1 Abakkolinso 2
2
1 #
1 Kol 1:17
Nange, ab'oluganda, bwe nnajja gye muli, sajja na maanyi mangi ag'ebigambo oba amagezi nga mbabuulira ekyama kya Katonda. 2#Bag 6:14Kubanga nnamalirira obutamanya kigambo mu mmwe, wabula Yesu Kristo era oyo eyakomererwa. 3#Bik 18:9, 2 Kol 10:1Nange nnabeeranga nammwe mu bunafu ne mu kutya ne mu kukankana okungi. 4N'ekigambo kyange n'okubuulira kwange tebyabanga mu bigambo eby'amagezi ebisendasenda, wabula mu kutegeeza kw'Omwoyo n'amaanyi: 5#Bef 1:17, 1 Bas 1:5okukkiriza kwammwe kulemenga okubeera mu magezi g'abantu, wabula mu maanyi ga Katonda.
6 #
Baf 3:15
Naye amagezi tugoogera mu abo abatuukirira: naye amagezi agatali ga mu mirembe gino, era agatali ga bakulu ab'omu mirembe gino, abaggwaawo: 7#Bar 16:25naye twogera amagezi ga Katonda mu kyama, gali agakisibwa, Katonda ge yalagira edda ensi nga tezinnabaawo olw'ekitiibwa kyaffe: 8abakulu bonna ab'omu mirembe gino ge batategeeranga n'omu: kuba singa baagategeera, tebandikomeredde Mukama wa kitiibwa: 9#Is 64:4naye nga bwe kyawandiikibwa nti
Eriiso bye litalabangako, n'okutu bye kutawuliranga,
N'ebitayingiranga mu mutima gwa muntu,
Byonna Katonda bye yategekera abamwagala.
10 #
Mat 13:11, Nge 20:27 Naye ffe Katonda yatubibikkulira ku bw'Omwoyo: kubanga Omwoyo anoonya byonna era n'ebitategeerekeka ebya Katonda. 11Kubanga muntu ki ategeera eby'omuntu wabula omwoyo gw'omuntu oguli mu ye? era bwe kityo n'ebya Katonda siwali abitegeera wabula Omwoyo gwa Katonda. 12#Yok 16:13,14Naye ffe tetwaweebwa mwoyo gwa nsi, wabula omwoyo oguva eri Katonda, tulyoke tutegeerenga Katonda by'atuwa obuwa. 13#1 Kol 2:1,4N'okwogera twogera ebyo, si mu bigambo amagezi g'abantu bye gayigiriza, wabula Omwoyo by'ayigiriza; bwe tugeraageranya eby'omwoyo n'eby'omwoyo. 14#Yok 8:47; 14:17Naye omuntu ow'omukka obukka takkiriza bya Mwoyo gwa Katonda: kubanga bya busirusiru gy'ali; era tayinza kubitegeera, kubanga bikeberwa na mwoyo. 15#1 Yok 2:20Naye omuntu ow'omwoyo akebera byonna, naye ye yennyini takeberwa muntu yenna. 16#Bar 11:34, Is 40:13Kubanga ani eyali ategedde okulowooza kwa Mukama waffe, alyoke amuyigirize? Naye ffe tulina okulowooza kwa Kristo.
Currently Selected:
1 Abakkolinso 2: LUG68
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.

: