mmwe mu mirembe gino, afuukenga musirusiru, alyoke afuuke omugezi. 19#Yob 5:12,13Kubanga amagezi ag'omu nsi muno bwe busirusiru eri Katonda. Kubanga kyawandiikibwa nti Akwasa abagezi enkwe zaabwe: 20#Zab 94:11era nate nti Mukama ategeera empaka ez'abagezi nga teziriimu. 21Omuntu yenna kyavanga alema okwenyumiriza mu bantu. Kubanga byonna byammwe; 22oba Pawulo, oba Apolo, oba Keefa, oba ensi, oba obulamu, oba okufa, oba ebiriwo, oba ebigenda okubaawo; byonna byammwe; 23nammwe muli ba Kristo; ne Kristo wa Katonda.
Currently Selected:
1 Abakkolinso 3: LUG68
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.

: